Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjanwali 20
WIIKI ETANDIKA JJANWALI 20
Oluyimba 34 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 1, ¶18-23, akas. ku lup. 14 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Olubereberye 11-16 (Ddak. 10)
Na. 1: Olubereberye 14:17–15:11 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Omuntu bw’Akubuuza nti, ‘Lwaki Olowooza nti Waliwo Eddiini Emu Yokka ey’Amazima?’—rs-E lup. 332 ¶3 (Ddak. 5)
Na. 3: Bayibuli Kye Kigambo kya Katonda Ekyaluŋŋamizibwa—td 2A (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Biki Bye Tuyigamu? Kukubaganya birowoozo. Musome Matayo 7:6-11, mukubaganye ebirowoozo ku ngeri ennyiriri ezo gye ziyinza okutuyambamu mu buweereza bwaffe.
Ddak. 10: Musse Ekitiibwa mu Abo Abakola Ennyo mu Mmwe. (1 Bas. 5:12, 13) Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku bibuuzo bino: (1) Mu ngeri ki abakadde gye bakola ennyo mu kibiina? (2) Tuyinza tutya okulaga nti tussa ekitiibwa mu bakadde? (3) Lwaki abakadde nabo beetaaga okuzzibwamu amaanyi? (4) Tuyinza tutya okuzzaamu abakadde amaanyi awamu n’ab’omu maka gaabwe? (5) Ekibiina kiganyulwa kitya bwe tugondera abakadde, era n’abakadde baganyulwa batya?
Ddak. 10: “Tosirika Busirisi.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Saba abawuliriza boogere ebintu ebibayamba mu buweereza bye baayigira ku oyo gwe baali babuulira naye.
Oluyimba 93 n’Okusaba