LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w10 8/15 lup. 25-28
  • Lwaki Tusaanidde Okukuuma Ebiseera?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Lwaki Tusaanidde Okukuuma Ebiseera?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Yakuwa​—Katonda Omukuumi w’Ebiseera
  • Kikulu Okukuuma Ebiseera mu Kusinza Kwaffe
  • Ebinaatuyamba Okukuuma Ebiseera
  • Emiganyulo Egiri mu Kukuuma Ebiseera mu Nkuŋŋaana z’Ekikristaayo
  • Weemanyiize Okukuuma Obudde
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Okukwata Obudde
    Zuukuka!—2016
  • Okussa Ekitiibwa mu Nkuŋŋaana Zaffe Entukuvu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Engeri Yakuwa gy’Atukulemberamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 8/15 lup. 25-28

Lwaki Tusaanidde Okukuuma Ebiseera?

SI KYANGU bulijjo kukuuma biseera. Ebimu ku bintu ebiyinza okutulemesa okukuuma ebiseera mwe muli okutambula eŋŋendo empanvu, omugotteko gw’ebidduka, n’okuba n’eby’okukola ebingi. Wadde kiri kityo, kikulu nnyo okukuuma ebiseera. Ng’ekyokulabirako, omuntu akuuma ebiseera ku mulimu aba yeesigika era atwalibwa okuba omukozi omunyiikivu. Ku luuyi olulala, omuntu atakuuma biseera agootaanya emirimu gy’abalala era aleetera omutindo gw’ebyo ebikolebwa okukka. Omuyizi bw’aba tatuukira mu budde, ekyo kiyinza okumuleetera obutakola bulungi ku ssomero. Obutakuuma biseera ng’ogenda okulaba omusawo kiyinza okukuviirako obutajjanjabibwa bulungi.

Kyokka mu bitundu ebimu, okukuuma ebiseera tekitwalibwa ng’ekintu ekikulu. Okubeera mu bitundu ng’ebyo, kiyinza okutuleetera okufuna omuze ogw’okutuukanga ekikeerezi. Bw’oba ng’oli mu kitundu ng’ekyo, kikulu nnyo okwemanyiiza okukuuma ebiseera. Okutegeera obukulu bw’okukuuma ebiseera kijja kutukubiriza okufuba okutuukanga mu budde. Lwaki tusaanidde okukuuma ebiseera? Kiki ekinaatuyamba okukuuma ebiseera? Miganyulo ki egiri mu kukuuma ebiseera?

Yakuwa​—Katonda Omukuumi w’Ebiseera

Ensonga esinga obukulu eyandituleetedde okukuuma ebiseera kwe kuba nti twagala okukoppa Katonda gwe tusinza. (Bef. 5:1) Yakuwa atuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu kukuuma ebiseera​—takeerewa. Atuukiriza ebigendererwa bye mu kiseera kye ekigereke. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa bwe yasalawo okuleeta amataba okuzikiriza ensi y’abantu abatatya Katonda, yagamba Nuuwa nti: “Weekolere eryato n’omuti [gwa] goferi.” Ng’ekiseera ky’okuzikiriza kinaatera okutuuka, Yakuwa yalagira Nuuwa okuyingira mu lyato era n’amugamba nti: “Oluvannyuma lw’ennaku omusanvu nze nditonnyesa enkuba ku nsi ennaku amakumi ana emisana n’ekiro; nange ndisangula [ku nsi] buli kintu ekiramu kye nnakola.” Mu kiseera kyennyini, ‘oluvannyuma lw’ennaku omusanvu ziri, amataba gajja ku nsi.’ (Lub. 6:14; 7:4, 10) Lowooza ku ekyo ekyandituuse ku Nuuwa n’ab’omu maka ge singa tebaayingira mu lyato mu budde. Okufaananako Katonda gwe baali basinza, nabo baalina okukuuma ebiseera.

Nga wayise emyaka nga 450 oluvannyuma lw’Amataba, Yakuwa yagamba Ibulayimu nti yandizadde omwana Ezzadde eryasuubizibwa mwe lyandiyitidde. (Lub. 17:15-17) Katonda yagamba nti Isaaka yandizaaliddwa “mu biro ebyo ebyateekebwawo mu mwaka ogugenda okujja.” Ekyo kyatuukirira? Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Saala n’aba olubuto, n’azaalira Ibulayimu omwana ow’obulenzi ng’akaddiye, mu biro ebyo ebyateekebwawo Katonda bye yamugambako.”​—Lub. 17:21; 21:2.

Baibuli erimu ebyokulabirako bingi ebiraga nti Katonda mukuumi wa biseera. (Yer. 25:11-13; Dan. 4:20-25; 9:25) Etukubiriza okulindirira olunaku lwa Yakuwa olw’omusango. Wadde nga mu ndaba y’abantu olunaku olwo lulabika ‘ng’olulwawo,’ tukakasibwa nti ‘telulirwawo.’​—Kaab. 2:3.

Kikulu Okukuuma Ebiseera mu Kusinza Kwaffe

Mu Isiraeri ey’edda, abasajja bonna baalinanga okubeerawo era n’okukwata ebiseera ku “mbaga endagire eza Mukama.” (Leev. 23:2, 4) Katonda era yassaawo ebiseera ssaddaaka ezimu we zaalinanga okuweebwayo. (Kuv. 29:38, 39; Leev. 23:37, 38) Kino tekiraga nti Katonda ayagala abaweereza be okukuuma ebiseera mu kusinza kwabwe?

Mu kyasa ekyasooka omutume Pawulo bwe yali awa Abakkolinso obulagirizi ku ngeri enkuŋŋaana z’Ekikristaayo gye zandikubiriziddwamu, yagamba nti: “Ebintu byonna bikolebwe mu ngeri esaanira era entegeke obulungi.” (1 Kol. 14:40) Bwe kityo, enkuŋŋaana z’Ekikristaayo zaalinanga okutandikira ku kiseera kyennyini ekyabanga kiteereddwawo. Endowooza Yakuwa gy’alina ku kukuuma ebiseera tekyukanga. (Mal. 3:6) Kati olwo bwe kituuka ku nkuŋŋaana zaffe, biki ebinaatuyamba okukuuma ebiseera?

Ebinaatuyamba Okukuuma Ebiseera

Abamu bakizudde nti okweteekateeka nga bukyali kibayambye nnyo. (Nge. 21:5) Okugeza, bw’oba olinako gy’ogenda, kiba kya magezi okusimbula ng’ebulayo ebiseera ebyo byokka ebikumala okutuukayo? Tekyandibadde kya magezi okulekayoko ebiseera kikuyambe obutakeerewa singa wabaawo ekintu ‘ekiguddewo obugwi’? (Mub. 9:11) José,a omuvubuka amanyiddwa olw’okukuuma ebiseera, agamba nti, “Ekintu ekisobola okuyamba buli omu okutuukira mu budde kwe kumanya ekiseera ekiba kyetaagisa okutuuka gy’aba agenda.”

Abamu kiyinza okubeetaagisa okunnyuka ku mulimu nga bukyali kibasobozese okutuuka mu nkuŋŋaana mu budde. Ekyo kyennyini Omujulirwa omu abeera mu Ethiopia kye yakola. Olw’okuba ku mulimu gy’akolera bakola mu mpalo, yakizuula nti ekyo kyamuleeteranga okutuuka ng’enkuŋŋaana ziyiseeko eddakiika 45. Yateesa ne mukozi munne amunnyulenga nga bukyali ku nnaku ze yabeererangako n’enkuŋŋaana. Mu kumusasula, Omujulirwa oyo yasalawo okukolera mukozi munne essaawa musanvu nnamba.

Bwe tuba n’abaana abato, kiyinza okutubeerera ekizibu okutuuka mu nkuŋŋaana mu budde. Wadde ng’okusingira ddala maama y’avunaanyizibwa okulaba nti abaana bateekebwateekebwa mu budde, abalala mu maka basaanidde okumuyambako. Esperanza, mwannyinaffe ali obwannamunigina abeera mu Mexico, alina abaana munaana b’alabirira. Abaana abo bali wakati w’emyaka 5 ne 23. Ng’alaga ekyo ekimuyamba awamu n’ab’omu maka ge okutuuka mu budde, Esperanza agamba nti: “Muwala wange omukulu annyambako okutegeka banne abato. Ekyo kinnyamba okumaliriza amangu emirimu gy’awaka ne tusobola okusimbulira ku kiseera kye twateekawo.” Mwannyinaffe oyo n’ab’omu maka ge beeteerawo ekiseera kwe balina okuviira awaka, era buli omu afuba okukolera ku nteekateeka eyo.

Emiganyulo Egiri mu Kukuuma Ebiseera mu Nkuŋŋaana z’Ekikristaayo

Okufumiitiriza ku miganyulo egiri mu kutuuka mu budde mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo kijja kutukubiriza okukola kyonna kye tusobola okukuuma ebiseera. Omuvubuka omu ayitibwa Sandra, eyagifuula empisa ye okutuuka mu nkuŋŋaana mu budde, agamba nti: “Okutuuka mu budde kinnyamba okufuna akakisa okubuuza ku b’oluganda, okunyumyako nabo, era n’okwongera okubategeera.” Bwe tutuuka ku Kizimbe ky’Obwakabaka nga bukyali ne tunyumyako ne baganda baffe abagumidde ebizibu era abaweerezza n’obwesigwa, tusobola okuganyulwa mu byokulabirako byabwe. Bwe tufuba okubaawo mu nkuŋŋaana era ne tunyumya n’ab’oluganda emboozi ezizimba, ekyo kisobola ‘okubakubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi.’​—Beb. 10:24, 25.

Oluyimba n’essaala ebiggulawo enkuŋŋaana zaffe bikulu nnyo mu kusinza kwaffe. (Zab. 149:1) Ennyimba zaffe zitendereza Yakuwa, zitujjukiza engeri ze tusaanidde okukulaakulanya, era zitukubiriza okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro n’essanyu. Ate kiri kitya ku ssaala eggulawo enkuŋŋaana? Mu biseera by’edda, yeekaalu Yakuwa yagiyita ‘nnyumba ye ey’okusabirangamu.’ (Is. 56:7) Ne leero bwe tukuŋŋaana, tusaba Katonda. Mu ssaala eggulawo enkuŋŋaana zaffe tusaba Yakuwa atuwe obulagirizi bw’omwoyo gwe omutukuvu era atuyambe okuteekateeka emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe tusobole okutegeera obulungi bye tuba tugenda okuyiga. N’olwekyo, tusaanidde okufuba okutuuka nga bukyali tusobole okuyimba n’okusaba ng’enkuŋŋaana zitandika.

Ng’alaga ensonga lwaki afuba okutuuka mu nkuŋŋaana nga bukyali, Helen ow’emyaka 23 agamba nti: “Muli nkiraba nti eyo ye ngeri emu gye nnyinza okulaga okwagala kwange eri Yakuwa, okuva bwe kiri nti y’atuwa byonna ebiyigirizibwa mu nkuŋŋaana, ng’okwo kw’ogasse n’oluyimba n’essaala ebiggulawo.” Naffe bwe tutyo bwe tutwala enkuŋŋaana zaffe? Yee, bwe tutyo bwe tusaanidde okuzitwala. N’olwekyo, ka tufube okukuuma ebiseera mu byonna bye tukola, naddala nga tukola ebyo ebikwataganyizibwa n’okusinza Katonda ow’amazima.

[Obugambo obuli wansi]

a Amannya gakyusiddwa.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

Weeteeketeeke nga bukyali

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

Lekayo ebiseera eby’ebintu ‘ebigwawo obugwi’

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]

Ganyulwa mu kutuuka nga bukyali mu nkuŋŋaana

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza