LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 2/09 lup. 3
  • Okwejjukanya mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okwejjukanya mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
km 2/09 lup. 3

Okwejjukanya mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda

Ebibuuzo bino wammanga bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Febwali 23, 2009. Akubiriza essomero ajja kukubiriza okwejjukanya mu ddakiika 20, ng’akwesigamya ku bye twayiga okuva nga Jjanwali 5 okutuuka mu wiiki etandika nga Febwali 23, 2009.

1. Katonda yaleetawo atya ekitangaala ku lunaku olusooka bwe kiba nti ebyaka byakolebwa ku lunaku olw’okuna? (Lub. 1:3, 16) [w04-LU 1/1 lup. 6 kat. 5]

2. Lwaki Yakuwa teyagamba Nuuwa kufuga nsi nga bwe yali agambye Adamu omusajja eyali atuukiridde? (Lub. 9:1) [it-2 lup. 1095 kat. 6]

3. Endagaano ya Ibulayimu yatandika ddi okukola, era yali ya kumala bbanga ki? (Lub. 12:1-4) [w04-LU 2/1 lup. 14 kat. 4; w01-LU 9/1 lup. 9 kat. 13]

4. Kiki ekiraga nti Nimuloodi awamu n’abo be yali akulembera tebaasobola kutuuka ku kiruubirirwa kyabwe ‘eky’okwefunira erinnya’? (Lub. 11:4) [w98 3/15 lup. 25]

5. Okuva bwe kiri nti Lutti ayitibwa ‘mutuukirivu’ mu 2 Peetero 2:7, lwaki ate yali ayagala okuwaayo bawala be eri ekibinja ky’abantu aboonoonefu? (Lub. 19:8) [w05-LU 2/1 lup. 30 kat. 15-16; w04-LU 2/1 lup. 15 kat. 1]

6. Bwe kiba nti abaami abatya Katonda basaanidde okulabirira ab’omu maka gaabwe, lwaki Ibulayimu yagoba Agali ne Isimaeri ne bagenda mu ddungu? (Lub. 21:10-21; 1 Tim. 5:8) [w88 2/15 lup. 31]

7. Kiki kye tuyigira ku Erieza eyafuba okukola ebintu nga Yakuwa bw’ayagala ng’anoonyeza Isaaka omukyala? (Lub. 24:14, 15, 17-19, 26, 27) [w97-E 1/1 lup. 31 kat. 2]

8. Makulu ki agaali mu kirooto kya Yakobo mwe yalabira bamalayika ‘nga balinnya era nga bakka ku madaala’? (Lub. 28:10-13) [w03 10/15 lup. 29 kat. 1; it-2 lup. 189]

9. Lwaki Laakeeri yali ayagala nnyo okufuna amadudayimu ga mutabani wa Leeya? (Lub. 30:14, 15) [w04-LU 2/1 lup. 16 kat. 7]

10. Lwaki ekyokulabirako kya Yakobo kirungi nnyo mu kugonjoola obutakaanya? (Lub. 33:3, 4) [g82 2/22 lup. 19 kat. 8-10]

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza