LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 10/06 lup. 3-6
  • Programu Y’essomero Ly’omulimu Gwa Katonda Mu 2007

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Programu Y’essomero Ly’omulimu Gwa Katonda Mu 2007
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Emitwe emitono
  • Endagiriro
  • SCHEDULE
  • Seb. 3 Okusoma Baibuli: Ezeekyeri 39-41 Oluyimba 98
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
km 10/06 lup. 3-6

Programu Y’essomero Ly’omulimu Gwa Katonda Mu 2007

Endagiriro

Mu 2007, eno y’ejja okuba programu eneegobererwa mu ssomero ly’Omulimu gwa Katonda.

EBITABO EBY’OKUKOZESA: New World Translation of the Holy Scriptures [bi12], The Watchtower [w], Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda [be-LU], “All Scripture Is Inspired of God and Beneficial” (Ekya 1990) [si], ne Reasoning From the Scriptures (Aka 1989) [rs].

Essomero lirina okutandika KU SSAAWA ZENNYINI n’oluyimba, okusaba, okwaniriza abazze, n’oluvannyuma ne mugoberera programu eno wammanga. Buli luvannyuma lwa kitundu, akubiriza essomero ajja kwanjula ekitundu ekiddako.

ENGERI ENNUNGI EY’OKWOGERAMU: Ddakiika 5. Omulabirizi w’essomero, omuyambi we, oba omukadde omulala alina ebisaanyizo ajja kunnyonnyola engeri ennungi ey’okwogeramu okuva mu kitabo Essomero ly’Omulimu. (Mu bibiina omuli abakadde abatono, abaweereza mu kibiina abalina ebisaanyizo bayinza okukozesebwa.)

OKWOGERA NA. 1: Ddakiika 10. Kulina kuweebwa mukadde alina ebisaanyizo oba muweereza, era kujja kuggibwa mu Watchtower, Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, oba “All Scripture Is Inspired of God and Beneficial.” Kwa kuweebwa mu ddakiika 10 nga temuli kubuuza bibuuzo. Ekigendererwa si kwe kwogera obwogezi ku ebyo ebiri mu kitundu omuggiddwa emboozi, wabula okuteeka essira ku muganyulo oguli mu ebyo ebyogerwako n’okuggumiza ebyo ebinaasinga okuyamba ekibiina. Omutwe oguweereddwa gwe gulina okukozesebwa. Kisuubirwa nti ab’oluganda abawa okwogera kuno bajja kwegendereza baleme kusussa mu kiseera ekibaweereddwa. Bwe kiba kyetaagisa okubawabula, kiyinza okukolebwa mu kyama.

OKUNOKOLAYO EBIMU KU BIRI MU KUSOMA BAIBULI: Ddakiika 10. Mu ddakiika ettaano ezisooka, omukadde oba omuweereza alina ebisaanyizo asaanidde okukwataganya ebiri mu ssuula ezisomeddwa wiiki eyo n’ebyetaago by’ekibiina. By’ayogera ayinza okubiggya mu ssuula eziba zisomeddwa wiiki eyo. Talina kuwumbawumbako buwumbiwumbi kitundu ekisomeddwa. Ekigendererwa ekikulu kwe kuyamba abawuliriza okulaba engeri ebisomeddwa gye bisobola okubaganyula. Omwogezi alina okukakasa nti tasussa ddakiika ttaano ng’anokolayo ensonga ezo. Alina okukakasa nti alekayo eddakiika ttaano abawuliriza nabo babeeko bye boogera. Saba abawuliriza boogere mu bufunze (obutasukka butikitiki 30) ku ebyo ebyabakutteko nga basoma Baibuli n’engeri gye byabaganyudde. Oluvannyuma akubiriza essomero ajja kusaba abayizi bagende gye banaaweera ebintu byabwe.

OKWOGERA NA. 2: Ddakiika 4 oba n’obutawera. Ow’oluganda y’alina okuweebwa ekitundu kino. Omuyizi alina kusoma busomi ebyo ebimuweereddwa nga takozesezza nnyanjula oba okufundikira. Akubiriza essomero alina okufaayo ennyo okuyamba abayizi okutegeera bye basoma, obutasikattira, okuggumiza we kisaanira, okukyusakyusa mu ddoboozi, okusiriikiriramu we kyetaagisa era n’okwogera mu ngeri eya bulijjo.

OKWOGERA NA. 3: Ddakiika 5. Kwa kuweebwa mwannyinaffe. Abayizi abanaaweebwa ekitundu kino bajja kutegeezebwa embeera gye basaanidde okukiweeramu oba bo bennyini bajja kwerondera emu ku ezo eziri ku lupapula 82 mu kitabo Essomero ly’Omulimu. Omuyizi alina okukozesa omutwe ogumuweereddwa era n’okugutuukanya n’embeera yonna esobola okubaawo mu buweereza bw’ennimiro mu kitundu kyammwe. Omuyizi bw’atalagibwa kitabo mw’anaggya eky’okwogerako, kijja kumwetaagisa okunoonyereza mu bitabo byaffe. Abayizi abapya balina okuweebwa ebitundu ebiriko aw’okuggya eby’okwogerako. Akubiriza essomero ajja kwetegereza nnyo engeri omuyizi gy’asengekamu by’ayogera n’engeri gy’ayambamu gw’ayogera naye okutegeera Ebyawandiikibwa n’ensonga enkulu. Akubiriza essomero ajja kumulondera omuyambi omu.

OKWOGERA NA. 4: Ddakiika 5. Omuyizi asaanidde okwesigamya okwogera kwe ku mutwe ogumuweereddwa. Omuyizi bw’atalagibwa wasibuka bya kwogera, alina okunoonyereza mu bitabo byaffe. Okwogera kuno bwe kuweebwa ow’oluganda, alina kwogera butereevu eri abamuwuliriza. Bw’aba mwannyinaffe, kulina kuweebwa nga bwe kiragiddwa ku Kwogera Na. 3. Akubiriza essomero ayinza okuwa ow’oluganda Okwogera Na. 4 buli lw’alaba nga kyetaagisa. Weetegereze nti emitwe egiriko akamunyeenye girina kuweebwa baluganda bokka.

OKUWABULA: Ddakiika 1. Akubiriza essomero tajja kusooka kwogera ssomo agenda okuwa emboozi ly’akolako. Ng’okwogera Na. 2, Na. 3 ne Na 4 kuwedde, akubiriza essomero ajja kwogera ku birungi ebibadde mu buli kwogera. Ekigendererwa kye si kwebaza bwebaza muyizi, wabula okulaga ensonga lwaki akoze bulungi. Okusinziira ku bwetaavu bwa buli muyizi, akubiriza essomero ayinza okwongera okuwabula omuyizi ng’olukuŋŋaana luwedde oba mu kiseera ekirala kyonna.

EBISEERA: Buli omu alina okukuuma ebiseera nga mw’otwalidde n’awabula. Abo abaweebwa Okwogera Na. 2 okutuuka ku Na. 4 balina okuyimirizibwa mu ngeri ey’amagezi, ekiseera ekibaweereddwa bwe kiba nga kiweddeko. Singa ab’oluganda abaweebwa okwogera okukwata ku ngeri ennungi ey’okwogeramu, oba abo abaweebwa Okwogera Na. 1, n’abo abanokolayo ebimu ku ebyo ebibadde mu kusoma Baibuli basussa mu biseera, basaanidde okuwabulwa mu kyama. Bonna balina okufuba okukuuma obudde. Olukuŋŋaana lwonna lulina okutwala eddakiika 45, nga togasseeko budde bwa luyimba n’okusaba.

FOOMU OKUWABULIRWA: Eri mu kitabo.

OMUYAMBI W’AKUBIRIZA ESSOMERO: Akakiiko k’abakadde kayinza okulondayo omukadde omulala alina obumanyirivu, okukola ng’omuyambi w’omulabirizi w’essomero. Ekibiina bwe kiba n’abakadde abawerako, buli mwaka obuvunaanyizibwa buno buyinza okuweebwa omukadde omulala. Obuvunaanyizibwa bw’omuyambi ono kwe kuwabula mu kyama ab’oluganda abawa Okwogera Na 1 n’abo abanokolayo ebimu ku biri mu kusoma Baibuli. Tekiri nti buli bakadde banne oba abaweereza lwe bawa emboozi alina okubawabula.

OKWEJJUKANYA: Ddakiika 30. Buli luvannyuma lwa myezi ebiri, omulabirizi w’essomero ajja kukubiriza okwejjukanya. Kino kijja kuddirira ekitundu ekikwata ku ngeri ennungi ey’okwogeramu n’eky’okunokolayo ebimu ku biri mu kusoma Baibuli nga bwe kiragiddwa waggulu. Eby’okwejjukanya bijja kwesigamizibwa ku by’okuyiga ebibadde mu ssomero mu myezi ebiri egiyise nga mulimu n’ebya wiiki eyo yennyini omuli okwejjukanya. Singa ekibiina kyammwe kiba n’olukuŋŋaana lw’ekitundu mu wiiki erimu okwejjukanya, okwejjukanya kuno (n’ebitundu ebiri ku programu eya wiiki eyo) kujja kubaawo mu wiiki eddako. Ate ebitundu bya programu eya wiiki eyo, biweebwe ku lukuŋŋaana lw’ekitundu. Omulabirizi w’ekitundu bw’aba anaakyalira ekibiina kyammwe mu wiiki erimu okwejjukanya, oluyimba, ekitundu ekikwata ku ngeri ennungi ey’okwogeramu, n’eky’okunokolayo ebiri mu kusoma Baibuli birina okusigala nga programu bw’eri. Okwogera Na. 1 (okuddirira okwo okukwata ku ngeri ennungi ey’okwogeramu) kulina kuggibwa mu programu ya wiiki eddako. Programu y’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda eya wiiki eddako ejja kubaamu engeri ennungi ey’okwogeramu, okunokolayo ebiri mu kusoma Baibuli, n’oluvannyuma wabeewo okwejjukanya.

SCHEDULE

Jan. 1 Okusoma Baibuli: Isaaya 24-28 Oluyimba 72

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okulaga Omuganyulo Oguli mu Ebyo by’Oyogera (be-LU lup. 158 kat. 2-4)

Na. 1: Okutegeka Emboozi Ezikuweereddwa mu Ssomero (be-LU lup. 43 kat. 1–lup. 44 kat. 3)

Na. 2: Isaaya 26:1-18

Na. 3: Okuggyamu Embuto​—Lwaki Tekikkirizibwa? (rs lup. 25-6 kat. 4)

Na. 4: Tuyinza Tutya ‘Okwambala Mukama Waffe Yesu Kristo’? (Bar. 13:14)

Jan. 8 Okusoma Baibuli: Isaaya 29-33 Oluyimba 18

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okuyamba Abalala Okulaba Omugaso Oguli mu Bubaka Bwaffe (be-LU lup. 159 kat. 1-4)

Na. 1: Ng’Oweereddwa Omutwe n’Embeera mw’Onoogiweera (be-LU lup. 44 kat. 4–lup. 46 kat. 2)

Na. 2: Isaaya 30:1-14

Na. 3: a Okuddamu Oyo Agamba nti: ‘Nnina Eddembe Okwesalirawo Ebikwata ku Mubiri Gwange’ (rs lup. 26 kat. 5)

Na. 4: Kwe Tumanyira nti Yakuwa Katonda Ayagala Abaana

Jan. 15 Okusoma Baibuli: Isaaya 34-37 Oluyimba 100

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okulonda Ebigambo (be-LU lup. 160 kat. 1-3)

Na. 1: Engeri y’Okufunamu Endowooza ya Yesu ku Kituufu n’Ekikyamu (w05-LU 1/1 lup. 21-22 kat. 11-15)

Na. 2: Isaaya 34:1-15

Na. 3: Engeri gye Tuyinza Okuba n’Okwagala Okwa Nnamaddala

Na. 4: Adamu ne Kaawa​—Ddala Baaliyo mu Byafaayo? (rs lup. 27-8)

Jan. 22 Okusoma Baibuli: Isaaya 38-42 Oluyimba 11

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Ebigambo Ebyangu Okutegeera (be-LU lup. 161 kat. 1-4)

Na. 1: Toggwaamu Maanyi olw’Okuyigganyizibwa (w05-LU 1/1 lup. 27-28 kat. 16-18)

Na. 2: Isaaya 38:9-22

Na. 3: b Okuddamu Oyo Agamba nti: ‘Okwonoona kwa Adamu Kyali Kigendererwa kya Katonda’ (rs lup. 29 kat. 1-2)

Na. 4: Lwaki Tusaanidde Okwewala Okulowooza nti Abalala Balina Endowooza Enkyamu

Jan. 29 Okusoma Baibuli: Isaaya 43-46 Oluyimba 48

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Ebigambo eby’Enjawulo era Ebituufu (be-LU lup. 161 kat. 5–lup. 162 kat. 4)

Na. 1: Ensonga Lwaki Tukkirizza Okusalawo kwa Yakuwa (w05-LU 2/1 lup. 28-9 kat. 4-9)

Na. 2: Isaaya 45:1-14

Na. 3: Lwaki si kya Magezi Okusinza Bajjajja Abaafa? (rs lup. 29 kat. 3–lup. 31 kat. 3)

Na. 4: c Lwaki Abakristaayo Beewala Okwegeraageranya n’Abalala olw’Okuvuganya

Feb. 5 Okusoma Baibuli: Isaaya 47-51 Oluyimba 35

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Ebigambo Ebyoleka Ebbugumu, Enneewulira, Amaanyi (be-LU lup. 163 kat. 1–lup. 164 kat. 2)

Na. 1: Ekigambo kya Yakuwa Kitukuuma nga Tuli Bayonjo era Kituyamba Okubeera Abeesigwa (w05-LU 5/1 lup. 4-5 kat. 5-11)

Na. 2: Isaaya 50:1-11

Na. 3: Lwaki Okusinza Bajjajja Abaafa Tekisanyusa Yakuwa Katonda (rs lup. 31 kat. 4–lup. 32 kat. 1)

Na. 4: Baibuli Evumirira Okugaba Ebirabo?

Feb. 12 Okusoma Baibuli: Isaaya 52-57 Oluyimba 59

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okwogera ng’Ogoberera Amateeka Agafuga Olulimi (be-LU lup. 164 kat. 3–lup. 165 kat. 1)

Na. 1: Ekigambo kya Yakuwa Kituwa Obuvumu (w05-LU 5/1 lup. 6 kat. 12-14)

Na. 2: Isaaya 55:1-13

Na. 3: Obulamu Obulimu Okwefiiriza Buganyula

Na. 4: Abatakkiririza mu Kristo be Baani? (rs lup. 32-3)

Feb. 19 Okusoma Baibuli: Isaaya 58-62 Oluyimba 30

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okukozesa Ekiwandiiko Okuli Ensonga Emboozi kw’Ezimbirwa (be-LU lup. 166 kat. 1–6)

Na. 1: Isaaya​—Lwaki kya Muganyulo (si lup. 123 kat. 34-9)

Na. 2: Isaaya 60:1-14

Na. 3: Lwaki Kirungi Okubeera Omuddu wa Katonda?

Na. 4: d Kwe Tutegeerera Bakyewaggula (rs lup. 34 kat. 1–lup.36 kat. 1)

Feb. 26 Okusoma Baibuli: Isaaya 63-66 Oluyimba 14

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okusengeka Obulungi Ensonga Zo (be-LU lup. 167 kat. 1–lup. 168 kat. 1)

Okwejjukanya

Mak. 5 Okusoma Baibuli: Yeremiya 1-4 Oluyimba 32

Ensonga Ennungi ey’Okwogeramu: Kola Ekiwandiiko Ekyangu Okugoberera (be-LU lup. 168 kat. 2–lup. 169 kat. 5)

Na. 1: Okwanjula Ekitabo kya Yeremiya (si lup. 124 kat. 1-5)

Na. 2: Yeremiya 3:1-13

Na. 3: Essanyu Erya Nnamaddala Liva ku Ki?

Na. 4: e Bakyewaggula Twandibatutte Tutya? (rs lup. 36 kat. 2–lup. 37 kat. 2)

Mak. 12 Okusoma Baibuli: Yeremiya 5-7 Oluyimba 49

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okusengeka Obulungi Ensonga Zo (be-LU lup. 170 kat. 1–lup. 171 kat. 2)

Na. 1: Okutegeka Emboozi ez’Okuwa mu Kibiina (be-LU lup. 47 kat. 1–lup. 49 kat. 1)

Na. 2: Yeremiya 5:1-14

Na. 3: Peetero si lwe Lwazi Kristo kwe Yazimba Ekkanisa (rs lup. 37 kat. 3–lup. 39 kat. 3)

Na. 4: Ebyo Ebiri mu Okuva 14:11 Bituyigiriza Ki Leero

Mak. 19 Okusoma Baibuli: Yeremiya 8-11 Oluyimba 76

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okusengeka Obulungi by’Oyogera (be-LU lup. 171 kat. 3–lup. 172 kat. 5)

Na. 1: Okutegeka Olukuŋŋaana olw’Obuweereza n’Emboozi Endala (be-LU lup. 49 kat. 2–lup. 51 kat. 2)

Na. 2: Yeremiya 10:1-16

Na. 3: Tumanyira ku Ki nti Ibulayimu, Yobu, ne Danyeri Baali Bakkiririza mu Kuzuukira?

Na. 4: Bisumuluzo bya Ngeri Ki Peetero bye Yakozesa? (rs lup. 39 kat. 4–lup. 41 kat. 5)

Mak. 26 Okusoma Baibuli: Yeremiya 12-16 Oluyimba 24

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okukozesa Ebyo Byokka Ebyetaagisa (be-LU lup. 173 kat. 1-4)

Na. 1: Ekinunulo Kireetera Obutuukirivu bwa Katonda Okugulumizibwa (w05 11/1 lup. 13-14)

Na. 2: Yeremiya 12:1-13

Na. 3: “Abo Abeeyita Abasika ba Abatume” si Bakristaayo ba Mazima (rs lup. 42 kat. 1–lup. 44 kat. 3)

Na. 4: Biki Omukristaayo By’asaanidde Okwenyumirizaamu?

Apu. 2 Okusoma Baibuli: Yeremiya 17-21 Oluyimba 83

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okuwa Emboozi nga by’Oyogera Tosoma Bisome (be-LU lup. 174 kat. 1–lup. 175 kat. 5)

Na. 1: Okutegeka Emboozi ya Bonna (be-LU lup. 52 kat. 1–lup. 54 kat. 2)

Na. 2: Yeremiya 20:1-13

Na. 3: Olutalo lwa Kalumagedoni Lujja Kulwanirwa Wa? (rs lup. 44 kat. 4–lup. 46 kat. 3)

Na. 4: f Twanditutte Tutya Okubuulirirwa?

Apu. 9 Okusoma Baibuli: Yeremiya 22-24 Oluyimba 34

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: By’Osaanidde Okwegendereza bw’Owa Emboozi nga Togisoma Busomi (be-LU lup. 175 kat. 6–lup. 177 kat. 1)

Na. 1: Omwogezi by’Asalawo (be-LU lup. 54 kat. 3-5; lup. 55, akasanduuko)

Na. 2: Yeremiya 23:1-14

Na. 3: Lwaki Okwenyigira mu Buweereza bw’Ennimiro Kituleetera Essanyu

Na. 4: Baani era Bintu Ki Ebinaazikirizibwa ku Kalumagedoni? (rs lup. 46 kat. 4–lup. 47 kat. 2)

Apu. 16 Okusoma Baibuli: Yeremiya 25-28 Oluyimba 10

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Bwe Wabaawo Abaagala Okubannyonnyola (be-LU lup. 177 kat. 2–lup. 178 kat. 2)

Na. 1: Kulaakulanya Obusobozi Bwo obw’Okuyigiriza (be-LU lup. 56 kat. 1–lup. 57 kat. 2)

Na. 2: Yeremiya 26:1-15

Na. 3: Baani Abanaawonawo ku Kalumagedoni? (rs lup. 47 kat. 3-8)

Na. 4: Ensi Yakolimirwa mu Ngeri Ki? (Lub. 3:17)

Apu. 23 Okusoma Baibuli: Yeremiya 29-31 Oluyimba 63

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Ng’Olinga Anyumya (be-LU lup. 179-80)

Na. 1: ‘Laga Enjawulo’ (be-LU lup. 57 kat. 3–lup. 58 kat. 2)

Na. 2: Yeremiya 31:1-14

Na. 3: Lwaki Obukulu bwa Yakuwa Tebuliiko Kkomo?

Na. 4: Kalumagedoni​—Terulaga nti Katonda Talina Kwagala (rs lup. 48 kat. 1-3)

Apu. 30 Okusoma Baibuli: Yeremiya 32-34 Oluyimba 78

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Eddoboozi Eddungi (be-LU lup. 181 kat. 1-4)

Okwejjukanya

May. 7 Okusoma Baibuli: Yeremiya 35-38 Oluyimba 36

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Ssa Bulungi (be-LU lup. 181 kat. 5–lup. 184 kat. 1; lup. 182, akasanduuko)

Na. 1: Yamba Abakuwuliriza Okulowooza (be-LU lup. 58 kat. 3–lup. 59 kat. 3)

Na. 2: Yeremiya 36:1-13

Na. 3: Ku Kalumagedoni Tewajja Kubaawo Nnampa w’Engwa (rs lup. 48 kat. 4-7)

Na. 4: Abakristaayo Bayinza Batya Okwolekagana n’Ebigwa Tebiraze?

May. 14 Okusoma Baibuli: Yeremiya 39-43 Oluyimba 26

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Kkakkanya Ebinywa Ebyereeze (be-LU lup. 184 kat. 2–lup. 185 kat. 2; lup. 184, akasanduuko)

Na. 1: Balage Omugaso Gwabyo, era Ssaawo Ekyokulabirako Ekirungi (be-LU lup. 60 kat. 1–lup. 61 kat. 3)

Na. 2: Yeremiya 39:1-14

Na. 3: Ani Akuŋŋaanya Amawanga Okwenyigira mu Lutalo lwa Kalumagedoni? (rs lup. 48 kat. 8–lup. 49 kat. 1)

Na. 4: g Lwaki Abakristaayo ab’Amazima Bafuba Okukuuma Okwogerezaganya Kwabwe nga kwa Kitiibwa

May. 21 Okusoma Baibuli: Yeremiya 44-48 Oluyimba 66

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okufaayo ku Oyo gw’Oyogera Naye (be-LU lup. 186 kat. 1-4)

Na. 1: Okulongoosa mu Ngeri gye Tunyumyamu (be-LU lup. 62 kat. 1–lup. 63 kat. 6)

Na. 2: Yeremiya 46:1-17

Na. 3: Okwerimbalimba Kye Ki, era Tuyinza Tutya Okukwewala?

Na. 4: Kwe Tutegeerera Bababulooni Ekyogerwako mu Kubikkulirwa (rs lup. 49 kat. 2-3)

May. 28 Okusoma Baibuli: Yeremiya 49-50 Oluyimba 71

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Wuliriza Bulungi (be-LU lup. 187 kat. 1-5)

Na. 1: Engeri y’Okwongera Emboozi mu Maaso (be-LU lup. 64 kat. 1–lup. 65 kat. 4)

Na. 2: Yeremiya 49:14-27

Na. 3: Biki Ebyali Bimanyiddwa ku Babulooni eky’Edda? (rs lup. 50 kat. 1–lup. 51 kat. 5)

Na. 4: Ensonga Lwaki Abazadde Basaanidde Okusomera Abaana Baabwe

Jun. 4 Okusoma Baibuli: Yeremiya 51-52 Oluyimba 73

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Yamba Abalala Okukulaakulana (be-LU lup. 187 kat. 6–lup. 188 kat. 3)

Na. 1: Yeremiya​—Lwaki kya Muganyulo (si lup. 129 kat. 36-9)

Na. 2: Yeremiya 52:1-16

Na. 3: Si kya Magezi Okuva ku Katonda ne Tufuuka Bakyetwala

Na. 4: Lwaki Amadiini Ageeyita Amakristaayo Kitundu kya Babulooni Ekinene (rs lup. 52 kat. 1–lup. 53 kat. 1)

Jun. 11 Okusoma Baibuli: Okukungubaga 1-2 Oluyimba 52

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Baako ky’Okolawo Okubayamba (be-LU lup. 188 kat. 4–lup. 189 kat. 3)

Na. 1: Okwanjula Ekitabo kya Okukungubaga (si lup. 130-1 kat. 1-7)

Na. 2: Okukungubaga 2:1-10

Na. 3: Lwaki Kyetaagisa Okufuluma Babulooni Ekinene mu Bwangu (rs lup. 53 kat. 2-7)

Na. 4: Lwaki Okuba ow’Ekisa Tekitegeeza Kuba Munafu

Jun. 18 Okusoma Baibuli: Okukungubaga 3-5 Oluyimba 23

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okussa Ekitiibwa mu Balala (be-LU lup. 190 kat. 1-lup. 191 kat. 1)

Na. 1: Okukungubaga​—Lwaki kya Muganyulo (si lup. 132 kat. 13-15)

Na. 2: Okukungubaga 4:1-13

Na. 3: Okubatizibwa Kye Ki era Lwaki Abakkiriza Babatizibwa (rs lup. 54 kat. 1-4)

Na. 4: h Lwaki Abakristaayo Ab’amazima Tebeenyigira mu bya Bufuzi

Jun. 25 Okusoma Baibuli: Ezeekyeri 1-5 Oluyimba 21

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Obuteewulirira ku Bantu (be-LU lup. 191 kat. 2–lup. 192 kat. 1)

Okwejjukanya

Jul. 2 Okusoma Baibuli: Ezeekyeri 6-10 Oluyimba 9

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okussa Ekitiibwa mu Balala ng’Oyogera (be-LU lup. 192 kat. 2–lup. 193 kat. 2)

Na. 1: Okwanjula Ekitabo kya Ezeekyeri (si lup. 132-3 kat. 1-6)

Na. 2: Ezeekyeri 7:1-13

Na. 3: Ekyetaagisa Okusobola Okusemberera Yakuwa (Yak. 4:8)

Na. 4: Okubatizibwa okw’Ekikristaayo, si kwa Kumansira mazzi, ate si kwa Baana Bawere (rs lup. 54 kat. 5–lup. 55 kat. 4)

Jul. 9 Okusoma Baibuli: Ezeekyeri 11-14 Oluyimba 47

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okwogera nga Weekakasa (be-LU lup. 194 kat. 1–lup. 195 kat. 2)

Na. 1: Toddirira mu Kukola Obulungi (w05 6/1 lup. 29-30)

Na. 2: Ezeekyeri 11:1-13

Na. 3: Okubatizibwa mu Mazzi Kunaazaako Omuntu Ebibi? (rs lup. 55 kat. 5–lup. 56 kat. 1)

Na. 4: Ebigambo Ebiri mu Okubikkulirwa 17:9-11 Bitegeeza Ki?

Jul. 16 Okusoma Baibuli: Ezeekyeri 15-17 Oluyimba 11

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Engeri y’Okulagamu nti Weekakasa (be-LU lup. 195 kat. 3–lup. 196 kat. 4)

Na. 1: Weewale Endowooza Enkyamu! (w05 9/15 lup. 26-8)

Na. 2: Ezeekyeri 16:1-13

Na. 3: Kye Kitegeeza Okuba Omutegeevu (Nge. 13:16)

Na. 4: Baani Ababatizibwa n’Omwoyo Omutukuvu? (rs lup. 56 kat. 2–lup. 57 kat. 3)

Jul. 23 Okusoma Baibuli: Ezeekyeri 18-20 Oluyimba 86

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: N’Obwegendereza Kyokka ng’Oli Munywevu (be-LU lup. 197 kat. 1-3)

Na. 1: Fuba Okumanya Endowooza y’Oyo Akubuuzizza (be-LU lup. 66 kat. 1–lup. 68 kat. 1)

Na. 2: Ezeekyeri 18:19-29

Na. 3: Okubatizibwa n’Omuliro si Kye Kimu n’Okubatizibwa n’Omwoyo Omutukuvu (rs lup. 57 kat. 4–lup. 58 kat. 2)

Na. 4: Ekiraga nti Obwakabaka bwa Katonda Bufuga Kati

Jul. 30 Okusoma Baibuli: Ezeekyeri 21-23 Oluyimba 15

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okuba Abeegendereza nga Tuwa Obujulirwa (be-LU lup. 197 kat. 4–lup. 199 kat. 1)

Na. 1: Manya Engeri gy’Osaanidde Okuddamu (be-LU lup. 68 kat. 2–lup. 70 kat. 3)

Na. 2: Ezeekyeri 23:1-17

Na. 3: Ensonga Lwaki Tulina Okwekenneenya Baibuli (rs lup. 58 kat. 3–lup. 60 kat. 2)

Na. 4: Endowooza Ennungi gye Twandibadde Nayo ku Bukulu y’Eruwa?

Agu. 6 Okusoma Baibuli: Ezeekyeri 24-27 Oluyimba 16

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Ebigambo Ebisaanira mu Kiseera Ekituufu (be-LU lup. 199 kat. 2-4)

Na. 1: Okweyambisa Amabaluwa (be-LU lup. 71-3)

Na. 2: Ezeekyeri 24:1-14

Na. 3: Mu Ngeri Ki Musa gye Yateerawo Abakristaayo Ekyokulabirako Ekirungi?

Na. 4: Obukakafu Obuli mu Isaaya ne Yeremiya Obulaga nti Baibuli Yaluŋŋamizibwa (rs lup. 60 kat. 3–lup. 61 kat. 3)

Agu. 13 Okusoma Baibuli: Ezeekyeri 28-31 Oluyimba 50

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okubeera Omwegendereza ng’Oli n’Ab’Omu Maka Go era n’Abalala (be-LU lup. 200 kat. 1-lup. 201 kat. 1)

Na. 1: Weeyongere Okukulaakulana (be-LU lup. 74 kat. 1–lup. 75 kat. 3)

Na. 2: Ezeekyeri 28:1-16

Na. 3: Okutuukirizibwa kw’Obunnabbi bwa Yesu Kukakasa nti Baibuli Yaluŋŋamizibwa (rs lup. 61 kat. 4–lup. 62 kat. 1)

Na. 4: “Okukyawa” Kirina Makulu Ki mu Byawandiikibwa?

Agu. 20 Okusoma Baibuli: Ezeekyeri 32-34 Oluyimba 96

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Mu Ngeri Ezimba era Ezzaamu Amaanyi (be-LU lup. 202 kat. 1–lup. 203 kat. 2)

Na. 1: Kozesa Ebitone Byo (be-LU lup. 75 kat. 4–lup. 77 kat. 2)

Na. 2: Ezeekyeri 34:1-14

Na. 3: Omwoyo gwa Katonda Gutuyamba Gutya?

Na. 4: Baibuli by’Eyogera ku Sayansi Bituufu (rs lup. 62 kat. 2–lup. 64 kat. 3)

Agu. 27 Okusoma Baibuli: Ezeekyeri 35-38 Oluyimba 13

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Yogera mu Ngeri Ezzaamu Amaanyi (be-LU lup. 203 kat. 3–lup. 204 kat. 2)

Okwejjukanya

Seb. 3 Okusoma Baibuli: Ezeekyeri 39-41 Oluyimba 98

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Ng’Onyumya ne Bakkiriza Banno (be-LU lup. 204 kat. 3–lup. 205 kat. 5)

Na. 1: Lwaki Twandisiimye Ekigambo kya Katonda? (w05-LU 5/1 lup. 8-9 kat. 3-6)

Na. 2: Ezeekyeri 40:1-15

Na. 3: Ddala Abantu Basobola Okusanyusa Katonda?

Na. 4: i Okuddamu abo Abalina Kye Beemulugunya ku Baibuli (rs lup. 64 kat. 4–lup. 68 kat. 1)

Seb. 10 Okusoma Baibuli: Ezeekyeri 42-45 Oluyimba 34

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okuggumiza Ensonga ng’Oziddiŋŋana (be-LU lup. 206 kat. 1-4)

Na. 1: Ebiro eby’Obukadde we Bibeerera ‘Engule ey’Ekitiibwa’ (w05 1/15 lup. 8-9)

Na. 2: Ezeekyeri 43:1-12

Na. 3: Ensonga Lwaki Abakristaayo Tebakuza Mazaalibwa (rs lup. 68 kat. 2–lup. 70 kat. 2)

Na. 4: j Tuyinza Tutya Okumanya ‘Eddoboozi ly’Abantu Abatamanyiddwa’? (Yok. 10:5)

Seb. 17 Okusoma Baibuli: Ezeekyeri 46-48 Oluyimba 72

Engeri Ennungi ey’Okwogerako: Okuddiŋŋana Ensonga mu Buweereza bw’Ennimiro ne bw’Oba owa Emboozi (be-LU lup. 207 kat. 1–lup. 208 kat. 4)

Na. 1: Ezeekyeri​—Lwaki kya Muganyulo (si lup. 137 kat. 29-33)

Na. 2: Ezeekyeri 47:1-14

Na. 3: Lwaki Abakristaayo Beewala Omusaayi? (rs lup. 70 kat. 3–lup. 72 kat. 3)

Na. 4: k Lwaki Obusika obw’Eby’Omwoyo Kye Kirabo Ekisingayo Obulungi Abazadde Kye Basobola Okuwa Abaana Baabwe

Seb. 24 Okusoma Baibuli: Danyeri 1-3 Oluyimba 62

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okukulaakulanya Omutwe (be-LU lup. 209 kat. 1-3)

Na. 1: Okwanjula Ekitabo kya Danyeri (si lup. 138-9 kat. 1-6)

Na. 2: Danyeri 2:1-16

Na. 3: Lwaki 144,000 si Muwendo gwa Kabonero (Kub. 7:4)

Na. 4: Ensonga Lwaki Abakristaayo ab’Amazima Tebakkiriza Kuteekebwamu Musaayi (rs lup. 72 kat. 4–lup. 73 kat. 4)

Okit. 1 Okusoma Baibuli: Danyeri 4-6 Oluyimba 81

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okukozesa Omutwe Ogutuukirawo (be-LU lup. 210 kat. 1–lup. 211 kat. 1; lup. 211, akasanduuko)

Na. 1: Biki Ebireetera Omuntu Okuba n’Ensonga Entuufu Okusunguwala? (w05 8/1 lup. 13-15)

Na. 2: Danyeri 4:1-17

Na. 3: Tuyinza Tutya Okukoppa Engeri za Mefibosesi Ennungi?

Na. 4: l Okuddamu abo Abalowooza nti Okuteekebwamu Omusaayi Kiba Kiyamba Ffe (rs lup. 74 kat. 1–lup. 76 kat. 2)

Okit. 8 Okusoma Baibuli: Danyeri 7-9 Oluyimba 14

Engeri Ennungi ey’Okwogerako: Okuggyayo Obulungi Ensonga Enkulu (be-LU lup. 212 kat. 1–lup. 213 kat. 2)

Na. 1: Leka “Ekigambo” kya Yakuwa Kikukuume (w05 9/1 lup. 28-31)

Na. 2: Danyeri 7:1-12

Na. 3: Okuzaalibwa Omulundi Ogwokubiri Kitegeeza Ki? (rs p. 76 ¶3–p. 77 ¶7)

Na. 4: Ssanyu Ki ery’Enjawulo Tufuna bwe Twenyigira mu Buweereza bw’Ennimiro Obutayosa?

Okit. 15 Okusoma Baibuli:Danyeri 10-12 Oluyimba 22

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Toba na Nsonga Nkulu Nnyingi (be-LU lup. 213 kat. 3–lup. 214 kat. 5)

Na. 1: Danyeri​—Lwaki kya Muganyulo (si lup. 141-2 kat. 19-23)

Na. 2: Danyeri 11:1-14

Na. 3: Engeri Obuwombeefu gye Butuyamba Okuvvuunuka Obutategeeragana

Na. 4: Okulokolebwa Tekusinziira ku Kuzaalibwa Mulundi Gwakubiri (rs lup. 77 kat. 8–lup. 79 kat. 1)

Okit. 22 Okusoma Baibuli: Koseya 1-7 Oluyimba 33

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Ennyanjula Esikiriza (be-LU lup. 215 kat. 1–lup. 216 kat. 4)

Na. 1: Okwanjula Ekitabo kya Koseya n’Ensonga Lwaki kya Muganyulo (si lup. 143-5 kat. 1-8, 14-17)

Na. 2: Koseya 5:1-15

Na. 3: a Okuddamu Abo Abagamba nti Baazaalibwa Omulundi Ogwokubiri (rs lup. 79 kat. 3–lup. 80 kat. 2)

Na. 4: Embeera ez’Enjawulo Abakristaayo ab’Amazima mwe Boolekera Obugumiikiriza

Okit. 29 Okusoma Baibuli: Koseya 8-14 Oluyimba 38

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Ennyanjula Esikiriza Ng’Oli mu Buweereza bw’Ennimiro (be-LU lup. 217 kat. 1-4)

Okwejjukanya

Nov. 5 Okusoma Baibuli: Yoweeri 1-3 Oluyimba 73

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Laga Omutwe gw’Ogenda Okwogerako mu Nnyanjula (be-LU lup. 217 kat. 5–lup. 219 kat. 1)

Na. 1: Okwanjula Ekitabo kya Yoweeri n’Ensonga Lwaki kya Muganyulo (si lup. 146-8 kat. 1-5, 12-14)

Na. 2: Yoweeri 2:1-14

Na. 3: Kye Kitegeeza Okuba ‘n’Okwagala Okutuukirivu’ (1 Yok. 4:18)

Na. 4: Okwatula Ebibi eri Bakabona​—Lwaki si kya mu Byawandiikibwa? (rs lup. 80 kat. 3–lup. 81 kat. 9)

Nov. 12 Okusoma Baibuli: Amosi 1-9 Oluyimba 93

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okufundikira Obulungi (be-LU lup. 220 kat. 1-3)

Na. 1: Okwanjula Ekitabo kya Amosi n’Ensonga Lwaki kya Muganyulo (si lup. 148-50 kat. 1-6, 13-17)

Na. 2: Amosi 2:1-16

Na. 3: Lwaki Okuyita mu Bizibu si y’Engeri ey’Okuyiga Esingayo Obulungi

Na. 4: Okwatula Ebibi Byaffe eri Katonda n’Eri Muntu Munnaffe (rs lup. 83 kat. 2-8)

Nov. 19 Okusoma Baibuli: Obadiya 1–Yona 4 Oluyimba 98

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: By’Olina Okujjukira (be-LU lup. 220 kat. 4–lup. 221 kat. 4)

Na. 1: Okwanjula Ekitabo kya Obadiya n’Ekya Yona n’Ensonga Lwaki bya Muganyulo (si lup. 151-3 kat. 1-5, 10-14; lup. 153-5 kat. 1-4, 9-12)

Na. 2: Yona 1:1-17

Na. 3: Lwaki Olusuku olw’Eby’Omwoyo lwe Lulina Okusooka olw’Oku Nsi

Na. 4: b Lwaki Ebibi eby’Amaanyi Birina Okutegeezebwa Abakadde? (rs lup. 83 kat. 9–lup. 84 kat. 4)

Nov. 26 Okusoma Baibuli: Mikka 1-7 Oluyimba 51

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Mu Buweereza bw’Ennimiro (be-LU lup. 221 kat. 5–lup. 222 kat. 6)

Na. 1: Okwanjula Ekitabo kya Mikka n’Ensonga Lwaki kya Muganyulo (si lup. 155-8 kat. 1-8, 16-19)

Na. 2: Mikka 2:1-13

Na. 3: Kye Kitegeeza Okuba Abateefu

Na. 4: Lwaki kya Magezi Okukkiriza nti Ebintu Byatondebwa (rs lup. 84 kat. 5–lup. 86 kat. 2)

Des. 3 Okusoma Baibuli: Nakkumu 1–Kaabakuuku 3 Oluyimba 87

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okwogera Ebituufu (be-LU lup. 223 kat. 1-5)

Na. 1: Okwanjula Ekitabo kya Nakkumu n’Ekya Kaabakuuku n’Ensonga Lwaki bya Muganyulo (si lup. 158-60 kat. 1-7, 11-12; lup. 161-3 kat. 1-5, 12-14)

Na. 2: Kaabakuuku 1:1-17

Na. 3: Okutegeera Baibuli ky’Eyogera ku Kutondebwa kw’Ebintu (rs lup. 86 kat. 3–lup. 88 kat. 4)

Na. 4: Lwaki Obulamu Obutaggwaawo Tetujja Kubwetamwa

Des. 10 Okusoma Baibuli: Zeffaniya 1–Kaggayi 2 Oluyimba 80

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: ‘Nywerera ku Kigambo Ekyesigwa’ (be-LU lup. 224 kat. 1-4)

Na. 1: Okwanjula Ekitabo kya Zeffaniya n’Ekya Kaggayi n’Ensonga bya Muganyulo (si lup. 163-6 kat. 1-6, 10-12; lup. 166-8 kat. 1-7, 13-16)

Na. 2: Zeffaniya 3:1-17

Na. 3: Lwaki Okusinza Omusaalaba si kya mu Byawandiikibwa? (rs lup. 92 kat. 1–lup. 93 kat. 1)

Na. 4: c Lwaki Okuba n’Enkolagana Ennungi ne Katonda Kiganyula Abafumbo?

Des. 17 Okusoma Baibuli: Zekkaliya 1-8 Oluyimba 92

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Engeri y’Okukakasaamu nti bye Twogera Bituufu (be-LU lup. 225 kat. 1-3)

Na. 1: Okwanjula Ekitabo kya Zekkaliya (si lup. 168-9 kat. 1-7)

Na. 2: Zekkaliya 7:1-14

Na. 3: Okufuusibwa kwa Yesu Kutuukiriziddwa mu Ngeri Ki?

Na. 4: Embala y’Emyaka gy’Abantu nga Amataba Tegannabaawo y’Emu n’Ey’Omu Kiseera Kyaffe? (rs lup. 94 kat. 4–lup. 95 kat. 1)

Des. 24 Okusoma Baibuli: Zekkaliya 9-14 Oluyimba 6

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Ebitegeerekeka eri Abalala (be-LU lup. 226 kat. 1–lup. 227 kat. 2)

Na. 1: Zekkaliya​—Lwaki kya Muganyulo, Okwanjula Ekitabo kya Malaki n’Ensonga Lwaki kya Muganyulo (si lup. 171-2 kat. 23-7; lup. 172-5 kat. 1-6, 13-17)

Na. 2: Zekkaliya 10:1-12

Na. 3: Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa bagamba nti Obwakabaka bwa Katonda Bwatandika Okufuga mu 1914? (rs lup. 95 kat. 2–lup. 97 kat. 2)

Na. 4: Tuyinza Tutya Okweteekerateekera Okuyigganyizibwa?

Des. 31 Okusoma Baibuli: Malaki 1-4 Oluyimba 91

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Nnyonnyola Ebigamba bye Batamanyi (be-LU lup. 227 kat. 3–lup. 228 kat. 1)

Okwejjukanya

[Obugambo obuli wansi]

a Mu ebyo ebikuweereddwa, londamu ensonga enkulu ezituukagana obulungi n’ebyetaago by’ekitundu kye mubuuliramu.

b Mu ebyo ebikuweereddwa, londamu ensonga enkulu ezituukagana obulungi n’ebyetaago by’ekitundu kye mubuuliramu.

c Giwe baluganda bokka.

d Giwe baluganda bokka.

e Giwe baluganda bokka.

f Giwe baluganda bokka.

g Giwe baluganda bokka.

h Giwe baluganda bokka.

i Mu ebyo ebikuweereddwa, londamu ensonga enkulu ezituukagana obulungi n’ebyetaago by’ekitundu kye mubuuliramu.

j Giwe baluganda bokka.

k Giwe baluganda bokka.

l Mu ebyo ebikuweereddwa, londamu ensonga enkulu ezituukagana obulungi n’ebyetaago by’ekitundu kye mubuuliramu.

a Mu ebyo ebikuweereddwa, londamu ensonga enkulu ezituukagana obulungi n’ebyetaago by’ekitundu kye mubuuliramu.

b Giwe baluganda bokka.

c Giwe baluganda bokka.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza