Ogumiikiriza?
1 “Ssirina ssanyu lingi erisinga lino, okuwulira abaana bange nga batambulira mu mazima.” (3 Yok. 4) Okugumiikiriza okw’abaana ba Yokaana ab’eby’omwoyo kwamuleetera essanyu lingi. Nga kiteekwa okuba nga kisanyusa nnyo Kitaffe ow’omu ggulu okulaba obukadde n’obukadde bw’abo ab’okubeera abaana be nga “batambulira mu mazima”!—Nge. 23:15, 16; 27:11.
2 Yadde ng’abantu ba Katonda okutwalira awamu beeyongedde okunyiikirira omulimu gw’Ekikristaayo, abamu bagenze baggwaamu amaanyi mpolampola. Wadde nga bano bayinza okuba baali ba maanyi nga baakayiga amazima, emyaka bwe gizze giyitawo, batandise okwenyigira ekitono ennyo oba lumu na lumu mu mulimu gw’okufuula abayigirizwa.
3 Kyo kitegeerekeka nti abamu bayinza okuddiriramu olw’okuba tebakyesobola mu mubiri oba olw’obukadde. Kyokka, balina okusiimibwa olw’obugumiikiriza bwabwe. Bakola kye basobola. Naye buli omu eyawaayo obulamu bwe eri Katonda asaanidde okwebuuza: ‘Nsinze kwemalira ku byange ne kiba nti eby’Obwakabaka birina ekifo kitono nnyo mu bulamu bwange? Nfuuse wa ‘kibuguumirize,’ oba ‘nkyafuba nnyo?’ (Kub. 3:15, 16; Luk. 13:24) Awamu n’okusaba, ka ffenna tulowooze ku kye tukola era tukole enkyukakyuka ezeetaagisa, nga tujjukira nti Yakuwa asuubiza okuwa ‘ekitiibwa n’ettendo n’emirembe buli muntu akola obulungi.’—Bar. 2:10.
4 Engeri y’Okugumiikirizaamu: Kiki ekyayamba Yesu okugumiikiriza? Pawulo yannyonnyola: “Olw’essanyu eryateekebwa mu maaso ge yagumiikiriza omuti ogw’okubonyaabonya, ng’anyooma ensonyi, n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogw’entebe ya Katonda.” (Beb. 12:1-3, NW) Essanyu eryateekebwa mu maaso ga Yesu lyali lisingira wala nnyo okubonaboona okw’ekiseera kwe yalina okwolekagana nakwo. Naffe bwe tulowooza ku ssanyu eriteekeddwa mu maaso gaffe kisobola okutuyamba okugumiikiriza. (Kub. 21:4, 7; 22:12) Singa twesiga Yakuwa okutuwa amaanyi okuyitira mu kwesomesa fekka, okubeerawo mu nkuŋŋaana obutayosa, n’okunyiikirira okusaba, tujja kusobola okugumiikiriza mu mulimu gw’atuwadde okukola.
5 Yakuwa asanyukira okugumiikiriza kw’abo abamunywereddeko. N’olwekyo, ka tumwongere essanyu nga tweyongera “okutambulira mu mazima.”