Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Febwali: Musobola okugaba ebimu ku bitabo bino bwe muba mubirina, Is There a Creator Who Cares About You?, The Bible—God’s Word or Man’s?, oba akatabo Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka. Maaki: Tujja kugaba akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza era tufube nnyo okufuna abayizi ba Baibuli. Apuli ne Maayi: Tujja kugaba Watchtower ne Awake! Bwe muddayo eri abo abaagala okumanya ebisingawo abaaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo oba ku nkuŋŋaana ennene naye nga tebatera kubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina, mubawe akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Twandibadde n’ekiruubirirwa eky’okutandika okubayigiriza Baibuli nga tukozesa akatabo ako.
◼ Okwogera okw’enjawulo okunaaweebwa mu kiseera eky’Ekijjukizo mu 2009 kulina omutwe ogugamba nti “Waliwo Eddiini ey’Amazima Katonda gy’Asiima?” Laba ekirango ekikwata ku nsonga eno, ekiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Ssebutemba 2008.
◼ Okutandika ne wiiki eya Febwali 23, 2009, tujja kusoma akatabo ‘Mwekuumirenga mu Kwagala kwa Katonda’ mu Kusoma Baibuli okw’Ekibiina. Mu kiseera ekyo, ebibiina bisaanidde okuba nga birina obutabo obumala obuli mu nnukuta entono n’ennene.
◼ Musabibwa okwetegereza nti Ekijjukizo ky’omwaka 2010 kijja kubeerawo ku Lwokubiri, Maaki 30, oluvannyuma lw’enjuba okugwa. Mutegeezebwa nga bukyali musobole okukola entegeka ezeetaagisa ez’okufuna ebifo eby’okukuŋŋaaniramu, bwe kiba nti ebibiina ebiwerako byeyambisa Ekizimbe ky’Obwakabaka kimu ng’era kyetaagisa okufunayo ebifo ebirala. Mu mbeera ng’eyo, abakadde basaanidde okukola endagaano ne bannannyini bifo ebyo okukakasa nti tewajja kubaawo kutaataaganyizibwa kwonna mu kizimbe ekyo ng’omukolo gw’Ekijjukizo gugenda mu maaso.