LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 6/11 lup. 8
  • Ezimu ku Nnyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ezimu ku Nnyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Jjulaayi
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Ezimu ku Nnyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
km 6/11 lup. 8

Ezimu ku Nnyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Jjulaayi

“Abantu bangi baddiŋŋana ebigambo bino ebiri mu Ssaala ya Mukama Waffe: ‘Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.’ Ggwe olowooza Obwakabaka obwo kye ki? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ekyawandiikibwa kino kituyamba okufuna eky’okuddamu.” Soma Danyeri 2:44. Oluvannyuma muwe Watchtower eya Jjulaayi 1 era musomere wamu ebyo ebiri wansi w’omutwe omutono ogusooka ku lupapula 16. Mulekere magazini eyo era okole enteekateeka ey’okuddayo oddemu ekibuuzo ekiddako.

The Watchtower Jjulaayi 1

“Olw’okuba obulamu bumpi ate nga bujjudde ebizibu, bangi beebuuza obanga ddala bulina amakulu. Ekyo wali okirowoozezzaako? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bayibuli etusuubiza nti ebizibu bijja kuggwawo. [Soma Okubikkulirwa 21:4.] Magazini eno eyogera ku kigendererwa kya Katonda eri ensi era eraga ebimu ku bintu bye tuyinza okukola obulamu bwaffe okuba obw’amakulu ne leero.”

Awake! Jjulaayi

Yogera ku kizibu kyonna ekiri mu mawulire. Oluvannyuma gamba nti: “Olowooza lwaki Katonda aleka ebintu ng’ebyo okubaawo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bayibuli eraga nti Katonda asaasira abo ababonaabona. [Soma Okuva 3:7.] Ate era Bayibuli etubuulira ensonga lwaki Katonda akkiriza okubonaabona okubaawo era eraga nti ajja kukuggyirawo ddala. Magazini eno ennyonnyola bulungi ensonga eyo.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza