Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maaki 2
WIIKI ETANDIKA MAAKI 2
Oluyimba 80
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
lv-LU sul. 1 ¶10-18, akasanduuko ku lup. 13
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Olubereberye 36-39
Na. 1: Olubereberye 39:1-16
Na. 2: Abalala ba Waggulu Okutusinga (lr sul. 8)
Na. 3: Obwakabaka bwa Katonda Bwe Bwokka Obujja Okugonjoola Ebizibu by’Abantu (rs lup. 154 ¶3–lup. 155 ¶1)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Oluyimba 98
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Okumanyisa Erinnya lya Katonda. Okwogera okw’ebbugumu nga kwesigamiziddwa ku kitabo Essomero ly’Omulimu, olupapula 273-274.
Ddak. 10: Okuddamu Ebibuuzo Ebikwata ku Kuteekebwamu Omusaayi. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku katabo Reasoning, olupapula 74-76. Saba payoniya alage engeri gy’ayinza okukozesaamu akatabo Reasoning okuddamu omuntu ekibuuzo ekikwata ku musaayi.
Ddak. 10: Akatabo ak’Okugaba mu Maaki. Mu bufunze yogera ku ebyo ebiri mu katabo ako. Saba abawuliriza boogere ekibuuzo n’ekyawandiikibwa bye bateekateeka okukozesa nga bagaba akatabo ako? Lagayo ekyokulabirako kimu oba bibiri.
Oluyimba 23