Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjanwali 3
WIIKI ETANDIKA JJANWALI 3
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 28 ¶18-21, akas. lup. 289
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: 2 Ebyomumirembe 29-32
Na. 1: 2 Ebyomumirembe 30:13-22
Na. 2: Yesu Kristo Yali Muntu Mulungi Bulungi Kyokka? (rs-E lup. 210 ¶1)
Na. 3: Engeri Abantu gye Bali mu Buddu olw’Okutya Okufa (Beb. 2:15)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango. “Kalenda ya 2011 Eyogera ku Kusinza kw’Amaka.” Kwogera.
Ddak. 5: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 10: Twawuliddwawo Okukola Yakuwa by’Ayagala. Kwogera nga kwesigamiziddwa ku katabo Organized, lupapula 168, akatundu 2, okutuuka ku nkomerero y’essuula.
Ddak. 15: “Ekitundu Ekipya Ekinaatuyamba Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Nga temunnatandika kukubaganya birowoozo, gabira ababuulizi abataaleese magazini zaabwe Watchtower eya Jjanwali 1, 2011. Fundikira ng’olaga ekyokulabirako kimu oba bibiri ku ngeri y’okukozesaamu ekitundu “Yiga Okuva mu Kigambo kya Katonda—Lwaki Osaanidde Okuyigirizibwa Katonda?” okutandika okuyigiriza omuntu Bayibuli.