LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 6/10 lup. 5
  • Okwejjukanya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okwejjukanya
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
km 6/10 lup. 5

Okwejjukanya

Ebibuuzo bino wammanga bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Jjuuni 28, 2010. Akubiriza essomero ajja kukubiriza okwejjukanya mu ddakiika 20, ng’akwesigamya ku ebyo bye twayiga okuva nga Maayi 3 okutuuka mu Jjuuni 28, 2010.

1. Kiki kye tuyinza okuyigira ku Dawudi olw’okukungubagira Abuneeri? (2 Sam. 3:31-34) [w05 7/1 lup. 9 kat. 6; w06 8/1 lup. 15 kat. 9-10]

2. Nasani yakola nsobi ki, era lwaki Yakuwa teyamuggyako nkizo ey’okuweereza nga nnabbi we? (2 Sam. 7:3) [rs-E lup. 134 kat. 8]

3. Ekyawandiikibwa ekiri mu 2 Samwiri 7:14 kyatuukirizibwa kitya? [it-1-E lup. 273 kat. 3; it-2-E lup. 818 kat. 2]

4. Ekikolwa kya Dawudi eky’okusembeza Mefibosesi kyalaga kitya nti yali wa kisa, era kino kyanditukutteko kitya? (2 Sam. 9:7) [w02 6/1 lup. 16 kat. 5]

5. Biki bye tuyigira ku nkolagana eyaliwo wakati wa Ittayi Omugitti ne Kabaka Dawudi? (2 Sam. 15:19-22) [w09 5/15 lup. 27-28]

6. Okusinziira ku Byawandiikibwa, lwaki tuyinza okugamba nti ebyo Ziba bye yayogera ku Mefibosesi byali bya bulimba? (2 Sam. 16:1-4) [w02 3/1 lup. 10 kat. 11, n’obugambo obwa wansi]

7. Dawudi bwe yasaba Baluzirayi ow’emyaka 80 okubeera naye mu lubiri lwe, lwaki Baluzirayi yasemba Kimamu? (2 Sam. 19:33-37) [w07 6/1 lup. 27 kat. 13]

8. Obuwombeefu bwa Yakuwa bwagulumiza butya Dawudi? (2 Sam. 22:36) [w07-E 11/1 lup. 5 kat. 2; w04-E 11/1 lup. 29]

9. Lwaki Adoniya yagezaako okweddiza obwakabaka nga Dawudi akyali mulamu? (1 Bassek. 1:5) [w05 8/1 lup. 28 kat. 5]

10. Lwaki Yakuwa yaddamu okusaba kwa Sulemaani bwe yamusaba amagezi n’okutegeera? (1 Bassek. 3:9) [w05 8/1 lup. 30 kat. 2]

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza