Tosirika Busirisi
1. Tuyinza tutya okukoppa omutume Pawulo bwe tuba tubuulira n’abalala?
1 Ekiseera omutume Pawulo kye yamalanga ne bakkiriza banne yakikozesanga ‘okubazzaamu amaanyi.’ (Bar. 1:12) Bw’oba obuulira n’omubuulizi omulala, okozesa akakisa ako okumuzzaamu amaanyi n’okumuyamba? Mu kifo ky’okusirika obusirisi, oyinza okumubuulira ku ebyo ebikuyambye okutuukiriza obulungi obuweereza bwo.
2. Tuyinza tutya okuyamba oyo gwe tuba tubuulira naye okuba obuvumu, era lwaki kikulu?
2 Muyambe Okuba Omuvumu: Ababuulizi abamu baba n’okutya, era nga kino kyeyolekera ku ngeri gye batunulamu ne mu ddoboozi lyabwe. Tusobola okubayamba okuggwamu okutya nga tubeebaza mu bwesimbu. Ngeri ki endala gye tuyinza okubayambamu okuba abavumu? Omulabirizi omu akyalira ebibiina abuulirako oyo gw’aba akoze naye obunafu bwe era n’engeri okusaba gye kumuyambamu okuvvuunuka obunafu obwo. Ow’oluganda omulala yayogera ekimuyamba okuba omuvumu. Yagamba nti: “Nsooka kussaako kamwenyumwenyu. Emirundi egimu, nnina okusaba Yakuwa annyambe nsobole okussaako akamwenyumwenyu.” Waliwo ekintu kyonna ekikuyambye okuba omuvumu mu buweereza? Kibuulireko oyo gw’oba obuulira naye.
3. Biki bye tuyinza okubuulirako oyo gwe tuba tukoze naye ebiyinza okumuyamba mu buweereza?
3 Muwaŋŋane Amagezi: Waliwo ennyanjula ennyangu oba ekibuuzo oboolyawo ekikwata ku kintu ekyaguddewo mu kitundu kyammwe ekikuyamba okutandika okunyumya n’abantu? Waliwo enkyukakyuka yonna gy’okoze mu nnyanjula ezituweebwa ne ziba nga zisikiriza? Buulirako oyo gw’oba okoze naye. (Nge. 27:17) Bwe muba mugenda okuddira omuntu, oyinza okubuulirako munno ekiruubirirwa ky’olina n’engeri gy’onookituukako. Oluvannyuma lw’okuyigiriza omuyizi, oyinza okunnyonnyola munno lwaki osazeewo okukozesa ensonga gye mukubaganyizaako ebirowoozo n’ekyawandiikibwa kye musomye.
4. Lwaki twandifuddeyo okuyamba babuulizi bannaffe?
4 Ababuulizi ab’omu kyasa ekyasooka tebaakomanga ku kuyamba bantu abaatali bakkiriza bokka, naye era baazzangamu bakkiriza bannaabwe amaanyi era baanywezanga okukkiriza kwabwe. (Bik. 11:23; 15:32) Omutume Pawulo yatendeka Timoseewo era n’amukubiriza okubuulirako abalala ebyo bye yali ayize. (2 Tim. 2:2) Bwe tuyamba Bakristaayo bannaffe nga tuli mu buweereza, beeyongera okufuna essanyu n’okuba ababuulizi abalungi, era kisanyusa Kitaffe ow’omu ggulu.—Beb. 13:15, 16.