LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 12/10 lup. 3
  • Okwejjukanya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okwejjukanya
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
km 12/10 lup. 3

Okwejjukanya

Ebibuuzo bino wammanga bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Ddesemba 27, 2010. Akubiriza essomero ajja kukubiriza okwejjukanya mu ddakiika 20 ng’akwesigamya ku ebyo bye twayiga okuva nga Noovemba 1 okutuuka mu Ddesemba 27, 2010.

1. Kiki kye tuyinza okuyigira ku ngeri Abaleevi abayimbi gye baatenderezaamu nga bwe kiragibwa mu 1 Ebyomumirembe 16:34? [w02 2/1 lup. 9 kat. 6-7]

2. Ebyo ebiri mu 1 Ebyomumirembe 22:8 biraga nti entalo Dawudi ze yalwananga zaali nkyamu, okuva bwe kiri nti Yakuwa yali tayagala Dawudi amuzimbire nnyumba? Nnyonnyola. [it-2-E lup. 987 kat. 1]

3. Kiki Kabaka Dawudi kye yali ayagala mutabani we Sulemaani amanye ku Katonda? (1 Byom. 28:9) [w08 10/15 lup. 7 kat. 18]

4. Lwaki ebibumbe by’ente ennume byakozesebwa okuwanirira ennyanja ensaanuuse? (2 Byom. 4:2-4) [w06 1/1 lup. 15 kat. 3; w98 7/1 lup. 6 kat. 17]

5. Essanduuko y’endagaano yalimu ebipande bibiri byokka, oba yalimu n’ebintu ebirala? (2 Byom. 5:10) [w06 2/1 lup. 27]

6. Sulemaani yali ategeeza ki bwe yasaba Yakuwa okuwulira okwegayirira kwa buli muntu ‘eyandisabyenga ng’atunuulira ennyumba eno’? (2 Byom. 6:21, 32, 33) [it-1-E lup. 137 kat. 1]

7. Ebigambo ‘endagaano ey’omunnyo’ ebiri mu 2 Ebyomumirembe 13:5 birina makulu ki? [w06 1/1 lup. 16 kat. 2; it-2-E lup. 842 kat. 7]

8. Tuyinza tutya okukolera ku musingi oguli mu 2 Ebyomumirembe 17:9, 10 nga tuli mu buweereza bw’ennimiro? [w09 6/15 lup. 12 kat. 7]

9. Abantu ba Katonda banaakolera batya ku bigambo ebiri mu 2 Ebyomumirembe 20:17? [w03 6/1 lup. 31-32 kat. 14-17]

10. Kiki kye tuyigira ku ebyo ebyatuuka ku Kabaka Uzziya eyafuuka ow’amalala? (2 Byom. 26:15-21) [w99-E 12/1 lup. 26 kat. 1-2]

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza