LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 6/12 lup. 7
  • Okwejjukanya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okwejjukanya
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
km 6/12 lup. 7

Okwejjukanya

Ebibuuzo bino wammanga bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Jjuuni 25, 2012. Ennaku z’omwezi ziraga ddi eky’okuyiga lwe kinaayogerwako kisobozese ababuulizi okunoonyereza nga beetegekera essomero lya buli wiiki.

1. Eky’okuba nti Yeremiya yawonawo mu kiseera eky’enjala kituleetera kuba bakakafu ku ki? (Yer. 37:21) [May. 7, w97-E 9/15 lup. 3 kat. 4–lup. 4 kat. 1]

2. Mu ngeri ki Abakristaayo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi gye bakoppamu Ebedumereki? (Yer. 38:8-13) [May. 7, su-E lup. 179 kat. 9]

3. Okuva bwe kiri nti Yakuwa yakozesa abakuumi ba Nebukadduneeza okukuuma Yeremiya ne Baluki, kisaanira Abakristaayo okusaba obukuumi okuva eri abasirikale ba poliisi abalina emmundu? (Yer. 39:11-14) [May. 14, w83-E 7/15 lup. 31]

4. “Ebikulu” Baluki byayinza okuba nga yali yeenoonyeza bye biruwa, era engeri gye yakolera ku kubuulirira kwa Yakuwa etuyamba kussa ssira ku ki? (Yer. 45:5) [May. 21, w06-E 8/15 lup. 18 kat. 1; lup. 19 kat. 6]

5. Bwe yali annyonnyola engeri eggwanga lya Edomu gye lyali ligenda okubonerezebwamu, lwaki Yakuwa yeegeraageranya ku ‘banozi b’ezabbibu n’ababbi’? (Yer. 49:9, 10) [May. 28, w77-E lup. 442 kat. 7–lup. 443 kat. 1]

6. Biki bye tuyigira ku ekyo ekyatuuka ku Kabaka Zeddekiya bwe ‘yajeemera kabaka w’e Babulooni’? (Yer. 52:3, 7-11) [Jun. 4, w88-E 9/15 lup. 17 kat. 8; w81-E 4/1 lup. 13 kat. 3-4; lup. 14 kat. 6]

7. ‘Entebe y’ebigere’ bya Yakuwa ‘n’eweema’ ye kye ki? (Kung. 2:1, 6) [Jun 11, w07 6/1 lup. 9 kat. 2]

8. Lwaki kya muganyulo omuntu okuyiga okusitula ekikoligo ng’akyali muto? (Kung. 3:27) [Jun. 18, w07 6/1 lup. 11 kat. 4; w87-E 2/15 lup. 24 kat. 1]

9. Yakuwa abonereza abantu olw’ebibi bya bajjajjaabwe? (Kung. 5:7) [Jun. 18, w07 6/1 lup. 11 kat. 1]

10. Ekyokulabirako kya Ezeekyeri kisobola kitya okutuyamba okwogera n’obuvumu wadde ng’abalala batusekerera? (Ez. 3:8, 9) [Jun. 25, w08 7/15 lup 8-9 kat. 6-7]

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza