Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Okitobba 5
WIIKI ETANDIKA OKITOBBA 5
Oluyimba 15
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
lv-LU sul. 11 ¶1-9
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Ekyamateeka 1-3
Na. 1: Ekyamateeka 2:1-15
Na. 2: “Endagaano Empya” Eyogera Ki ku ky’Okufuna Obulamu Obutaggwaawo ku Nsi? (rs lup. 165 ¶1–lup. 166 ¶2)
Na. 3: Baani Abanaazuukizibwa? Banaabeera Ludda Wa? (lr sul. 36)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Oluyimba 18
Dak 5: Ebirango.
Dak 10: Wandyagadde Okumanya Amazima? Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza. Saba abawuliriza banokoleyo ebibuuzo ebiri mu tulakiti ebisinze okusikiriza abantu mu kitundu kyammwe. Laga engeri y’okugikozesaamu okutandika okuyigiriza abantu Baibuli.
Dak 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Dak 10: Buulira Abo Aboogera Olulimi Olulala. Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza. Mwejjukanye emitendera esatu egiri ku lupapula 2 mu katabo Good News for People of All Nations, era saba omubuulizi alage engeri y’okukakozesaamu mu buweereza. Mu bitundu omutali bantu boogera nnimi ndala, ebibiina bisaanidde okufuba ennyo okubuulira abantu bonna abali mu bitundu ebyo. Yogera ne ku ebyo ebiri mu katabo organised olupapula 103 akatundu 1 okutuuka ku lupapula 104 akatundu 1.
Oluyimba 23