Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maaki 19
WIIKI ETANDIKA MAAYI 19
Oluyimba 131 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 7 ¶9-17 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Okuva 30-33 (Ddak. 10)
Na. 1: Okuva 32:1-14 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Amateeka Ekkumi Gaggibwawo Wamu n’Amateeka ga Musa Amalala—rs-E lup. 348 ¶2-3 (Ddak. 5)
Na. 3: Ekibala Katonda Kye Yagaana Adamu ne Kaawa Kwali Kwegatta?—td 8C (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Ensonga Lwaki Tubuulira Amawulire Amalungi. Kwogera okw’ebbugumu nga kwesigamiziddwa ku katabo Organized, olupapula 77 okutuuka ku lupapula 78, akatundu 2. Saba abawuliriza boogere ebibaleetera essanyu mu mulimu gw’okubuulira.
Ddak. 10: Osobola Okuweereza nga Payoniya Omuwagizi mu Luwummula? Kukubaganya birowoozo. Mu bufunze yogera ku bisaanyizo by’okuweereza nga payoniya omuwagizi ebiri mu katabo Organized, olupapula 113 akatundu 1. Saba abasomi oba abakozi abaaweerezaako nga bapayoniya abawagizi mu luwummula boogere ku birungi ebyavaamu. Kubiriza bonna okuweereza nga bapayoniya abawagizi mu luwummula lwabwe olunaddako.
Ddak. 10: “Weemanyiize Okukuuma Obudde.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Bwe muba mukubaganya ebirowoozo ku katundu 4, saba abawuliriza boogere ku ebyo ebibayamba okukuuma obudde.
Oluyimba 44 n’Okusaba