Beeranga Mwetegefu Okutandika Okuyigiriza Abantu Baibuli
1. Okutuukiriza omulimu Yesu gwe yatuwa mu Matayo 28:19, 20 kizingiramu ki?
1 Yesu yatuwa omulimu ‘ogw’okufuula abantu abayigirizwa, nga tubayigiriza.’ (Mat. 28:19, 20) N’olwekyo, twagala okuba abeetegefu okutandika okuyigiriza abantu Baibuli ekiseera kyonna, so si ku lunaku lumu olwa wiikendi olwassibwawo okutandika okuyigiririzaako abantu Baibuli. Amagezi gano wammanga gayinza okukuyamba.
2. Baani be tuyinza okutegeeza ku nteekateeka ey’okubayigiriza Baibuli?
2 Bategeeze nti Wandyagadde Okubayigiriza Baibuli: Gye tukoma okutegeeza abantu nti twagala okubayigiriza Baibuli, gye tujja okukoma okuba n’emikisa egy’okufuna omuyizi wa Baibuli. (Mub. 11:6) Ogezezzaako okutandikirawo butereevu okubayigiriza Baibuli? Ekibiina ekimu mu Amerika kyakola kaweefube okumala omwezi mulamba ow’okutandikirawo butereevu okuyigiriza abantu Baibuli. Nga baasanyuka nnyo bwe baafuna abayizi ba Baibuli abapya 42 mu kaweefube ono! Tosuubira nti abo b’oba okyalidde abasiima obubaka bwaffe baba bamanyi nti oyigiriza abantu Baibuli. Bw’oddayo okubakyalira, lwaki tobategeeza nti wandyagadde okubayigiriza Baibuli? Bwe bagaana, tewaba mutawaana. Osobola okwongera okubayamba okukulaakulanya okusiima kwabwe. Obuuzizza baliraanwa bo, ab’eŋŋanda zo, bakozi banno, era ne bayizi banno obanga bandyagadde okuyiga naawe Baibuli? Era oyinza okubuuza abayizi bo aba Baibuli obanga balina mikwano gyabwe oba ab’eŋŋanda zaabwe abandyagadde okuyiga Baibuli.
3. Eky’okukozesa ekinaatuyamba okutandika okuyigiriza abantu Baibuli kye kiruwa, era ddi lwe tuyinza okukikozesa?
3 Eky’Okukozesa Ekinaatuyamba: Eky’okukozesa ekinaatuyamba okutandika okuyigiriza abantu Baibuli ye tulakiti eyitibwa Wandyagadde Okumanya Amazima? Oyinza okugiwa gw’oba osanze awaka ka kibe nti akkirizza ekitabo oba akigaanye. Eyinza okukozesebwa nga tukola mu kitundu ekikolerwamu bizineesi, nga tubuulira ku nguudo, nga tuwa obujulirwa okuyitira mu mabaluwa, era nga tukola okuddiŋŋana. Era tuyinza n’okugireka mu maka we tuba tetusanze bantu. Lwaki totambula nayo ng’onookozesa entambula eya lukale, ng’ogenda okugula ebintu, era ng’ogenda ku mulimu? Emabega wa tulakiti eno woogera ku nteekateeka ey’okuyigiriza abantu Baibuli era walaga n’akatabo akakozesebwa akayitibwa Baibuli Ky’Eyigiriza.
4. Tuyinza tutya okukozesa tulakiti eyitibwa Okumanya Amazima okutandika okuyigiriza abantu Baibuli?
4 Ng’omaze okukwasa omuntu tulakiti eyo, oyinza okumulaga ebibuuzo ebiri ku lupapula olusooka era n’omubuuza nti, “Kibuuzo ki ku bino kye wandyagadde kiddibwemu?” Oluvannyuma mulage eky’okuddamu ekiri mu tulakiti, era osome oba onnyonnyole mu bufunze ebyo ebiri emabega wa tulakiti eno, ebyogera ku nteekateeka y’okuyigiriza abantu Baibuli. Era oyinza okumulaga mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza awannyonnyola ebisingawo ku nsonga gye mukubaganyizzaako ebirowoozo, muwe akatabo era okole enteekateeka okuddayo mweyongere okukubaganya ebirowoozo.
5. Lwaki tusaanidde okubeeranga abeetegefu okutandika okuyigiriza abantu Baibuli?
5 Mu kitundu mwe tubuulira mukyalimu abo abaagala ennyo okuyiga ekyo ddala Baibuli ky’eyigiriza. Bwe tunaabeeranga abeetegefu okutandika okuyigiriza abantu Baibuli, tujja kuba n’emikisa mingi egy’okufuna essanyu eriva mu kuyamba abalala okutambulira mu kkubo ery’obulamu.—Mat. 7:13, 14.