Okwejjukanya mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
Ebibuuzo bino wammanga bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda.
1. Kiki kye tuyigira ku kiragiro ekiri mu Okuva 23:19? [w06 4/1 lup. 31 kat. 1-5]
2. Ulimu ne Sumimu byali biki, era byakozesebwanga bitya mu Isiraeri ey’edda? (Kuv. 28:30) [w06-LU 1/1 lup. 24; w01 9/1 lup. 27]
3. Mu ngeri ki Yakuwa gye yayogera ne Musa ‘maaso ku maaso’? (Kuv. 33:11, 20) [w04-LU 4/1 lup. 11]
4. Kiki kye tuyigira ku Baisiraeri abawaayo ebintu byabwe era ne bakozesa amagezi gaabwe okuzimba weema? (Kuv. 35:5, 10) [w99 11/1 lup. 31 kat. 1-2]
5. Olutimbe olwogerwako mu Okuva 40:28, lukiikirira ki mu yeekaalu ya Katonda enkulu ey’eby’omwoyo? [w00-LU 2/1 lup. 9-10 kat. 7-8]
6. Kitundu ki ekya ssaddaaka ya Yesu ekikiikirirwa “ekiweebwayo ekyokebwa” ekyaweebwangayo mu bulambalamba ku kyoto? (Leev. 1:13) [w04-LU 6/1 lup. 19 kat. 3]
7. Eky’okuba nti ‘amasavu gonna gaali ga Yakuwa’ kitujjukiza ki? (Leev. 3:16, 17) [w04-LU 6/1 lup. 20 kat. 2]
8. Makulu ki agaali mu kusiiga omusaayi gw’endiga ey’okwawula ku kutu okwa ddyo, ku mukono ogwa ddyo, ne ku bigere ebya ddyo ebya Alooni ne batabani be? (Leev. 8:23, 24) [it-2 lup. 1113 kat. 4]
9. Eby’abaleevi 12:8, lutuyamba lutya okutegeera ebikwata ku bazadde ba Yesu, era kiki kye tuyinza okuyigira ku kino? [w98 12/15 lup. 6 kat. 5]
10. Ebisolo ebyaweebwangayo ku Lunaku lw’Okutangirirako ebibi olwabangawo buli mwaka mu Isiraeri, byakiikirira bitya ssaddaaka ya Yesu? (Leev. 16:11- 16) [w98 2/15 lup. 12 kat. 2]