LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 8/00 lup. 2
  • Akasanduuko K’ebibuuzo

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Akasanduuko K’ebibuuzo
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Laba Ebirala
  • Olina Ekitundu ky’Obuuliramu Ekikyo ku Bubwo?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Emiganyulo Egiri mu Kuba n’Ekitundu Ekikyo ku Bubwo eky’Okubuuliramu
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Engeri y’Okubuulira mu Kitundu Ekikolerwamu Bizineesi
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
  • Ekibiina Kyammwe Kirina Ekitundu Kinene Nnyo eky’Okubuuliramu?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
km 8/00 lup. 2

Akasanduuko K’ebibuuzo

◼ Ekibiina kisaanidde okutimba mu Kingdom Hall mmaapu eraga ebitundu byonna ebibuulirwamu?

Yee, mmaapu eraga ebitundu byonna ebibuulirwamu yanditeekeddwa mu freemu n’ewanikibwa ku kisenge mu Kingdom Hall. Mmaapu eyo tesaanidde kuteekebwa we mutimba ebirango. Erina okulaga ensalo z’ekitundu kyonna ekiweereddwa ekibiina kyammwe okubuuliramu era n’ensalo z’obutundutundu obusaliddwamu awamu n’ennamba ya buli kamu. Ensalo z’ebitundu ebibuulirwamu ebibiina ebikozesa Kingdom Hall emu zisaanidde okulagibwa. Kino kijja kusobozesa ababuulizi n’abappya okumanya ekibiina ekitwala ekitundu kye babeeramu. Okulaga ku mmaapu ebifo awabeera Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina nakyo kijja kuyamba bonna okumanya ekibinja gye balina okusomera ekitabo. Mmaapu eno esaanidde okuzzibwa obuggya buli kiseera.

Okutimba mmaapu bw’etyo kiyamba okujjukiza ababuulizi bonna nti, singa kisoboka, kyandibadde kirungi buli omu okubeera n’ekitundu ekikye ku bubwe ky’abuuliramu. Mmaapu eyamba abo abaagala okulonda ekitundu eky’okubuuliramu ekiri okumpi ne we babeera. Oluusi eyinza okuyamba okukendeeza ku biseera ebimalibwa mu nkuŋŋaana z’ennimiro, ne kisobozesa akubirizza olukuŋŋaana okulagirira amangu ababuulizi ekifo eky’okubuuliramu.

Mmaapu eno era ewa obukakafu obulaga nti ekibiina kitegekeddwa bulungi okubuulira obubaka bw’Obwakabaka wonna wonna mu kitundu kye kiweereddwa.​—Luk. 9:6.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza