Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjulaayi 2
WIIKI ETANDIKA JJULAAYI 2
Oluyimba 120 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 1 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Ezeekyeri 6-10 (Ddak. 10)
Na. 1: Ezeekyeri 7:14-27 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Yonasaani Yalaga Atya Obwetoowaze?—1 Sam. 23:16-18 (Ddak. 5)
Na. 3: Omugaati n’Enviinyo Biba Bifuukidde Ddala Mubiri gwa Kristo na Musaayi Gwe?—rs-E lup. 262 ¶1–lup. 263 ¶2 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Okukozesa Amagezi Nga Twogera n’Abantu be Tubuulira—Ekitundu 1. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 251 okutuuka ku lupapula 253, akatundu 2. Mu bufunze, laga ekyokulabirako kimu oba bibiri ng’okozesa amagezi agaweereddwa mu kitundu ekyo.
Ddak. 10: Okyajjukira? Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku Omunaala gw’Omukuumi ogwa Apuli 15, 2012, olupapula 32.
Ddak. 10: Amagezi Ge Tuyinza Okukozesa Okugaba Magazini mu Jjulaayi. Kukubaganya birowoozo. Londa ebitundu bibiri oba bisatu era okozese obutikitiki 30 oba 60 okunnyonnyola ensonga lwaki bijja kusikiriza abantu b’omu kitundu kyammwe. Oluvannyuma, ng’okozesa ebitundu ebisooka mu Watchtower ebikwatagana n’omutwe oguli kungulu, saba abawuliriza boogere ebibuuzo ebiyinza okusikiriza abantu n’ebyawandiikibwa bye muyinza okusoma. Kola kye kimu ne ku bitundu ebisooka mu Awake! ebikwatagana n’omutwe oguli kungulu, era obudde bwe bubaawo, kola kye kimu ne ku kitundu ekirala kimu okuva mu emu ku magazini ezo. Laga ekyokulabirako ku ngeri y’okugabamu buli emu ku magazini ezo. Kozesa magazini ze mwasembayo okufuna mu kibiina kyammwe.
Oluyimba 31 n’Okusaba