Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Ddesemba: The Greatest Man Who Ever Lived. Mu maka bwe mubeeramu abaana, mugabe Learn From the Great Teacher. Jjanwali: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Abantu bwe baba bakalina, ababuulizi bayinza okubawa akatabo konna ak’empapula 192 akaakubibwa ku mpapula ezimyukiridde oba ako akaakubibwa ng’omwaka 1995 tegunnatuuka. Febwali: Ababuulizi bayinza okugaba ekimu ku bitabo bino: Is There a Creator Who Cares About You?, The Bible—God’s Word or Man’s?, oba Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka. Maaki: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Mufube okutandika okuyigiriza abantu Baibuli.
◼ Mu mwaka gwa 2012 omukolo gw’Ekijjukizo gujja kubaawo ku Lwokuna nga 5 Apuli, oluvannyuma lw’enjuba okugwa.