LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 6/11 lup. 8
  • Ebirango

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebirango
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
km 6/11 lup. 8

Ebirango

◼ Ebitabo eby’okugaba mu Jjuuni: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Mufube okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli ku mulundi gwe muba musoose okubakyalira. Abantu bwe basangibwa nga bakalina, era nga tebaagala kuyiga naffe Bayibuli, ababuulizi bayinza okubawa akatabo, Okumanya, oba brocuwa Atwetaagisa Ki? oba Beera Bulindaala! Jjulaayi ne Agusito: Ababuulizi bayinza okugaba brocuwa yonna ku zino wammanga ez’empapula 32. A Book for All People, Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?, Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwawo—Olizudde?, Emyoyo gy’Abafu—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda, Katonda Atwetaagisa Ki?, Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?, Lasting Peace and Happiness—How to Find them, Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, Omwagalwa Wo bw’Afa, Our Problems—Who Will Help Us Solve Them?, The Divine Name That Will Endure Forever, ne Was Life Created? Ssebutemba: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Mufube okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli ku mulundi gwe muba musoose okubakyalira. Abantu bwe basangibwa nga bakalina, era nga tebaagala kuyiga naffe Bayibuli, ababuulizi bayinza okubawa emu ku magazini zaffe enkadde oba brocuwa yonna etuukagana n’embeera.

◼ Enkyukakyuka ziyinza okukolebwa mu lukuŋŋaana lw’obuweereza olwa wiiki enaddirirwa olukuŋŋaana lwa disitulikiti kibasobozese okwejjukanya ekitundu ekirina omutwe, “Okujjukizibwa Okukwata ku Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti.” Nga wayiseewo omwezi gumu oba ebiri oluvannyuma lw’olukuŋŋaana lwa disitulikiti, muyinza okukozesa ekitundu ky’ebyetaago by’ekibiina okwejjukanya ensonga enkulu ezaali mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti ababuulizi ze basanze nga za muganyulo mu buweereza.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza