LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 1/14 lup. 1
  • Mugoberere Ekyokulabirako kya Bannabbi—Mikka

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Mugoberere Ekyokulabirako kya Bannabbi—Mikka
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Laba Ebirala
  • Tujja Kutambulira mu Linnya lya Yakuwa Emirembe Gyonna!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Abaweereza ba Yakuwa Balina Essuubi Ekkakafu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Biki Yakuwa by’Atwetaagisa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Tuyinza Tutya ‘Okulindirira Katonda’?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
km 1/14 lup. 1

Mugoberere Ekyokulabirako kya Bannabbi​—Mikka

1. Mikka ayinza okuba nga yali yeebuuza kibuuzo ki, naye lwaki teyateganira bwereere kulangirira bubaka bwa Yakuwa?

1 ‘Enkomerero y’omulembe guno omubi enejja ddi?’ Nnabbi Mikka naye ayinza okuba nga yali yeebuuza ekibuuzo kye kimu bwe yali alangirira obubaka bwa Yakuwa obw’omusango eri obwakabaka bwa Isiraeri n’obwa Yuda. Naye teyateganira bwereere kulangirira bubaka obwo. Mu mwaka gwa 740 E.E.T., mu kiseera kya Mikka, Yakuwa bye yalagula ku Samaliya byatuukirira. (Mi. 1:6, 7) Oluvannyuma, Yerusaalemi kyazikirizibwa mu mwaka gwa 607 E.E.T. (Mi. 3:12) Nga bwe tulindirira ekiseera Yakuwa lw’anaazikiriza omulembe guno omubi, tuyinza tutya okukoppa Mikka?

2. Nga bwe tulindirira olunaku lwa Yakuwa, kiki kye tusaanidde okukola era lwaki?

2 Beera Mugumiikiriza: Mikka yawandiika nti: ‘Naye nze nnaatunuuliranga Mukama; nnaalindiriranga Katonda ow’obulokozi bwange.’ (Mi. 7:7) Naye Mikka teyalindirira bulindirizi nga talina ky’akola. Yeeyongera okuweereza n’obunyiikivu nga nnabbi wa Yakuwa. Nga bwe tulindirira olunaku lwa Yakuwa, naffe tusaanidde okuba abantu “abalina empisa entukuvu era abakola ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda.” (2 Peet. 3:11, 12) Yakuwa akyagumiikirizza olw’okuba ayagala abantu beenenye. (2 Peet. 3:9) N’olwekyo, naffe tusaanidde okuba abagumiikiriza nga bannabbi.​—Yak. 5:10.

3. Lwaki tusaanidde okusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu?

3 Saba Yakuwa Akuwe Amaanyi: Olw’okuba omulimu Mikka gwe yaweebwa tegwali mwangu, yasaba Yakuwa amuwe amaanyi asobole okugukola. (Mi. 3:8) Bayibuli etukubiriza okusaba Yakuwa atuwe amaanyi. Bonna abakooye abawa amaanyi basobole okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe obw’Ekikristaayo. (Zab. 84:5, 7; Is. 40:28-31) Waliwo engeri Yakuwa gy’akuwaddemu amaanyi mu buweereza bwo? Osaba Yakuwa obutayosa akuwe omwoyo gwe omutukuvu?​—Luk. 11:13.

4. Kyakulabirako ki ekirungi Mikka kye yatuteerawo?

4 Mikka yakulembezanga ebyo Katonda by’ayagala obulamu bwe bwonna. Yali mumalirivu okusigala nga mwesigwa wadde ng’abantu be yalimu baali beeyisa bubi. Mu ngeri y’emu obugolokofu bwaffe bugezesebwa buli lunaku. Naffe ka tube bamalirivu okweyongera ‘okutambulira mu linnya lya Yakuwa Katonda waffe emirembe n’emirembe.’​—Mi. 4:5.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza