LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 10/05 lup. 2
  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Emitwe emitono
  • Wiiki Etandika Okitobba 10
  • Wiiki Etandika Okitobba 17
  • Wiiki Etandika Okitobba 24
  • Wiiki Etandika Okitobba 31
  • Wiiki Etandika Noovemba 7
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
km 10/05 lup. 2

Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Wiiki Etandika Okitobba 10

Oluyimba 34

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina n’ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Kozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8 (bwe biba bituukirawo mu kitundu kyammwe), okulaga ebyokulabirako ku ngeri y’okugabamu Watchtower aka Ssebutemba 15 ne Awake! aka Ssebutemba 22. Buli luvannyuma lw’ekyokulabirako, yogera ku bintu ebirungi ebikibaddemu. Ate era yogera ku bitundu ebirala ebiri mu magazini ebiyinza okusikiriza abantu b’omu kitundu kye mubuuliramu.

Ddak. 15: Olina Enteekateeka Ennungi ey’Okwesomesa? Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku bitundu ebiri mu kitabo Essomero ly’Omulimu, empapula, 21-6. Biki bye tuyinza okuteeka mu nteekateeka yaffe ey’okusoma? (lup. 21, akasanduuko) Lwaki kikulu okusoma ebitabo ebituweebwa omuddu omwesigwa? (lup. 23, kat. 2) Kiki ekiyinza okukuyamba okunywerera ku nteekateeka yo ey’okusoma? (lup. 26, but. 3-4) Osobodde otya okukola enteekateeka ey’okusoma Watchtower ne Awake!? Kino kikuganyudde kitya?

Ddak. 20: “Weeyongere Okubuulira Ekigambo kya Katonda n’Obuvumu.”a Saba abawuliriza boogere ku mbeera ez’enjawulo we kyetaagisiza obuvumu okusobola okubuulira. Kiki ekibayambye okubuulira mu mbeera ng’ezo?

Oluyimba 42 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Okitobba 17

Oluyimba 39

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Nga mukozesa ekitundu 3 ekiri ku lupapula olw’omunda olwa Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Ssebutemba 2005, mwejjukanye ensonga emu oba bbiri ezikwata ku ngeri y’okukozesaamu obulungi Ebyawandiikibwa nga tuyigiriza abantu Baibuli.

Ddak. 15: Weewale Akabi Akali mu Kukozesa Obubi Internet. Kwogera kw’omukadde nga kwesigamiziddwa ku Awake! aka Ddesemba 8, 2004, empapula 18-21.

Ddak. 20: “Faayo ku Bantu​—ng’Obalaga Ekisa.”b Saba abawuliriza boogere ku ngeri gye tuyinza okulagamu abalala ekisa bwe tuba mu buweereza bw’ennimiro. Engeri endala ze tuyinza okulagamu nti tufaayo ku abo be tubuulira zijja kwogerwako mu bitundu ebirala ebijja okufulumira mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka mu biseera eby’omu maaso.

Oluyimba 88 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Okitobba 24

Oluyimba 53

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Soma alipoota y’eby’embalirira n’ebbaluwa eraga nti ssente ezaaweebwayo ku Sosayate zaatuuka. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula olw’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2005 oba ennyanjula endala ezituukirawo mu kitundu kyammwe, laga engeri y’okugabamu ebitabo ebirina okugabibwa mu mwezi gwa Noovemba.​—Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2005 lup. 8, kat. 5.

Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina. Olukuŋŋaana olwa disitulikiti bwe luba nga lwaggwa, mwejjukanye ensonga enkulu ezaalulimu. Laba ebiri ku lupapula 2 mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjuuni 2005.

Ddak. 20: Okwoleka Emitindo gya Katonda mu Nnyambala ne mu Kwekolako. Kwogera kw’omukadde n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku Watchtower, aka Agusito 1, 2002 empapula 17-19. Saba abawuliriza boogere ku ngeri endabika yaffe ennungi gy’eyinza okutusobozesa okuwa obujulirwa.

Oluyimba 48 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Okitobba 31

Oluyimba 92

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza eza Okitobba. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8 (bwe biba nga bituukirawo mu kitundu kyammwe), laga engeri y’okugabamu Watchtower aka Okitobba 1 ne Awake! aka Okitobba 8. Mu kimu ku byokulabirako laga ng’omubuulizi eteekawo omusingi kw’anasinziira okuddayo ng’akozesa akasanduuko akalina omutwe “In Our Next Issue”​—Laba Our Kingdom Ministry aka Okitobba 1998, lup. 8, but. 7-8.

Ddak. 15: Yamba Abantu b’Otera Okutwalira Magazini Okuyiga Amazima. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Maayi 2005, olupapula 8. Tuyinza tutya okutandika okutwalira omuntu magazini buli lwe ziba zizze? (kat. 1) Tuyinza tutya okutegeka ennyanjula ez’enjawulo nga buli emu erimu ekyawandiikibwa kimu kye tunaakubanyako ebirowoozo? (kat. 3) Lwaki tetulina kukoma ku kusoma busomi kyawandiikibwa? (kat. 4) Omuntu gw’otera okutwalira magazini ayinza atya okufuuka omuyizi wa Baibuli? (kat. 5) Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi akubaganya ebirowoozo ku kyawandiikibwa n’omuntu gw’atera okutwalira magazini.

Ddak. 20: Abavubuka Abanywerera ku Kukkiriza Kwabwe Kyokka nga Bawa Abalala Ekitiibwa. Kwogera kw’omukadde nga kwesigamiziddwa ku Watchtower aka Ssebutemba 15, 2002, empapula 23-4 wansi w’omutwe “Refrain Respectfully.” Tegeka nga bukyali omuvubuka omu oba babiri boogere ku bizibu bye boolekagana nabyo ku ssomero n’ekibayambye okubivvuunuka.

Oluyimba 100 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Noovemba 7

Oluyimba 7

Ddak. 5: Ebirango by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase.

Ddak. 20: Weeyongere Okussaayo Omwo yo ng’Oli mu Nkuŋŋaana. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku Watchtower aka Ssebutemba 15, 2002, empapula 12-14, obutundu 11-14. Yogera ku birowoozo ebiweereddwa, era saba abawuliriza boogere ku kibayambye okuganyulwa mu nkuŋŋaana z’ekibiina.

Ddak. 20: “Yiga Okukubaganya Ebirowoozo n’Abalala.”c Saba abamu ku babuulizi boogere ku ngeri gye basobodde okukubaganya ebirowoozo n’abantu ab’enjawulo nga babuulira mu kitundu kyabwe.

Oluyimba 24 n’okusaba okufundikira.

[Obugambo obuli wansi]

a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza