LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 4/11 lup. 4
  • Ezimu ku Nnyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ezimu ku Nnyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Laba Ebirala
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Ezimu ku Nnyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
km 4/11 lup. 4

Ezimu ku Nnyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Maayi

“Wali weebuuzizzaako ensonga lwaki Katonda aleka ebintu ebibi n’okubonaabona okubaawo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Waliwo ekintu ekikulu ekikwata ku nsonga eno kye nandyagadde okukulaga.” Musomere wamu ebyo ebiri wansi w’omutwe omutono ogusooka ku lupapula 16 mu magazini ya Watchtower eya Maayi 1 n’ekimu ku byawandiikibwa ebiweereddwa. Muwe magazini era okole enteekateeka ey’okuddayo oddemu ekibuuzo ekiddako.

The Watchtower May 1

Soma Zabbuli 37:10, 11. Oluvannyuma gamba nti: “Olowooza ekisuubizo kino kinaatuukirira mu kiseera ekitali kya wala? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eyogera ku bunnabbi bwa Bayibuli mukaaga obw’enjawulo bwe tulaba nga butuukirizibwa mu kiseera kino, obunnabbi obulaga nti ekisuubizo kino kinaatera okutuukirizibwa.”

Awake! May May

“Abamu bagamba nti abantu baava mu nsolo ezajja zifuukafuuka. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu, oluvannyuma soma Zabbuli 139:14.] Kya lwatu, omuwandiisi wa zabbuli yali amanyi kitono nnyo ku bikwata ku mubiri gw’omuntu ogwakolebwa mu ngeri ey’ekitalo. Magazini eno eyogera ku ebyo bye tumanyi kati ebikwata ku mubiri gw’omuntu, nga mw’otwalidde n’ekitwawula ku nsolo.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza