Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Agusito 14
Oluyimba 114
Ddak. 12: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Yogera ku lipoota y’obuweereza bw’ennimiro ey’eggwanga n’ey’ekibiina kyammwe eya Apuli. Wiikendi bbiri zokka ze zisigadde mu Agusito, n’olwekyo kubiriza buli omu okwenyigira mu buweereza ng’omwezi tegunnaggwaako. Yogera ku nteekateeka y’enkuŋŋaana z’obuweereza bw’ennimiro eza wiikendi.
Ddak. 15: “Lwananga Okulwana Okulungi okw’Okukkiriza.” By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, era oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo n’okuddamu. Era yogera ne ku biri mu katabo Our Ministry, olupapula 44-5, ebikwata ku ngeri abakubiriza Okusoma Ekitabo kw’Ekibiina bwe bateekateeka obuweereza bw’ennimiro mu bibinja byabwe era ne bafaayo ku abo abeetaaga okuyambibwa okusobola okubwenyigiramu era n’okuwaayo lipoota zaabwe obutayosa.
Ddak. 18: Engeri Gy’Oyinza Okuganyulwa mu Kusoma. Taata ayogera n’abaana be ng’abayamba okusiima lwaki okufuna obuyigirize kya muganyulo. (Laba akatabo Young People Ask, empapula 133-9.) Abavubuka bangi bawulira nti okusoma kusoomooza kwennyini mu nsi eno ey’obujeemu. Era bawulira nti kikooyesa, era ne basalawo nti bye bayiga tebijja kubayamba nnyo. Taata abalaga emisingi gy’omu Byawandiikibwa era n’ensonga enkulu eziraga lwaki kya magezi okufuna obuyigirize obumala. Akubiriza abaana be okuyiga obulungi era n’okussaayo omwoyo mu kibiina.
Oluyimba 127 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Agusito 21
Oluyimba 143
Ddak. 12: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’Eby’Embalirira. Lagayo ekyokulabirako ekitegekeddwa obulungi eky’omu buweereza bw’ennimiro ekiraga engeri y’okuddamu ekibuuzo: “Lwaki Katonda ow’okwagala yandikkirizza okubonaabona okweyongera okumala ebbanga ddene bwe lityo?” (Akatabo Reasoning, olupapula 395-6) Kubiriza buli omu okwenyigira mu buweereza wiikendi eno.
Ddak. 8: “Programu Empya ey’Olukuŋŋaana olw’Enjawulo olw’Olunaku Olumu.” Kwogera. Langa ennaku z’omwezi olukuŋŋaana olw’enjawulo oluddako we lunaabeererawo, bwe luba nga lumanyiddwa, era bonna bakubirize okubeerawo ku lukuŋŋaana lwonna. Kubiriza ababuulizi okuyita abappya era n’abayizi ba Baibuli okubeerawo.
Ddak. 25: “Oganyulwa?” Okubuuza ebibuuzo n’okuddamu.
Oluyimba 152 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Agusito 28
Oluyimba 165
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Bonna bajjukize okuwaayo lipoota zaabwe ez’ennimiro ez’omwezi gwa Agusito. Abakubiriza Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina bandikakasizza nti ab’omu kibinja kyabwe bawaddeyo lipoota, lipoota zonna zisobole okukolebwako nga Ssebutemba 6 terunnatuuka.
Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase.
Ddak. 20: “Enkuŋŋaana Ziganyula Abavubuka.” Okubuuza ebibuuzo n’okuddamu okukubirizibwa omukadde. Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 8, yogera ku bintu ebimu ebiyamba okussaayo omwoyo n’okuwuliriza obulungi mu nkuŋŋaana. (Laba Awake! aka Ssebutemba 22, empapula 19-20.) Kubiriza abazadde okubeera abamalirivu okuleeta abaana baabwe mu nkuŋŋaana zonna obutayosa.—Laba ekyokulabirako ekiri mu Watchtower aka Ssebutemba 1, 1997, olupapula 25.
Oluyimba 176 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Ssebutemba 4
Oluyimba 196
Ddak. 15: Ebirango by’ekibiina. Akasanduuko k’Ebibuuzo. Saba ababuulizi boogere ku byokulabirako bye baafuna bwe baali babuulira embagirawo nga bagenda, nga bakomawo, oba nga bali ku lukuŋŋaana olunene olwa district.
Ddak. 10: Ekiseera Kyaffe Kya Njawulo. Okwogera kw’omukadde, okwesigamiziddwa ku Watchtower aka Noovemba 15, 1996, empapula 22-3.
Ddak. 20: “Ogumiikiriza?” Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Kubiriza bonna okulowooza ku ngeri gye basobodde okulagamu obugumiikiriza mu buweereza bw’Ekikristaayo. Singa obunafu bweyoleka, wabaawo obwetaavu okwenyweza mu by’omwoyo. Yogera ku biri mu Watchtower aka Okitobba 1, 1999, empapula 20-1, obutundu 17-21. Saba ababuulizi babiri oba basatu abagumiikirizza n’obwesigwa okumala emyaka mingi boogere ku kye bakola ekibayamba okugumiikiriza.
Oluyimba 206 n’okusaba okufundikira.