LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 6/08 lup. 1
  • Amaka go Geeteekerateekera Okuwonawo?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Amaka go Geeteekerateekera Okuwonawo?
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Laba Ebirala
  • ‘Yatambula ne Katonda ow’Amazima’
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Yatambulira Wamu ne Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Weetegekedde Okuwonawo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Nuuwa Yasiimibwa Katonda Kino Kitukwatako Kitya?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
km 6/08 lup. 1

Amaka go Geeteekerateekera Okuwonawo?

1 Obunnabbi bwa Baibuli obumaze okutuukirizibwa buwa obukakafu obwenkukunala nti enkomerero y’ensi eno embi eneetera okutuuka. Kati tuli mu biseera ebizibu nnyo ebifaananako n’ebyo ebyaliwo ng’amataba tegannabaawo. (Mat. 24:37-39) Nuuwa yawonawo ng’ensi ­ey’edda ezikirizibwa kubanga ‘yatambulira wamu ne Katonda ow’amazima.’ (Lub. 6:9) Nuuwa ateekwa okuba nga yayigiriza ab’omu maka ge amakubo ga Yakuwa kubanga nabo baawonawo. Tuyinza tutya okukoppa Nuuwa era ne tweteekateeka ng’amaka okusobola okuwonawo ng’enteekateeka y’ebintu eno embi ezikirizibwa?

2 Omubuulizi w’Obutuukirivu: Nuuwa yali ‘mubuulizi wa butuukirivu’ okumala emyaka nga 40 oba 50. (2 Peet. 2:5) Abantu be yalimu, oboolyawo nga bakubirizibwa bamalayika abajeemu abaali beeyambazza emibiri gy’abantu, bateekwa okuba nga baamusekerera olw’okuba yali abuulira. Emirundi mingi bwe tuba tubuulira tusanga abantu abateefiirayo oba abo abatusekerera, nga kino kiwa obukakafu nti enkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno eri kumpi nnyo. (2 Peet. 3:3, 4) Kyokka, obutafaananako bantu abaaliwo mu kiseera kya Nuuwa, bangi leero bawulira obubaka bwaffe era ‘bakulukutira’ mu kusinza kwa Yakuwa. (Is. 2:2) Bwe tuneeyongera okubuulira, tujja ‘kwerokola ffekka awamu n’abo abatuwuliriza.’ (1 Tim. 4:16) Nga kikulu nnyo abazadde okuyigiriza abaana baabwe ebikwata ku bukulu bw’omulimu gw’okubuulira nga bayitira mu bigambo ne mu kyokulabirako kye babateerawo!​—2 Tim. 4:2.

3 “Bw’Atyo Bwe Yakola”: Nuuwa n’ab’omu maka ge baasobola okuwonawo olw’okuba baagoberera obulagirizi bwa Yakuwa. (Lub. 6:⁠22) Kikulu nnyo naffe leero okuba ‘abawulize’ nga tugoberera obulagirizi obuli mu Baibuli awamu n’obwo obutuweebwa omuddu omwesigwa. (Yak. 3:17) Taata omu yakolera ku magezi agatuweebwa ekibiina kya Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, buli wiiki yakubirizanga okusoma kw’amaka era n’atwala ab’omu maka ge mu buweereza bw’ennimiro buli wiikendi nga bwe tukubirizibwa okukola. Buli wiiki yafubanga okukola n’omu ku baana be mu buweereza bw’ennimiro. Okufuba ‘okukola bw’atyo’ kirina kinene nnyo kye kyakola ku baana be, era bonna omukaaga baakula ne bafuuka abaweereza ba Yakuwa abeesigwa.

4 Enkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno ejja kujjira mu kiseera kye tutagisuubiriramu. (Luk. 12:40) Bwe tukoppa Nuuwa era ne twoleka okukkiriza olw’okulokolebwa, tujja kulaga nti ffe awamu n’ab’omu maka gaffe tuli beeteefuteefu okuwonawo!​—Beb. 11:7.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza