Faayo ku Bantu—Ng’Obalaga Ekisa
1 Ng’ajjukira omulundi gwe yasooka okusisinkana omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, omukyala omu eyali tayagala Bajulirwa yagamba: “Sijjukira bye twayogera, naye kye nzijukira kyokka, ky’ekisa kye yandaga, omukwano era n’obuwombeefu bwe. Nnawulira nga njagala abeere mukwano gwange.” Ebigambo ebyo biraga bulungi obukulu bw’okufaayo ku bantu be tubuulira.—Baf. 2:4.
2 Okwagala Kulina Ekisa: Engeri emu gye tulagamu abalala okwagala, kwe kuba ab’ekisa. (1 Kol. 13:4) Omuntu ow’ekisa afaayo ku balala era afuba okubakolera ebintu eby’omuganyulo. Kyo kituufu nti bwe tukola omulimu gw’okubuulira, tuba tulaga abalala ekisa. Naye okusobola okukyoleka nti tufaayo nnyo ku bantu, tekirina kukoma ku kubabuulira bubuulizi. Engeri gye tuyisaamu abantu, kwe kugamba okubalaga omukwano, empisa ennungi, okubawuliriza, era n’engeri gye tubatunuuliramu, bijja kulaga nti tubafaako.—Mat. 8:2, 3.
3 Okufaayo ku bantu era kujja kutukubiriza okubaako kye tukolawo okubayamba. Payoniya omu bwe yali ng’abuulira nnyumba ku nnyumba, nnamukadde omu yagaana okumuwuliriza oluvannyuma lw’okutegeera nti yali omu ku bajulirwa. Era nnamukadde oyo yamugamba nti waakonkonedde ku luggi abadde waggulu ku ddaala ng’agezaako okussaayo ettaala y’omu ffumbiro lye. Payoniya yamuddamu nti: “Kya kabi nnyo okukola ekintu ng’ekyo wekka.” Nnamukadde yamukkiriza okugimuteekerayo era bwe yamala okugiteekayo n’agenda. Oluvannyuma lw’akaseera katono, mutabani wa nnamukadde oyo yajja okumulabako, nnamukadde n’amutegeeza ekyabaddewo. Mutabani we yakwatibwako nnyo era yayagala okusisinkana ow’oluganda oyo amwebaze. Basisinkana ne banyumya, era ekyo kyaviirako mutabani wa nnamukadde oyo okutandika okuyiga Baibuli.
4 Bwe tubeera ab’ekisa, tuba twoleka okwagala Yakuwa kwalina eri abantu era kino kiweesa obubaka bw’Obwakabaka ekitiibwa. N’olwekyo, ka tweyongere okulaga nti ‘tuli baweereza ba Katonda nga tulaga abalala ekisa.’—2 Kol. 6:4, 6.