Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjuuni 28
WIIKI ETANDIKA JJUUNI 28
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 19 ¶18-23, akas. ku lup. 198
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: 1 Bassekabaka 3-6
Okwejjukanya
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 3: Ebirango.
Ddak. 25: “Enkuŋŋaana za Disitulikiti—Ekiseera eky’Okusinza okw’Essanyu.” Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo. Ebiseera bwe bibaawo, mukubaganye ebirowoozo ku bintu ebituukirawo ebiri mu kitundu ekirina omutwe, “Okujjukizibwa Okukwata ku Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti” ekiri ku lupapula 4.
Ddak. 7: Yatendekebwa Okuva mu Buwere. Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza. Timoseewo yali amanyiddwa ng’omubuulizi w’enjiri omunyiikivu era omukugu. (Baf. 2:20-22) Ekimu ku ebyo ebyamuyamba gwe musingi ogw’eby’omwoyo gwe yafuna okuva eri maama we ne jjajja we bwe yali ng’akyali muwere. (2 Tim. 1:5; 3:15) Amagezi gano wammanga agava mu Byawandiikibwa gajja kuyamba abazadde okutendeka abaana baabwe okufuuka ababuulizi b’enjiri abalungi. Yogera ku magezi ga mirundi ebiri agatuukirawo mu kibiina kyammwe okuva mu ago agaweereddwa. (1) Genda n’omwana wo mu buweereza okuviira ddala mu buto; mutendeke okubwenyigiramu okusinziira ku myaka gye n’obusobozi bwe. (Nge. 22:6) (2) Teekawo ekyokulabirako ekirungi ng’okulembeza obuweereza mu bulamu bwo. (Baf. 1:9, 10) (3) Muyigirize okwagala n’okusiima omulimu gw’okubuulira bwe muba mu Kusinza kw’Amaka ne mu biseera ebirala. (Ma. 6:6, 7) (4) Beera n’endowooza ennungi ku buweereza era bwogereko bulungi. (Baf. 3:8; 4:8; 1 Tim. 1:12) (5) Mwenyigire mu buweereza obutayosa ng’amaka era mugifuule mpisa yammwe. (Bik. 5:41, 42) (6) Kolagana n’ababuulizi abanyiikivu. (Nge. 13:20) Saba abawuliriza boogere ku ebyo byennyini bazadde baabwe bye baakola okubayamba okuba ababuulizi abalungi n’okunyumirwa obuweereza.