Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okutegeka Ennyanjula Ezisikiriza
Lwaki Kikulu: Singa ennyanjula yaffe eba tesikiriza, oyo gwe tuba tubuulira ayinza obutatuwuliriza. N’olwekyo, kikulu okutegeka ennyanjula esikiriza. Wadde ng’ennyanjula ezimu zituweebwa mu Obuweereza bwaffe obw’Obwakabaka ne mu katabo Reasoning, tezibeeramu byonna omubuulizi by’ayinza okwogera. Ennyanjula ne bw’eba ng’erimu byennyini bye tuyinza okwogera, ababuulizi basobola okugikyusaamu oba okutegeka ennyanjula endala etuukirawo. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kukozesa ennyanjula ezisikiriza mu kifo ky’okukozesa ebigambo bye tulowoozezzaako obulowooza mu kiseera ekyo we tuba tusangidde omuntu.—Nge. 15:28.
Mu Mwezi Guno Gezaako Kino:
Mu kusinza kwammwe okw’amaka mutegeke era mwegezeemu mu nnyanjula ze munaakozesa nga mugenze okubuulira.
Bwe muba mugenze okubuulira, ababuulizi abalala babuulireko ennyanjula gye wategese. (Nge. 27:17) Ennyanjula yo bw’eba tetuukirawo kozesa endala.