Noonya Abo Abagwanira
1. Tulaga tutya nti tusiima enkizo ey’okwenyigira mu buweereza?
1 Mu buweereza bwe, Yesu yafuba nnyo okubuulira abantu abawombeefu amawulire amalungi agabudaabuda. (Is. 61:1, 2) Ng’ababaka mu kifo kya Kristo, naffe leero tulina enkizo ey’okumukoppa nga tufuba nnyo okunoonya abo abagwanira abali mu kitundu kyaffe.—Mat. 10:11; 2 Kol. 5:20.
2. Bifo ki eby’enjawulo Pawulo bye yabuuliramu, era biki ebyavaamu?
2 Buulira mu Bifo eby’Enjawulo: Omutume Pawulo yalina empisa ey’okusooka okugenda okubuulira Abayudaaya n’abakyufu abaalinga mu kkuŋŋaaniro. (Bik. 14:1) Bwe baali mu Firipi, ye ne Siira baagenda okubuulira abantu mu kitundu ‘gye baalowooza nti eriyo ekifo eky’okusabiramu.’ Baatandika okuwa obujulirwa abakazi abaali bakuŋŋaanye, era omu ku bo ayitibwa Lidiya, yakkiriza mangu amazima.—Bik. 16:12-15.
3. Bifo ki ebirala bye tuyinza okubuuliramu ng’oggyeko okubuulira nnyumba ku nnyumba?
3 Ng’oggyeko okubuulira nnyumba ku nnyumba, oyinza n’okubuulira abantu abali mu bifo awalindirwa ebidduka, mu ofiisi, mu bifo awakolerwa bizineesi, ne mu madduuka. Oboolyawo, oyinza okukozesa ebbaluwa oba essimu ng’obuulira abantu ababeera mu bizimbe ebiriko enkomera oba mu bifo abantu gye batakkirizibwa kugenda nga tebasoose kusaba lukusa. Okwetegereza obulungi era n’okutuukana n’embeera ez’enjawulo eziri mu kitundu kyammwe, kijja kukusobozesa okuba ‘n’eby’okukola bingi mu mulimu gwa Mukama waffe.’—1 Kol. 15:58.
4. Kiki kye tuyinza okukola singa ekibiina kyaffe kiba n’ekitundu kitono eky’okubuuliramu?
4 Ababuulizi bangi basobodde okugaziya ku buweereza bwabwe nga basengukira mu bibiina ebirala ebiri mu nsi yaabwe oba mu nsi endala. Abalala bayize ennimi empya okusobola okubuulira abantu ababa bavudde mu nsi endala.
5. Twanditutte tutya ebiseera bye tulimu, era twandibadde bamalirivu kukola ki?
5 Ffenna tulina okukijjukira nti “ennimiro ye nsi.” (Mat. 9:37; 13:38) Okuva bwe kiri nti enkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno esembedde, buli omu alina okulowooza ennyo ku mbeera ye, ebitone bye, n’emikisa gy’alina egy’okugaziya ku buweereza bwe. Yakuwa atukakasa nti bwe tukulembeza eby’Obwakabaka, ajja kutuwa emikisa tusobole okugaziya ku buweereza bwaffe.—Mat. 6:33.