LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 10/05 lup. 3-6
  • Enteekateeka Y’essomero Ly’omulimu Gwa Katonda Mu 2006

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enteekateeka Y’essomero Ly’omulimu Gwa Katonda Mu 2006
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Emitwe emitono
  • Endagiriro
  • ENTEEKATEEKA
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
km 10/05 lup. 3-6

Enteekateeka Y’essomero Ly’omulimu Gwa Katonda Mu 2006

Endagiriro

Mu 2006 eno y’ejja okuba enteekateeka eneegobererwa mu ssomero ly’Omulimu gwa Katonda.

AWASIBUKA EMBOOZI: New World Translation of the Holy Scriptures [bi12], The Watchtower [w], Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda [be-LU], “All Scripture Is Inspired of God and Beneficial” (Ekya 1990) [si], ne Reasoning From the Scriptures (Aka 1989) [rs].

Essomero lirina okutandika mu KISEERA n’oluyimba, okusaba, n’okwaniriza abazze ate oluvannyuma mugoberere enkola eno wammanga.

ENGERI ENNUNGI EY’OKWOGERAMU: Ddakiika 5. Omulabirizi w’essomero, omuyambi we, oba omukadde omulala yenna alina ebisaanyizo ajja kunnyonnyola engeri ennungi ey’okwogeramu okuva mu kitabo Essomero ly’Omulimu. (Mu bibiina omuli abakadde abatono, abaweereza mu kibiina abalina ebisaanyizo bayinza okukozesebwa.)

EMBOOZI 1: Ddakiika 10. Erina kuweebwa mukadde oba muweereza, era ejja kuggibwa mu Watchtower, Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, oba “All Scripture Is Inspired of God and Beneficial.” Ya kuweebwa mu ddakiika 10 nga temuli kubuuza bibuuzo. Ekigendererwa si kwe kwogera obwogezi ku ebyo ebiri mu kitundu omuggiddwa emboozi, wabula kwe kuteeka essira ku muganyulo oguli mu ebyo ebyogerwako n’okuggumiza ebyo ebinaasinga okuyamba ekibiina. Omutwe oguweereddwa gwe gulina okukozesebwa. Kisuubirwa nti ab’oluganda abawa emboozi eno bajja kwegendereza baleme kusussa mu kiseera ekibaweereddwa. Bwe kiba kyetaagisa okubawabula, kiyinza okukolebwa mu kyama.

OKUNOKOLAYO EBIMU KU BIBADDE MU KUSOMA BAIBULI: Ddakiika 10. Mu ddakiika ettaano ezisooka, omukadde oba omuweereza alina ebisaanyizo alina okukwataganya ebyo ebibadde mu ssuula ezisomeddwa wiiki eyo n’ebyetaago by’ekibiina. Ayinza okwogera ku ssuula yonna ebadde mu kusoma Baibuli wiiki eyo. Talina kuwumbawumbako buwumbiwumbi kitundu ekisomeddwa. Ekigendererwa ekikulu kwe kuyamba abawuliriza okutegeera ensonga lwaki ebisomeddwa bya muganyulo era n’engeri gye bibaganyuddemu. Omwogezi alina okukakasa nti tasussa ddakiika ttaano ng’anokolayo ensonga ezo. Alina okukakasa nti alekayo eddakiika ttaano abawuliriza ze banaakozesa okubaako bye boogera. Abawuliriza balina okusabibwa okubaako bye boogera mu bimpimpi (nga bakozesa obutikitiki 30 oba n’obutawera) ku ebyo ebyabakutteko bwe baabadde basoma Baibuli wiiki eyo era n’engeri gye baganyuddwamu. Oluvannyuma akubiriza essomero ajja kusaba abayizi abalala bagende gye balina okuweera emboozi zaabwe.

EMBOOZI 2: Ddakiika 4 oba n’obutawera. Ow’oluganda y’alina okuweebwa emboozi eno. Omuyizi alina kusoma busomi ebyo ebimuweereddwa nga takozesezza nnyanjula oba okubaako by’ayogera ng’afundikira. By’asoma bwe biba nga biva mu Zabbuli, alina okusoma n’obugambo obutono obuli waggulu w’essuula gy’asoma. Akubiriza essomero yandifuddeyo nnyo ku kuyamba abayizi okuyiga okusoma nga bategeera bye basoma, nga tebasikattira, nga baggumiza we kisaanira, nga basiriikiriramu we kyetaagisa era nga bakozesa eddoboozi lyabwe erya bulijjo.

EMBOOZI 3: Ddakiika 5. Ya kuweebwa mwannyinaffe. Abayizi abanaaweebwa emboozi eno bajja kutegezeebwa embeera gye basaanidde okugiweeramu oba bo bennyini bajja kwerondera emu ku ezo eziri ku lupapula 82 mu kitabo Essomero ly’Omulimu. Omuyizi alina okukozesa omutwe ogumuweereddwa era n’okugutuukanya n’embeera yonna esobola okubaawo mu buweereza bw’ennimiro mu kitundu kyammwe. Omuyizi bw’atalagibwa wa kuggya ebyo ebinaamuyamba okutegeka emboozi ye, kijja kumwetaagisa okunoonyereza mu bitabo byaffe. Abayizi abapya balina okuweebwa emboozi mwe balagirwa ebitabo we bayinza okusanga ebinaabayamba okutegeka. Akubiriza essomero ajja kwetegereza nnyo engeri omuyizi gy’asengekamu ebyo by’ayogera era n’engeri gy’ayambamu nnyinimu okunnyonnyoka Ebyawandiikibwa n’okutegeera obulungi ensonga enkulu. Akubiriza essomero ajja kumulondera omuyambi omu.

EMBOOZI 4: Ddakiika 5. Omuyizi alina okuzimbira emboozi ye ku mutwe ogumuweereddwa. Omuyizi bw’atalagibwa w’ayinza kuggya ebyo ebinaamuyamba okutegeka emboozi ye, alina okunoonyereza okuva mu bitabo byaffe. Bw’eweebwa ow’oluganda, alina kwogera butereevu eri abamuwuliriza mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Bw’eweebwa mwannyinaffe, erina kuweebwa nga bwe kiragiddwa ku Mboozi 3. akubiriza essomero ayinza okuwa ow’oluganda Emboozi 4 buli lw’alaba nga kyetaagisa. Weetegereze nti emitwe egiriko akamunyeenye girina kuweebwa baluganda bokka.

EBISEERA: Abawa emboozi awamu n’oyo abawabula tebalina kusussa mu biseera bibaweereddwa. Abo abawa Emboozi 2 okutuuka ku 4 balina okuyimirizibwa mu ngeri ey’amagezi, ekiseera ekibaweereddwa bwe kiba nga kiweddeko. Singa ab’oluganda abawa emboozi ekwata ku ngeri ennungi ey’okwogeramu, oba abo abawa Emboozi 1, awamu n’abo abanokolayo ebimu ku ebyo ebibadde mu kusoma Baibuli, basussa mu biseera, basaanidde okuwabulwa mu kyama. Bonna balina okufuba okukuuma obudde. Olukuŋŋaana lwonna lulina okutwala eddakiika 45, nga togasseeko budde bwa luyimba n’okusaba.

OKUWABULA: Ddakiika 1. Akubiriza essomero talina kusukka ddakiika emu buli lw’aba ng’ayogera ku birungi ebibadde mu mboozi 2, 3 oba 4. Ekigendererwa kye si kugamba bugambi nti “weebale nnyo,” wabula okulaga ensonga lwaki omuyizi akoze bulungi. Okusinziira ku bwetaavu bwa buli muyizi, akubiriza essomero ayinza okwongera okuwabula omuyizi nga bali bokka oluvannyuma lw’olukuŋŋaana oba mu kiseera ekirala.

OMUYAMBI W’AKUBIRIZA ESSOMERO: Akakiiko k’abakadde kayinza okulondayo omukadde omulala alina obumanyirivu, okukola ng’omuyambi w’omulabirizi w’essomero. Ekibiina bwe kiba n’abakadde abawerako, buli mwaka obuvunaanyizibwa buno buyinza okuweebwa omukadde omulala. Obuvunaanyizibwa bw’omuyambi ono kwe kuwabula mu kyama ab’oluganda abawa Emboozi 1 n’abo abanokolayo ebimu ku ebyo ebiri mu kitundu kya Baibuli ekisomeddwa wiiki eyo. Tekiri nti buli bakadde banne oba abaweereza lwe bawa emboozi alina okubawabula.

FOOMU OKUWABULIRWA: Eri mu kitabo.

OKWEJJUKANYA: Ddakiika 30. Buli luvannyuma lwa myezi ebiri, wabaawo okwejjukanya era ng’omulabirizi w’essomero y’akukubiriza. Okwejjukanya kuno kubaawo oluvannyuma lw’okwekenneenya engeri ennungi ey’okwogeramu awamu n’okunokolayo ebimu ku bibadde mu kusoma Baibuli nga bwe kiragiddwa waggulu. Eby’okwejjukanya byesigamizibwa ku ebyo ebiyigiddwa mu ssomero mu myezi ebiri egiyise nga mw’otwalidde n’ebyo ebiyigiddwa mu wiiki eyo yennyini omuli okwejjukanya. Singa ekibiina kyammwe kiba n’olukuŋŋaana olunene olw’ennaku ebbiri mu wiiki eneebaamu okwejjukanya, okwejjukanya kuno (awamu n’ebitundu ebirala ebya programu eya wiiki eyo) mujja kubifuna mu wiiki eddirira olukuŋŋaana olunene olw’ennaku ebbiri. Ate ebiri ku programu ebyandibadde ebya wiiki ey’omu maaso, bijja kwekenneenyezebwa ku lukuŋŋaana olunene olw’ennaku ebbiri. Omulabirizi w’ekitundu bw’aba ng’anaakyalira ekibiina kyammwe mu wiiki eneebaamu okwejjukanya, oluyimba n’emboozi ekwata ku ngeri ennungi ey’okwogeramu, awamu n’okunokolayo ebimu ku bibadde mu kusoma Baibuli birina okusigala ng’enteekateeka bw’eri. Emboozi 1 (eweebwa oluvannyuma lw’emboozi ekwata ku ngeri ennungi ey’okwogeramu) erina okuggibwa mu nteekateeka ya wiiki eddako. Enteekateeka y’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda eya wiiki eddako ejja kubaamu emboozi ekwata ku ngeri ennungi ey’okwogeramu, okunokolayo ebimu ku bibadde mu kusoma Baibuli wiiki eyo, n’oluvannyuma, okwejjukanya okutali mu buwandiike.

ENTEEKATEEKA

Jan. 2 Okusoma Baibuli: 2 Ebyomumirembe 29-32 Oluyimba 80

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Ganyulwa mu Bujjuvu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda (be-LU lup. 5 kat. 1–lup. 8 kat. 1)

Na. 1: Funa Essanyu mu Kusoma Ekigambo kya Katonda (be-LU lup. 9 but. 1-5)

Na. 2: 2 Ebyomumirembe 30:1-12

Na. 3: Lwaki Abakristaayo ab’Amazima Beewala Okukozesa Ebigambo Ebivuma?

Na. 4: Engeri Ekibi gye Kyonoonamu Enkolagana Yaffe ne Katonda (rs lup. 374 kat. 2–lup. 375 kat. 2)

Jan. 9 Okusoma Baibuli: 2 Ebyomumirembe 33-36 Oluyimba 61

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okusoma Obulungi (be-LU lup. 83 kat.1– lup. 84 kat. 1)

Na. 1: 2 Ebyomumirembe​—Ensonga Lwaki kya Muganyulo (si lup. 84 but. 34-6)

Na. 2: 2 Ebyomumirembe 34:1-11

Na. 3: Baibuli ky’Eyogera ku Mmeeme (rs lup. 375 kat. 4–lup. 376 kat. 4)

Na. 4: Tokwatibwanga Nsonyi Kunywerera ku Mitindo gya Mpisa Egiri mu Baibuli

Jan. 16 Okusoma Baibuli: Ezera 1-5 Oluyimba 19

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Engeri y’Okusomamu Obulungi (be-LU lup. 84 kat. 2–lup. 85 kat. 3)

Na. 1: Okwanjula Ekitabo kya Ezera (si lup. 85 but. 1-7)

Na. 2: Ezera 1:1-11

Na. 3: Emiganyulo Egiva mu Kuba n’Omuntu ow’Omunda Omulungi

Na. 4: Ensolo Nazo Mmeeme (rs lup. 376 kat. 5–lup. 377 kat. 3)

Jan. 23 Okusoma Baibuli: Ezera 6-10 Oluyimba 45

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okwogera Ebigambo mu Ngeri Etegeerekeka (be-LU lup. 86 but. 1-6)

Na. 1: Ezera​—Ensonga Lwaki kya Muganyulo? (si lup. 87 but. 14-18)

Na. 2: Ezera 6:1-12

Na. 3: Omuntu bw’Afa, Emmeeme oba Omwoyo Tebisigala nga Biramu (rs lup. 377 kat. 4–lup. 379 kat. 6)

Na. 4: aEndowooza ya Katonda ku Bufumbo

Jan. 30 Okusoma Baibuli: Nekkemiya 1-4 Oluyimba 1

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okwogera mu Ngeri Etegeerekeka (be-LU lup. 87 kat. 1–lup. 88 kat. 3)

Na. 1: Okwanjula Ekitabo kya Nekkemiya (si lup. 88 but. 1-5)

Na. 2: Nekkemiya 2:1-10

Na. 3: Obukuumi Obwa Nnamaddala

Na. 4: Omwoyo Omutukuvu Kye Ki? (rs lup. 380 kat. 2–lup. 381 kat. 1)

Feb. 6 Okusoma Baibuli: Nekkemiya 5-8 Oluyimba 21

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okwatula Obulungi Ebigambo​—Ensonga ez’Okwetegereza (be-LU lup. 89 kat. 1–lup. 90 kat. 2)

Na. 1: Soma Baibuli Buli Lunaku (be-LU lup. 10 kat. 1–lup. 12 kat. 3)

Na. 2: Nekkemiya 5:1-13

Na. 3: Obukakafu Obulaga nti Omuntu Alina Omwoyo Omutukuvu (rs lup. 381 kat. 3–lup. 382 kat. 1)

Na. 4: ‘Kuuma Omutima Gwo’ (Nge. 4:23)

Feb. 13 Okusoma Baibuli: Nekkemiya 9-11 Oluyimba 15

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Engeri y’Okulongoosaamu Enjatula y’Ebigambo (be-LU lup. 90 kat. 3–lup. 92)

Na. 1: Okunoonya Emirembe mu Kifo ky’Okuwakula Entalo (w04 1/1 lup. 6 kat. 8–lup. 7 kat. 5)

Na. 2: Nekkemiya 10:28-37

Na. 3: Obukakafu Obulaga nti Yakuwa Atwagala

Na. 4: Omuntu Taliimu Mwoyo Oguwonawo ng’Afudde (rs lup. 382 kat. 5–lup. 383 kat. 2)

Feb. 20 Okusoma Baibuli: Nekkemiya 12-13 Oluyimba 17

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okusoma n’Okwogera nga Tosikattira (be-LU lup. 93 kat. 1–lup. 94 kat. 2)

Na. 1: Nekkemiya​—Ensonga Lwaki kya Muganyulo (si emp. 90-1 but. 16-19)

Na. 2: Nekkemiya 13:1-14

Na. 3: Lwaki Tekisoboka Kwogera na Bafu? (rs lup. 384 kat. 3–lup. 385 kat. 4)

Na. 4: bAbakristaayo Tebalina Kuzannya Mizannyo gya Vidiyo Egyoleka Ettemu

Feb. 27 Okusoma Baibuli: Eseza 1-5 Oluyimba 96

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okulongoosa mu Ngeri gy’Osomamu ne gy’Oyogeramu (be-LU lup. 94 kat. 3–lup. 96 kat. 2, nga totwaliddemu kasanduuko akali ku lup. 95)

Okwejjukanya

Mak. 6 Okusoma Baibuli: Eseza 6-10 Oluyimba 38

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okwaŋŋanga Ekizibu ky’Okunanaagira (be-LU lup. 95, akasanduuko)

Na. 1: Okwanjula Ekitabo kya Eseza n’Ensonga Lwaki kya Muganyulo (si emp. 91-4 but. 1-6, 16-18)

Na. 2: Eseza 6:1-10

Na. 3: Okuddamu n’Eggonjebwa Kusobola Okukkakkanya Obusungu

Na. 4: Lwaki Abakristaayo ab’Amazima Beewala Engeri Zonna ez’Obusamize? (rs lup. 385 kat. 5–lup. 387 kat. 3)

Mak. 13 Okusoma Baibuli: Yobu 1-5 Oluyimba 69

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okusiriikiriramu ng’Ogoberera Obubonero era ng’Ova ku Nsonga emu Okudda ku Ndala (be-LU lup. 97 kat. 1–lup. 98 kat. 5)

Na. 1: Okwanjula Ekitabo kya Yobu (si emp. 95-6 but. 1-6)

Na. 2: Yobu 2:1-13

Na. 3: Tonoonyereza Bikwata ku Maanyi ga Badayimooni (rs lup. 387 kat. 4–lup. 388 kat. 2)

Na. 4: Lwaki Abakristaayo ab’Amazima Beewala Okwemulugunya?

Mak. 20 Okusoma Baibuli: Yobu 6-10 Oluyimba 78

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okusiriikiriramu ng’Olina ky’Oggumiza, oba Okuwuliriza Abalala (be-LU lup. 99 kat. 1–lup. 100 kat. 3)

Na. 1: Emitindo egy’Eby’Omwoyo gya Muwendo Nnyo (w04 10/15 lup. 4 kat. 2–lup. 5 kat. 3)

Na. 2: Yobu 7:1-21

Na. 3: Kye Kitegeeza Okuba n’Omutima Omulongoofu

Na. 4: Engeri y’Okwekutula ku by’Obusamize (rs lup. 388 kat. 3–lup. 389 kat. 4)

Mak. 27 Okusoma Baibuli: Yobu 11-15 Oluyimba 4

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okuggumiza Ebigambo Ebiggyayo Amakulu (be-LU lup. 101 kat. 1–lup. 102 kat. 3)

Na. 1: “Ssaayo Omwoyo ku Ngeri gy’Owulirizaamu” (be-LU lup. 13 kat. 1–lup. 14 kat. 4)

Na. 2: Yobu 12:1-25

Na. 3: Weesambe Omwoyo Ogwa Kyetwala (rs lup. 390 but. 1-4)

Na. 4: Ensonga Lwaki Obuweereza Butuleetera Essanyu

Apu. 3 Okusoma Baibuli: Yobu 16-20 Oluyimba 24

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okulongoosa mu Ngeri gy’Oggumizaamu Ebigambo Ebiggyayo Amakulu (be-LU lup. 102 kat. 4–lup. 104 kat. 4)

Na. 1: Engeri gye Tulagamu nti Twagala Katonda (w04 3/1 emp. 19-21)

Na. 2: Yobu 16:1-22

Na. 3: Engeri Yakuwa gy’Ayambamu Abantu Okumusinza

Na. 4: cAkabi Akali mu Kuba n’Amalala n’Omwoyo ogw’Obujeemu (rs lup. 391 but. 1-2)

Apu. 10 Okusoma Baibuli: Yobu 21-27 Oluyimba 43

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okuggumiza Ensonga Enkulu (be-LU lup. 105 kat. 1–lup. 106 kat. 2)

Na. 1: Okugoberera Emitindo gy’Eby’Omwoyo kya Muganyulo (w04 10/15 lup. 5 kat. 4–lup. 7 kat. 2)

Na. 2: Yobu 24:1-20

Na. 3: Yakuwa Atuwa Amaanyi Agasinga ku ga Bulijjo

Na. 4: dWeewale Okutwalirizibwa Okwegomba okw’Omubiri (rs lup. 391 kat. 3)

Apu. 17 Okusoma Baibuli: Yobu 28-32 Oluyimba 63

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Eddoboozi Erisaanira Abakuwuliriza (be-LU lup. 107 kat. 1–lup. 108 kat. 4)

Na. 1: Okuwuliriza mu Nkuŋŋaana z’Ekibiina ne mu Nkuŋŋaana Ennene (be-LU lup. 14 kat. 5–lup. 16 kat. 5)

Na. 2: Yobu 29:1-25

Na. 3: Totwalirizibwa Kwegomba kw’Amaaso (rs lup. 392 but. 1-2)

Na. 4: Ensonga Lwaki Abantu Beewuunya Engeri Yesu gye Yayigirizaamu

Apu. 24 Okusoma Baibuli: Yobu 33-37 Oluyimba 75

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Engeri gy’Oyinza Okulongoosaamu mu Ddoboozi Lyo (be-LU lup. 108 kat. 5–lup. 110 kat. 2)

Okwejjukanya

May. 1 Okusoma Baibuli: Yobu 38-42 Oluyimba 56

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okukyusakyusa mu Ddoboozi​—Ng’Olyongeza oba ng’Olikendeeza (be-LU lup. 111 kat. 1–lup. 112 kat. 2)

Na. 1: Yobu​—Ensonga Lwaki kya Muganyulo (si lup. 100 but. 39-43)

Na. 2: Yobu 38:1-24

Na. 3: Isaaya 60:22 Lutuukirizibwa Lutya Leero?

Na. 4: eOkuvuma n’Ettemu Bikolwa bya Mubiri (rs lup. 392 kat. 3)

May. 8 Okusoma Baibuli: Zabbuli 1-10 Oluyimba 74

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okukyusakyusa mu Ddoboozi​—Ng’Okyusakyusa mu Sipiidi (be-LU lup. 112 but. 3-6)

Na. 1: Okwanjula Ekitabo kya Zabbuli​—Ekitundu 1 (si lup. 101 but. 1-5)

Na. 2: Zabbuli 4:1–5:12

Na. 3: Weesige Katonda so Si Bantu (rs lup. 392 kat. 4–lup. 393 kat. 1)

Na. 4: Okunywerera ku Njigiriza ey’Obulamu

May. 15 Okusoma Baibuli: Zabbuli 11-18 Oluyimba 97

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okukyusakyusa mu Ddoboozi​—Ng’Okyusakyusa mu Mpulikika Yaalyo (be-LU lup. 113 kat. 1–lup. 114 kat. 1)

Na. 1: Okwanjula Ekitabo kya Zabbuli​—Ekitundu 2 (si lup. 102 but. 6-11)

Na. 2: Zabbuli 14:1–16:6

Na. 3: Mu Ngeri ki Abakristaayo ab’Amazima gye Batali ba Nsi?

Na. 4: Ani Avunaanyizibwa olw’Okubonaabona kw’Abantu? (rs lup. 393 kat. 2–lup. 394 kat. 1)

May. 22 Okusoma Baibuli: Zabbuli 19-25 Oluyimba 34

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okwoleka Enneewulira ng’Oyogera (be-LU lup. 115 kat. 1–lup. 116 kat. 4)

Na. 1: Okutegeera Okulungi Kuvaamu Okusiimibwa (w04 7/15 lup. 27 kat. 4–lup. 28 kat. 4)

Na. 2: Zabbuli 22:1-22

Na. 3: Okubonaabona Kwatandika Kutya? (rs lup. 394 ¶2-3)

Na. 4: fOkujjukizibwa Okuva eri Katonda kwe Kuluwa, era Lwaki Tulina Okukugoberera?

May. 29 Okusoma Baibuli: Zabbuli 26-33 Oluyimba 53

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Ebbugumu Erituukana ne ky’Oyogerako (be-LU lup. 116 kat. 5–lup. 117 kat. 4)

Na. 1: Osobola Okwongera ku Busobozi Bwo obw’Okujjukira (be-LU lup. 17 kat. 1–lup. 19 kat. 1)

Na. 2: Zabbuli 30:1–31:8

Na. 3: Mu Ngeri ki Amazima gye Gatufuulamu ab’Eddembe?

Na. 4: Engeri gye Tuyinza Okwewalamu Ebizibu Ebimu (rs lup. 395 but. 1-2)

Jun. 5 Okusoma Baibuli: Zabbuli 34-37 Oluyimba 58

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okwoleka Omukwano (be-LU lup. 118 kat. 1–lup. 119 kat. 5)

Na. 1: Amaanyi g’Okusaba (w04-LU 9/1 lup. 14 kat. 6–lup. 15 kat. 10)

Na. 2: Zabbuli 34:1-22

Na. 3: Ensonga Lwaki Katonda ow’Okwagala Aleseewo Okubonaabona Okumala Ekiseera Ekiwanvu (rs lup. 395 kat. 4)

Na 4: Ngeri ki ez’Okusinza Ebifaananyi ze Tulina Okwesamba?

Jun. 12 Okusoma Baibuli: Zabbuli 38-44 Oluyimba 10

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okwoleka Enneewulira (be-LU lup. 119 kat. 6–lup. 120 kat. 4)

Na. 1: Engeri Omwoyo Omutukuvu gye Gutuyambamu Okujjukira (be-LU lup. 19 kat. 2–lup. 20 kat. 3)

Na. 2: Zabbuli 40:1-17

Na. 3: Sayansi Omutuufu Takontana na Baibuli

Na. 4: Katonda Ajja Kujjulula Ebikyamu Byonna Ebituuse ku Baweereza Be (rs lup. 396 but. 1-4)

Jun. 19 Okusoma Baibuli: Zabbuli 45-51 Oluyimba 81

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Obukulu bw’Okukozesa Ebitundu by’Omubiri n’Endabika ey’Oku Maaso (be-LU lup. 121 but. 1-4)

Na. 1: Ddi Yesu lw’Ajja? (w04-LU 3/1 lup. 29, akasanduuko)

Na. 2: Zabbuli 46:1–47:9

Na. 3: Lwaki Katonda Teyabuusa Maaso Ekibi Adamu kye Yakola? (rs lup. 396 kat. 5–lup. 397 kat. 1)

Na. 4: Omukristaayo Ayinza Atya Okuba Omunafu ate era nga wa Maanyi? (2 Kol. 12:10)

Jun. 26 Okusoma Baibuli: Zabbuli 52-59 Oluyimba 76

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okukozesa Ebitundu by’Omubiri n’Endabika ey’Oku Maaso (be-LU lup. 122 kat. 1–lup. 123 kat. 4)

Okwejjukanya

Jul. 3 Okusoma Baibuli: Zabbuli 60-68 Oluyimba 20

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okutunuulira Abakuwuliriza ng’Obuulira (be-LU lup. 124 kat. 1–lup. 125 kat. 4)

Na. 1: Obwetoowaze bwa Yakuwa Butukwatako Butya? (w04 11/1 emp. 29-30)

Na. 2: Zabbuli 60:1–61:8

Na. 3: Bwe Twenyigira mu Bintu eby’Eby’Omwoyo Kituwa Ebbeetu Okumenya Amateeka ga Katonda?

Na. 4: Katonda si y’Aleetera Abantu Okuzaalibwa nga Balina Ekikyamu ku Mibiri Gyabwe oba ku Bwongo (rs lup. 397 but. 2-4)

Jul. 10 Okusoma Baibuli: Zabbuli 69-73 Oluyimba 41

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okutunuulira Abakuwuliriza ng’Owa Emboozi (be-LU lup. 125 kat. 5–lup. 127 kat. 1)

Na. 1: Lwaki Olina Okunyiikirira Okusoma? (be-LU lup. 21 kat. 1–lup. 23 kat. 3)

Na. 2: Zabbuli 71:1-18

Na. 3: Yakuwa Asobozesa n’Abaana Abato Okuganyulwa mu Kinunulo kya Kristo (rs lup. 397 kat. 5)

Na. 4: gLwaki Abakristaayo Tebalina Kusosola?

Jul. 17 Okusoma Baibuli: Zabbuli 74-78 Oluyimba 62

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okwogera mu Ngeri eya Bulijjo ng’Oli mu Buweereza bw’Ennimiro (be-LU lup. 128 kat. 1–lup. 129 kat. 1)

Na. 1: Soma ng’Olina Ekiruubirirwa Ekirungi (be-LU lup. 23 kat. 4–lup. 26 kat. 5)

Na. 2: Zabbuli 75:1–76:12

Na. 3: Okunoonya Yakuwa Kizingiramu Ki? (Zef. 2:3)

Na. 4: Katonda Takozesa Butyabaga bwa mu Butonde Okubonereza Abantu (rs lup. 398 but. 1-3)

Jul. 24 Okusoma Baibuli: Zabbuli 79-86 Oluyimba 47

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okwogera mu Ngeri eya Bulijjo ng’Oli ku Pulatifomu (be-LU lup. 129 kat. 2–lup. 130 kat. 1)

Na. 1: “Eweema ey’Abagolokofu Eneebanga n’Omukisa” (w04 11/15 lup. 26 kat. 1–lup. 28 kat. 2)

Na. 2: Zabbuli 82:1–83:18

Na. 3: Okubonaabona Tekulina Kutwalibwa ng’Ekibonerezo Ekiva eri Katonda (rs lup. 398 kat. 4–lup. 399 kat. 1)

Na. 4: Ddala Abantu Abatatuukiridde Bayinza Okusanyusa Katonda?

Jul. 31 Okusoma Baibuli: Zabbuli 87-91 Oluyimba 27

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okwogera mu Ngeri eya Bulijjo ng’Osomera Abalala (be-LU lup. 130 but. 2-4)

Na. 1: ‘Bwe Twanguwa Okufuna Okumanya,’ Amagezi Gatuwa Obulagirizi (w04 11/15 lup. 28 kat. 3–lup. 29 kat. 7)

Na. 2: Zabbuli 89:1-21

Na. 3: Okwesomesa Baibuli, Kitundu kya Kusinza Kwaffe

Na. 4: Obugagga si Bukakafu Obulaga nti Omuntu Alina Emikisa gya Katonda (rs lup. 399 but. 2-3)

Agu. 7 Okusoma Baibuli: Zabbuli 92-101 Oluyimba 84

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Obuyonjo Buleetera Abalala Okuwuliriza Obubaka Bwaffe (be-LU lup. 131 but. 1-3)

Na. 1: Engeri y’Okweyigirizaamu (be-LU lup. 27 kat. 1–lup. 31 kat. 2)

Na. 2: Zabbuli 92:1–93:5

Na. 3: Omuntu Okwogera Ennimi Bukakafu Obulaga nti Alina Omwoyo gwa Katonda? (rs lup. 400 kat. 3–lup. 401 kat. 2)

Na. 4: Obukulu bw’Okubeera ab’Empisa Ennungi

Agu. 14 Okusoma Baibuli: Zabbuli 102-105 Oluyimba 35

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Engeri Obwegendereza n’Endowooza Ennuŋŋamu gye Bikwata ku Nnyambala y’Omuntu n’Okwekolako (be-LU lup. 131 kat. 4–lup. 132 kat. 3)

Na. 1: “Ai Mukama, Emirimu Gyo nga gya Ngeri Nnyingi!” (w04 11/15 emp. 8-9)

Na. 2: Zabbuli 104:1-24

Na. 3: Lwaki Tuteekwa Okuba Obulindaala?

Na. 4: Lwaki Okwogera mu Nnimi Okuliwo mu Nnaku Zino Kwa Njawulo ku kw’Abakristaayo ab’Omu Kyasa Ekyasooka? (rs lup. 401 kat. 3–lup. 402 kat. 1)

Agu. 21 Okusoma Baibuli: Zabbuli 106-109 Oluyimba 89

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Obukulu bw’Okwambala mu Ngeri Esaana (be-LU lup. 132 kat. 4–lup. 133 kat. 1)

Na. 1: Abavubuka​—Temumala Gakoppa Ebyo Bavubuka Bannammwe bye Bakola (w04 10/15 lup. 22 kat. 4–lup. 24 kat. 4)

Na. 2: Zabbuli 107:20-43

Na. 3: Ekigambo kya Katonda Kituyamba Okunnyonnyola Abo Abeetwala nti Balina Omwoyo gwa Katonda (rs lup. 402 but. 3-6)

Na. 4: Tuyinza Tutya Okukoppa Katonda?

Agu. 28 Okusoma Baibuli: Zabbuli 110-118 Oluyimba 87

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Endabika Ennungi Teyeesittaza Balala (be-LU lup. 133 but. 2-4)

Okwejjukanya

Seb. 4 Okusoma Baibuli: Zabbuli 119 Oluyimba 14

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okuyimirira Obulungi n’Eby’Okukozesa Ebiyonjo (be-LU lup. 133 kat. 5–lup. 134 kat. 4)

Na. 1: Okweyigiriza Kuganyula (be-LU lup. 31 kat. 3–lup. 32 kat. 4)

Na. 2: Zabbuli 119:25-48

Na. 3: Lwaki Tulina Okussa Ekitiibwa mu b’Obuyinza Abali mu Nsi

Na. 4: Okwogera mu Nnimi si kye Kyawulawo Abakristaayo ab’Amazima Leero (rs lup. 403 but. 1-3)

Seb. 11 Okusoma Baibuli: Zabbuli 120-134 Oluyimba 83

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Engeri y’Obuteeraliikirira Nnyo ng’Ogenda Okwogera (be-LU lup. 135 kat. 1–lup. 137 kat. 1)

Na. 1: Engeri y’Okunoonyerezaamu (be-LU lup. 33 kat. 1–lup. 36 kat. 1)

Na. 2: Zabbuli 121:1–123:4

Na. 3: Ekirabo eky’Okwogera Ennimi Kyali kya Kumala Bbanga Ki? (rs lup. 403 kat. 4–lup. 404 kat. 1)

Na. 4: Okusavuwaza Okuggumiza Ensonga kwe Kuluwa, era Yesu Yakukozesa Atya?

Seb. 18 Okusoma Baibuli: Zabbuli 135-141 Oluyimba 23

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okusobola Okwogera nga Totya (be-LU lup. 137 kat. 2–lup. 138 kat. 3)

Na. 1: Zabbuli​—Ensonga Lwaki kya Muganyulo​—Ekitundu 1 (si emp. 104-5 but. 23-7)

Na. 2: Zabbuli 136:1-26

Na. 3: Mu Ngeri ki Ekijjukizo gye Kiri Ekijjulo Ekyoleka Okussa Ekimu?

Na. 4: hEnjigiriza ya Tiriniti Teyeesigamiziddwa ku Baibuli (rs lup. 405 kat. 1–lup. 411 kat. 4)

Seb. 25 Okusoma Baibuli: Zabbuli 142-150 Oluyimba 63

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Obukulu bw’Okukozesa Ebyuma Ebitumbula Amaloboozi (be-LU lup. 139 kat. 1–lup. 140 kat. 1)

Na. 1: Zabbuli​—Ensonga Lwaki kya Muganyulo​—Ekitundu 2 (si emp. 105-6 but. 28-32)

Na 2: Zabbuli 142:1–143:12

Na. 3: iSinga Omuntu Akubuuza nti, ‘Okkiririza mu Tiriniti?’ (rs lup. 425 kat. 3–lup. 426 kat. 4)

Na. 4: Tuyinza Tutya Okukulembeza Ebyetaago by’Abalala?

Okit. 2 Okusoma Baibuli: Engero 1-6 Oluyimba 54

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okukozesa Obulungi Akazindaalo (be lup. 140 kat. 2–lup. 142 kat. 1)

Na. 1: Okwanjula Ekitabo ky’Engero​—Ekitundu 1 (si emp. 106-7 but. 1-5)

Na. 2: Engero 5:1-23

Na. 3: Lwaki Waliwo Obubi Bungi Nnyo? (rs lup. 427 but. 1-4)

Na. 4: jTolaalaasa Bigambo Bitali Bituufu (2 Tim. 4:4)

Okit. 9 Okusoma Baibuli: Engero 7-11 Oluyimba 98

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okukozesa Baibuli ng’Oddamu Ebibuuzo (be lup. 143 but. 1-3)

Na. 1: Okwanjula Ekitabo ky’Engero​—Ekitundu 2 (si emp. 107-8 but. 6-11)

Na. 2: Engero 7:1-27

Na. 3: Obutabaako Ludda lwe Tuwagira mu by’Obufuzi Kituyamba Okubeera Obumu

Na. 4: Lwaki Katonda Akyaleseewo Obubi? (rs lup. 428 kat. 1–lup. 429 kat. 1)

Okit. 16 Okusoma Baibuli: Engero 12-16 Oluyimba 80

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okweyongera Okufuna Obumanyirivu mu Kukozesa Baibuli (be lup. 144 but. 1-4)

Na. 1: Okuyiga Okukozesa Ebintu Ebirala Ebyeyambisibwa mu Kunoonyereza (be-LU lup. 35 kat. 3–lup. 38 kat. 5)

Na. 2: Engero 14:1-21

Na. 3: Okuba nti Katonda Akyaleseewo Obubi Kituganyudde Kitya? (rs lup. 429 but. 2-3)

Na. 4: Kiki Ekiyinza Okutuyamba Okussaayo Omwoyo mu Nkuŋŋaana?

Okit. 23 Okusoma Baibuli: Engero 17-21 Oluyimba 85

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okukubiriza Abalala Okukozesa Baibuli (be-LU emp. 145-6)

Na. 1: Engero​—Ensonga Lwaki kya Muganyulo​—Ekitundu 1 (si emp. 109-10 but. 19-28)

Na. 2: Engero 17:1-20

Na. 3: Engeri Abakristaayo gye Batwalamu Bannamukadde

Na. 4: kBaibuli Etukubiriza Kuba na Ndowooza ki ku Bakazi? (rs lup. 431 but. 2-3)

Okit. 30 Okusoma Baibuli: Engero 22-26 Oluyimba 60

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Obukulu bw’Okwanjula Obulungi Ebyawandiikibwa (be-LU lup. 147 kat. 1–lup. 148 kat. 2)

Okwejjukanya

Nov. 6 Okusoma Baibuli: Engero 27-31 Oluyimba 4

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okukozesa Ebigambo Ebituukirawo ng’Oyanjula Ekyawandiikibwa (be-LU lup. 148 kat. 3–lup. 149 kat. 3)

Na. 1: Engero​—Ensonga Lwaki kya Muganyulo​—Ekitundu 2 (si emp. 110-11 but. 29-38)

Na. 2: Engero 28:1-18

Na. 3: Eky’Okuba nti Abasajja be Batwala Obukulembeze Kifeebya Abakazi? (rs lup. 432 but. 1-3)

Na. 4: Lwaki Tetusaanidde Kusinziira ku Ndabika ya Muntu nga Tusalawo Ani gwe Tusaanidde Okubuulira

Nov. 13 Okusoma Baibuli: Omubuulizi 1-6 Oluyimba 12

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okuggumiza Obulungi Kizingiramu Okwoleka Enneewulira (be-LU lup. 150 but. 1-2)

Na. 1: Okwanjula Ekitabo ky’Omubuulizi (si emp. 112-13 but. 1-8)

Na 2: Omubuulizi 5:1-15

Na. 3: Mu Ngeri ki Amazima ga Baibuli gye Gakisiddwa Abagezigezi? (Mat. 11:25)

Na. 4: Abakazi Bandibadde Baweereza? (rs lup. 432 kat. 4–lup. 433 kat. 1)

Nov. 20 Okusoma Baibuli: Omubuulizi 7-12 Oluyimba 16

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okuggumiza Ebigambo Ebituufu (be-LU lup. 150 kat. 3–lup. 151 kat. 2)

Na. 1: Omubuulizi​—Ensonga Lwaki kya Muganyulo (si lup. 114 but. 15-19)

Na. 2: Omubuulizi 9:1-12

Na. 3: Lwaki Ebiseera Ebimu Kyetaagisa Abakazi Abakristaayo Okubikka ku Mitwe Gyabwe? (rs lup. 433 kat. 2–lup. 434 kat. 1)

Na. 4: Lwaki Kikyamu Okubeera n’Obuggya?

Nov. 27 Okusoma Baibuli:Oluyimba 1-8 Oluyimba 14

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Engeri ez’Enjawulo ez’Okuggumizaamu (be-LU lup. 151 kat. 3–lup. 152 kat. 5)

Na. 1: Okwanjula Ekitabo ky’Oluyimba n’Ensonga Lwaki kya Muganyulo (si emp. 115-17 but. 1-4, 16-18)

Na. 2: Oluyimba 7:1–8:4

Na. 3: Lwaki Abakristaayo Balina Okwambala Engoye Ennyonjo era Ezisaana?

Na. 4: Kisaana Abakazi Okwekolako oba Okwambala Amajjolobero? (rs lup. 435 but. 1-3)

Des. 4 Okusoma Baibuli: Isaaya 1-5 Oluyimba 71

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okunnyonnyola Obulungi Ebyawandiikibwa (be-LU lup. 153 kat. 1–lup. 154 kat. 3)

Na. 1: Okwanjula Ekitabo kya Isaaya (si emp. 118-19 but. 1-8)

Na. 2: Isaaya 3:1-15

Na. 3: Ensi Eneezikirizibwa n’Omuliro? (rs lup. 436 but. 1-2)

Na. 4: lEnsonga Lwaki Abakristaayo Balina ‘Okwewala Okusunguwala Amangu’ (Yak. 1:19)

Des. 11 Okusoma Baibuli: Isaaya 6-10 Oluyimba 90

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okunnyonnyola Ebyawandiikibwa mu Ngeri Etegeerekeka Obulungi (be-LU lup. 154 kat. 4– lup. 155 kat. 4)

Na. 1: Okukola Ekiwandiiko Okuli Ensonga Emboozi kw’Ezimbirwa (be-LU emp. 39-42)

Na. 2: Isaaya 10:1-14

Na. 3: Lwaki Kikulu Okusonyiwa?

Na. 4: Ani Afuga Ensi Eno​—Katonda oba Setaani? (rs lup. 436 kat. 3– lup. 437 kat. 2)

Des. 18 Okusoma Baibuli: Isaaya 11-16 Oluyimba 22

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okukubaganya Ebirowoozo n’Abalala nga Weeyambisa Ebyawandiikibwa (be-LU lup. 155 kat. 5– lup. 156 kat. 5)

Na. 1: Abavubuka​—Muleke Bazadde Bammwe Babayambe Okukuuma Emitima Gyammwe (w04 10/15 lup. 20 kat. 1–lup. 22 kat. 3)

Na. 2: Isaaya 11:1-12

Na. 3: Abakristaayo ab’Amazima Batunuulira Batya Ensi n’Abantu b’Ensi? (rs lup. 437 kat. 3– lup. 438 kat. 4)

Na. 4: Abakristaayo ab’Amazima Tebajja Kwenyigira mu Lutalo lwa Kalumagedoni

Des. 25 Okusoma Baibuli: Isaaya 17-23 Oluyimba 25

Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okulaga Omuganyulo gw’Ebyo by’Oyogerako (be-LU lup. 157 kat. 1–lup. 158 kat. 1)

Okwejjukanya

[Footnotes]

a Giwe baluganda bokka.

b Giwe baluganda bokka.

c Giwe baluganda bokka.

d Giwe baluganda bokka.

e Giwe baluganda bokka.

f Giwe baluganda bokka.

g Giwe baluganda bokka.

h Giwe baluganda bokka.

i Giwe baluganda bokka.

j Giwe baluganda bokka.

k Giwe baluganda bokka.

l Giwe baluganda bokka.

Mu ebyo ebikuweereddwa, londamu ensonga enkulu ezituukagana obulungi n’ebyetaago by’ekitundu kye mubuuliramu.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza