LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 9/09 lup. 4
  • Ebirango

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebirango
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
km 9/09 lup. 4

Ebirango

◼ Ebitabo eby’okugaba mu Ssebutemba: Tujja kugaba akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Fuba okutandika okuyigiriza abantu Baibuli ku mulundi gw’oba osoose okubawa akatabo kano. Bannyonnyole engeri gye bayinza okukaganyulwamu ng’obalaga mu bufunze engeri gye tukakozesaamu okuyigiriza abantu Baibuli. Okitobba: Tujja kugaba Watchtower ne Awake! Bw’osanga abantu abaagala okumanya ebisingawo, bawe tulakiti Wandyagadde Okumanya Amazima? Bwe baba bagirina, ababuulizi basaanidde okufuba okutandika okubayigiriza Baibuli. Noovemba: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Abantu bwe baba bakalina, muyinza okubawa akatabo Sinza, oba Okumanya, oba akatabo konna ak’empapula 192 akaakubibwa ku mpapula ezimyukiridde oba ako akaakubibwa ng’omwaka nga 1995 tegunnatuuka. Era tuyinza n’okugaba brocuwa Atwetaagisa Ki? Ddesemba: The Greatest Man Who Ever Lived. Mu maka omuli abaana, muyinza okugaba ekitabo Learn From the Great Teacher.

◼ Okwogera okw’enjawulo okunaaweebwa mu kiseera ky’Ekijjukizo mu 2010 kujja kubaawo mu wiiki etandika nga Apuli 12, 2010. Omutwe gw’okwogera okwo gujja kubategeezebwa gye bujjako awo. Ebibiina ebinaaba n’okukyala kw’omulabirizi w’ekitundu oba olukuŋŋaana olunene mu wiiki eyo bijja kufuna okwogera okw’enjawulo mu wiiki eddako. Ebibiina tebisaanidde kufuna kwogera kuno nga wiiki etandika Apuli 12 tennatuuka.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza