Enteekateeka y’Enkuŋŋaana z’Obuweereza
WEETEGEREZE: Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka kajja kubaamu enteekateeka y’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza olwa buli wiiki mu myezi enkuŋŋaana ennene we zinaabeererawo. Ebibiina biyinza okukola enkyukakyuka ezeetaagisa okusobola okubeerawo mu Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti olulina omutwe, “Abakulemberwa Omwoyo gwa Katonda.” Bwe kiba kisoboka, mukozese eddakiika 15 mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olusembayo nga temunnagenda mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti, okwejjukanya ebiri mu lupapula olw’omunda olw’omwezi guno ebituukirawo mu kitundu kyammwe. Nga wayiseewo omwezi gumu oba ebiri oluvannyuma lw’olukuŋŋaana olunene, mukozese eddakiika 15 oba 20 mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza (oboolyawo nga mukozesa ekitundu ky’ebyetaago by’ekibiina) okukubaganya ebirowoozo ku nsonga enkulu ezaayogerwako mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti ababuulizi ze basanze nga za muganyulo mu buweereza bwabwe. Omulabirizi w’obuweereza y’asaanidde okukubiriza ekitundu kino. Saba abawuliriza boogere ku ngeri ebyo bye baayiga gye babiteeka mu nkola nga bali mu buweereza bwabwe oba engeri gye bateekateeka okubikozesaamu.
Wiiki Etandika Jjuuni 9
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 6 oba ebirala ebituukana n’ekitundu kyammwe, laga engeri y’okugabamu Watchtower eya Maayi 1 ne Awake! eya Maayi.
Ddak. 20: Engeri gye Tuyinza Okweteekateeka Okuyigiriza Omuyizi wa Baibuli. Kwogera okwesigamiziddwa ku Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Agusito 2004, olupapula 1. Nga mumaze okukubaganya ebirowoozo ku kitundu kino, laga ekyokulabirako ng’omubuulizi ayitaayita mu bwangu mu ebyo by’agenda okuyigiriza omuyizi we owa Baibuli. Oluvannyuma laga ekyokulabirako ekirala ng’omubuulizi yeeteekateeka bulungi okuyigiriza omuyizi we Baibuli ng’akozesa ebimu ku birowoozo ebiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka.
Ddak. 15: “Buulira Awatali Kuddirira.” Ebiseera bwe bibaawo, saba abawuliriza boogere ku byawandiikibwa ebiweereddwa.
Oluyimba 89
Wiiki Etandika Jjuuni 16
Oluyimba 24
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Jjukiza abawuliriza okujja ne kopi zaabwe eza Watchtower eya Jjuuni 1 ne Awake! eya Jjuuni mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olunaabaawo wiiki ejja era n’okwetegekera okukubaganya ebirowoozo ku nnyanjula ezituukirawo ze tuyinza okukozesa nga tugaba magazini ezo.
Ddak. 15: Laga Omuganyulo Oguli mu Mawulire Amalungi. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 159. Saba abawuliriza boogere ku nsonga ezeeraliikiriza abantu b’omu kitundu kyammwe. Basabe bawe ebirowoozo ku ngeri gye tuyinza okwogera ku nsonga ng’ezo mu nnyanjula zaffe.
Ddak. 20: “Amaka go Geeteekerateekera Okuwonawo?”a Ebiseera bwe bibaawo, saba abawuliriza boogere ku byawandiikibwa ebiweereddwa.
Oluyimba 33
Wiiki Etandika Jjuuni 23
Oluyimba 56
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Soma lipoota y’eby’embalirira n’ebbaluwa eraga nti ssente ezaaweebwayo ku sosayate zaatuuka. Bategeeze ebitabo eby’okugaba mu Jjulaayi, era olageyo n’ekyokulabirako kimu.
Ddak. 20: Okuweereza nga Payoniya owa Bulijjo Kireetera Obulamu Okuba obw’Amakulu! Kwogera okwesigamiziddwa ku Omunaala gw’Omukuumi aka Jjanwali 15, 2008, olupapula 17-19. Bwe babaawo, buuza ebibuuzo bapayoniya aba bulijjo babiri, ng’omu yaakatandika okuweereza nga payoniya ate ng’omulala aweerezza okumala emyaka mingi. Basabe boogere ku ngeri obuweereza buno obw’omuwendo ennyo gye bwongedde okufuula obulamu bwabwe okuba obw’amakulu.
Ddak. 15: Teekateeka Okugaba Magazini Ezaakafuluma. Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza. Ng’omaze okwogera mu bufunze ku ebyo ebiri mu Watchtower eya Jjuuni 1 ne Awake! eya Jjuuni, saba abawuliriza banokoleyo ebimu ku bitundu ebizirimu ebiyinza okusikiriza abantu b’omu kitundu kyammwe, era bawe n’ensonga lwaki bagamba bwe batyo. Saba abawuliriza boogere ku nsonga zennyini eziri mu bitundu ebyo bye bateekateeka okukozesa nga bagaba magazini zino. Kibuuzo ki ekiyinza okubuuzibwa okusobola okutandika okunyumya n’omuntu? Kyawandiikibwa ki ekiyinza okusomebwa okuva mu kitundu ekyo? Ng’okozesa ennyanjula abawuliriza ze bawadde oba ezo eziri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka, laga engeri y’okugabamu buli emu ku magazini ezo.
Oluyimba 37
Wiiki Etandika Jjuuni 30
Oluyimba 43
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase. Jjukiza ababuulizi bonna okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza eza Jjuuni.
Ddak. 20: Okulongoosa mu Ngeri gye Tunyumyamu. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, okuva ku lupapula 62, akatundu 4, okutuuka ku nkomerero y’olupapula 64. Ebyo ebyogerwako ku mpapula ezo bituukanye n’ekitundu kyammwe. Mu bufunze buuza ebibuuzo omubuulizi amanyiddwa olw’obusobozi bw’alina mu kutandika emboozi n’abantu ng’abuulira nnyumba ku nnyumba oba ng’abuulira embagirawo.
Ddak. 15: Ojjukira? Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku Watchtower eya Apuli 15, 2008, olupapula 29.
Oluyimba 52
Wiiki Etandika Jjulaayi 7
Ddak. 5: Ebirango by’ekibiina.
Ddak. 25: “Ekiseera eky’Okuliisibwa mu by’Omwoyo n’Okusanyuka.” Kya kukubirizibwa omuwandiisi w’ekibiina. Bategeeze olukuŋŋaana lwa disitulikiti ekibiina kyammwe kye lunaagendamu. Mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri mu kasanduuko “Okujjukizibwa Okukwata ku Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti.”
Ddak. 15: “Nnyinimu Bw’Aba Ayogera Lulimu Lulala.”b Kya kukubirizibwa omulabirizi w’obuweereza. Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 2, tegeeza ab’oluganda ebibiina ebirala oba ebibinja ebibuulira mu kitundu ekibiina kyammwe mwe kibuulira. Yogera ku nteekateeka ezikoleddwa okukakasa nti ekibiina kyammwe kikolagana bulungi n’ebibiina ebirala oba ebibinja ebikozesa olulimi olulala.
Oluyimba 12
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kuweza ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kuweza ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.