Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjuuni 29
WIIKI ETANDIKA JJUUNI 29
Oluyimba 71
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
lv-LU sul. 6 ¶16-23
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Eby’Abaleevi 14-16
Okwejjukanya
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Oluyimba 36
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Ensonga Lwaki Kikulu Okuba n’Endabika Ennungi. Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 131-134.
Ddak. 10: Londa Ennyanjula Ezeesigamiziddwa ku Baibuli Ezituukagana Obulungi ‘n’Abantu Aba Buli Ngeri.’ (1 Kol. 9:22) Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza. Nga mukubaganya ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga, abawuliriza bayinza okwogera ku ebyo ebyavaamu bwe baakozesa ennyanjula ng’ezo. Nnyanjula ki ze wakozesa ezaasikiriza abantu abakulu, abavubuka, abakyala, abasajja, n’abantu ab’eddiini ez’enjawulo? Tuyinza tutya okukozesa akatabo Reasoning okulonda ennyanjula eziyinza okusikiriza abantu ab’enjawulo? Tuyinza tutya okukyusaamu singa omuntu aba ayagala okwogera ku nsonga endala?
Ddak. 10: Ebitabo eby’Okugaba mu Jjulaayi ne Agusito. Yogera ku bitabo ebinaagabibwa. Lagayo ebyokulabirako bibiri oba bisatu ebiyinza okuba nga bituukagana bulungi n’ekitundu kyammwe.
Oluyimba 96