Ebirango
◼ Okitobba: Tujja kugaba Watchtower ne Awake! Bw’osanga omuntu ayagala okumanya ebisingawo, muwe brocuwa Beera Bulindaala! emuyambe okumanya ebisingawo ku Baibuli. Noovemba: Tujja kugaba ekitabo Learn From the Great Teacher. Abo abatalina baana, bawe tulakiti erina omutwe, Wandyagadde Okumanya Ebisingawo Ebikwata ku Baibuli? oba akatabo Okumanya. Ddesemba: Tujja kugaba ekitabo The Greatest Man Who Ever Lived. Oba tuyinza okukozesa ebitabo ebirala nga: The Bible—God’s Word or Man’s?, Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli, ne Osobola Okuba Omulamu Emirembe Gyonna mu Lusuku lwa Katonda ku Nsi, bwe muba mubirina mu kibiina kyammwe. Jjanwali 2007: Tujja kugaba obutabo obw’empapula 192 obulina empapula ezimyukiridde oba akatabo konna akaakubibwa ng’omwaka 1991 tegunnatuuka. Era tuyinza n’okugaba akatabo Okumanya oba brocuwa Beera Bulindaala!
◼ Okuva omwezi gwa Ddesemba bwe gulimu wiikendi ettaano, gwandibadde mulungi okukoleramu nga payoniya omuwagizi.
◼ “Enteekateeka y’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda mu 2007” esangibwa ku lupapula olw’omunda olwa Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka ak’omwezi guno, tusaanidde okugitereka obulungi kubanga ejja kukozesebwa mu mwaka gwonna ogwa 2007.
◼ Vidiyo gye ziri, vidiyo eyitibwa No Blood—Medicine Meets the Challenge ejja kukubaganyizibwako ebirowoozo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza mu Jjanwali. Bwe muba mugyetaaga ku DVD oba ku kaseti mugisabe okuyitira mu kibiina kyammwe amangu ddala nga bwe kisoboka.
◼ Okwogera okw’enjawulo mu kiseera ky’Ekijjukizo mu 2007 kujja kuweebwa ku Ssande, Apuli 15, 2007. Omutwe gujja kubategeezebwa oluvannyuma. Ebibiina ebinaaba n’okukyala kw’omulabirizi w’ekitundu oba olukuŋŋaana olunene mu wiiki eyo bijja kufuna okwogera okw’enjawulo wiiki eddako. Tewali kibiina kikkirizibwa kufuna kwogera kuno nga Apuli 15 terunnatuuka.