Buno Bwe Busika Bwaffe obw’Eby’Omwoyo
‘Buno bwe busika obw’abaddu ba Yakuwa.’—IS. 54:17.
1. Kintu ki eky’omuwendo Yakuwa ky’awadde abantu?
YAKUWA, “Katonda omulamu era abeerawo emirembe gyonna,” atubuulidde ebintu bye tulina okukola okusobola okubeerawo emirembe gyonna. Ebintu ebyo tebikyukanga. Bayibuli egamba nti: “Ekigambo kya Yakuwa kibeerawo emirembe n’emirembe.” (1 Peet. 1:23-25) Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti Yakuwa atuwadde Ekigambo kye, Bayibuli, omuli obubaka obukulu ennyo!
2. Kiki Katonda ky’ayagala ffenna tumanye?
2 Katonda ayagala ffenna tumanye erinnya lye. Ebyawandiikibwa bisooka okwogera ku linnya lya Katonda, “Yakuwa,” nga byogera ku ngeri “eggulu n’ensi” gye byatondebwamu. (Lub. 2:4, NW) Mu Mateeka Ekkumi Katonda ge yawandiika ku mayinja mu ngeri ey’ekyamagero, erinnya lye lyalimu emirundi egiwerako. Ng’ekyokulabirako, etteeka erisooka litandika n’ebigambo bino: “Nze Mukama [“Yakuwa,” NW] Katonda wo.” (Kuv. 20:1-17) Sitaani akoze kyonna ekisoboka okusaanyaawo Bayibuli alemese abantu okumanya erinnya lya Katonda, naye Yakuwa Mukama Afuga Byonna ekyo takikkirizza kubaawo.—Zab. 73:28.
3. Wadde ng’amadiini ag’obulimba gayigirizza abantu ebintu ebikyamu, kiki Katonda ky’atuyambye okutegeera?
3 Amadiini ag’obulimba gayigirizza abantu ebintu ebikyamu bingi. Naye Yakuwa ayagala abantu bonna bategeere amazima. Tuli basanyufu nnyo okuba nti okuyitira mu Kigambo kye, Katonda atuyambye okutegeera amazima! (Soma Zabbuli 43:3, 4.) Wadde ng’abantu abasinga obungi bali mu kizikiza eky’eby’omwoyo, ffe tutambulira mu kitangaala.—1 Yok. 1:6, 7.
TULINA OBUSIKA OBW’OMUWENDO
4, 5. Nkizo ki ey’ekitalo gye tubadde nayo okuva mu 1931?
4 Abakristaayo ffenna tulina obusika obw’omuwendo ennyo. Obusika bye bintu ebigenda biranda okuva ku mulembe ogumu okudda ku mulala. Obusika bwaffe obw’eby’omwoyo buzingiramu okumanya okutuufu okukwata ku Yakuwa, Ekigambo kye, awamu n’ebigendererwa bye. Era obusika obwo buzingiramu n’enkizo endala Yakuwa gy’atuwadde.
Ku lukuŋŋaana olunene olwaliwo mu 1931 twatandika okuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa
5 Enkizo eyo lye linnya lye twafuna ku lukuŋŋaana olunene olwali mu Columbus, Ohio, Amerika, mu 1931. Ku kapapula ka programu y’olukuŋŋaana olwo kwaliko ennukuta “JW.” Mwannyinaffe omu yagamba nti ab’oluganda abamu baagezaako okuteebereza amakulu g’ennukuta ezo. Olukuŋŋaana olwo bwe lwali terunnabaawo, twali tuyitibwa Abayizi ba Bayibuli, naye abo bonna abaawuliriza emboozi ey’enjawulo eyaweebwa ku Ssande nga Jjulaayi 26, 1931 bakkiriza tuyitibwe Abajulirwa ba Yakuwa (Jehovah’s Witnesses, mu Lungereza). Bonna abaaliwo baali basanyufu nnyo okufuna erinnya eryo eryesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. (Soma Isaaya 43:12.) Ow’oluganda omu yagamba nti: “Sigenda kwerabira ekyaliwo ku olwo. Ab’oluganda baakuba mu ngalo nga tebalekera awo.” Abantu mu nsi baali tebaagala linnya eryo, naye kati tumaze emyaka egisukka mu kinaana nga tuyitibwa erinnya eryo. Nga nkizo ya maanyi okuba nti tuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa!
6. Obusika bwaffe obw’eby’omwoyo buzingiramu ki?
6 Obusika bwaffe obw’eby’omwoyo buzingiramu n’ebintu ebikwata ku baweereza ba Yakuwa ab’edda be tusomako mu Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo. Abasajja abo abeesigwa awamu n’ab’omu maka gaabwe bateekwa okuba nga baayogeranga ku ngeri gye baalinanga okweyisaamu okusobola okusanyusa Yakuwa. Ekyo kiyinza okuba nga kye kyayamba Yusufu okugaana okwegatta ne muka Potifaali. (Lub. 39:7-9) Ne mu kyasa ekyasooka, Abakristaayo baayogeranga ne Bakristaayo bannaabwe ku bintu bye baalina okukola okusobola okusanyusa Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, Pawulo yabuulira Bakristaayo banne engeri gye baalina okukwatamu eky’Ekiro kya Mukama Waffe. (1 Kol. 11:2, 23) Ebintu ebyo byonna byawandiikibwa mu Bayibuli okutuyamba okusinza Katonda “mu mwoyo n’amazima.” (Soma Yokaana 4:23, 24.) N’olwekyo, ffenna abantu ba Yakuwa tusaanidde okutwala Bayibuli ng’ekintu eky’omuwendo ennyo.
7. Obusika bwaffe buzingiramu kisuubizo ki?
7 Okuva edda n’edda Yakuwa abadde ayamba abantu be era ne leero akyabayamba. (Zab. 118:7) Ebitabo byaffe byogera ku bintu bingi Yakuwa by’akoze okukuuma abantu be. Okusoma ku bintu ebyo, kituleetera okuba abavumu ne bwe tuba nga tuyigganyizibwa. Obusika bwaffe buzingiramu ekisuubizo kino: “Tewaabenga kya kulwanyisa kye baliweesa okulwana naawe ekiriraba omukisa; era buli lulimi olulikugolokokerako okuwoza naawe olirusinga. Obwo bwe busika obw’abaddu ba Mukama, n’obutuukirivu bwabwe obuva gye ndi, bwayogera Mukama.” (Is. 54:17) N’olwekyo, tewali kya kulwanyisa kyonna Sitaani ky’ayinza kukozesa kisobola kutukolako kabi ka lubeerera.
8. Kiki kye tugenda okwetegereza mu kitundu kino n’ekiddako?
8 Sitaani agezezaako okusaanyaawo Ekigambo kya Katonda, okulemesa abantu okumanya erinnya lya Katonda n’okutegeera amazima. Naye ebyo byonna Yakuwa tamukkirizza kubikola. Mu kitundu kino n’ekiddako, tugenda kulaba (1) engeri Katonda gy’akuumyemu Ekigambo kye obutasaanyizibwawo; (2) engeri Yakuwa gy’akuumyemu erinnya lye; ne (3) engeri Kitaffe ow’omu ggulu gy’atuyambyemu okutegeera amazima.
YAKUWA AKUUMYE EKIGAMBO KYE
9-11. Yakuwa akuumye atya Ekigambo kye?
9 Yakuwa akuumye Ekigambo kye ne kirema okusaanyizibwawo. Ekitabo ekiyitibwa Enciclopedia Cattolica kigamba nti: ‘Mu 1229, olukiiko lw’Ekkereziya Katolika olwatuula mu Toulouse lwagaana abantu aba bulijjo okusoma Bayibuli ezaali mu nnimi ze baali bategeera. Ekyo kyakolebwa okulwanyisa abo abaali bawakanya enjigiriza z’Ekikatoliki. Olukiiko olulala olwatuula mu kibuga Tarragona ekya Spain mu 1234, olwakubirizibwa James I, nalwo lwayisa ekiragiro ekifaananako ng’ekyo. Mu 1559, Ppaapa Pawulo IV yagaana abantu okukuba n’okusoma Bayibuli ezaali mu nnimi ezitegeerwa abantu aba bulijjo nga tebasoose kufuna lukusa okuva eri olukiiko olukulu olw’Ekkereziya Katolika.’
10 Wadde ng’abantu bagezezzaako okusaanyaawo Bayibuli, Katonda agikuumye. Awo nga mu mwaka gwa 1382, John Wycliffe ne banne bavvuunula Bayibuli ey’Olungereza eyasooka. Omusajja omulala eyayamba mu kuvvuunula Bayibuli yali William Tyndale, eyattibwa mu 1536. Kigambibwa nti bwe yali asibiddwa ku muti ng’agenda okuttibwa, yagamba nti: “Mukama, ggula amaaso ga kabaka wa Bungereza.” Oluvannyuma baamutuga era omulambo gwe ne bagwokya.
11 Mu 1535, Miles Coverdale naye yavvuunula Bayibuli mu Lungereza. Bwe yali avvuunula Bayibuli eyo, Coverdale yakozesa enkyusa ya Tyndale “ey’Endagaano Empya” ne “ey’Endagaano Enkadde” okuva ku Olubereberye okutuuka ku Ebyomumirembe. Ate bwe yali avvuunula ebitabo bya Bayibuli ebirala, yakozesa Bayibuli ey’Olulattini ne Bayibuli ya Martin Luther eyali mu Lugirimaani. Leero, tuli basanyufu okuba nti tulina enkyusa ya New World Translation of the Holy Scriptures kubanga etegeerekeka bulungi, yeesigika, era nnyangu okukozesa mu mulimu gw’okubuulira. Sitaani awamu n’abantu be tebasobola kusaanyaawo Kigambo kya Yakuwa.
YAKUWA AKUUMYE ERINNYA LYE
Abasajja nga Tyndale baawaayo obulamu bwabwe ku lw’Ekigambo kya Katonda
12. Enkyusa ya New World Translation eyambye etya abantu okumanya erinnya lya Katonda?
12 Yakuwa Katonda akakasizza nti erinnya lye teriggibwa mu nkyusa za Bayibuli zonna. Enkyusa ya New World Translation bwe yali evvuunulwa, ab’oluganda abagivvuunula baakakasa nti erinnya lya Katonda, Yakuwa, lizzibwa mu bifo byonna we lyali mu biwandiiko bya Bayibuli ebyasooka. Mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya erinnya lya Katonda lirimu emirundi 6,973 ate mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani lirimu emirundi 237. Enkyusa ya New World Translation evvuunuddwa, mu bulambalamba oba mu bitundutundu, mu nnimi ezisukka mu 116, era kopi ezisukka mu 178,545,862 ze zaakakubibwa mu kyapa.
13. Lwaki tuyinza okugamba nti okuviira ddala ku ntandikwa y’olulyo lw’omuntu abantu babadde bamanyi erinnya lya Katonda?
13 Okuviira ddala ku ntandikwa y’olulyo lw’omuntu, abantu babadde bamanyi erinnya lya Katonda. Adamu ne Kaawa baali balimanyi era baalikozesanga. Oluvannyuma lw’Amataba, Kaamu bw’atassa kitiibwa mu Nuuwa, kitaawe, Nuuwa yagamba nti: “Yakuwa Katonda wa Seemu atenderezebwe, era Kanani [mutabani wa Kaamu] abeerenga muddu wa Seemu.” (Lub. 4:1; 9:26, NW) Katonda yagamba nti: “Nze Mukama [“Yakuwa,” NW]; eryo lye linnya lyange: n’ekitiibwa kyange sirikiwa mulala.” Era Katonda yagamba nti: “Nze Mukama [“Yakuwa,” NW] so tewali mulala; tewali Katonda wabula nze.” (Is. 42:8; 45:5) Yakuwa akuumye erinnya lye era akakasizza nti abantu okwetooloola ensi balimanya. Nga nkizo ya maanyi okuba nti tukozesa erinnya lya Katonda, Yakuwa, era nti tuyitibwa Abajulirwa be! Mu butuufu tuli ng’abagamba nti: “Mu linnya lya Katonda waffe tunaawanikanga ebendera zaffe.”—Zab. 20:5.
14. Ng’oggyeko Bayibuli, wa awalala erinnya lya Katonda we lisangibwa?
14 Erinnya lya Katonda terisangibwa mu Bayibuli mwokka. Lowooza ku jjinja eryasangibwa ku kyalo Dhiban (Dibon), ekiri mayiro 13 ebuvanjuba bw’Ennyanja Enfu. Ku jjinja eryo kuliko erinnya lya Omuli, kabaka wa Isiraeri, era kuliko ebigambo Kabaka Mesa owa Mowaabu bye yayogera ku lutalo lwe yalwana ne Isiraeri. (1 Bassek. 16:28; 2 Bassek. 1:1; 3:4, 5) Ejjinja eryo liriko n’erinnya lya Katonda nga liwandiikiddwa mu nnukuta ennya ez’Olwebbulaniya. Era erinnya lya Katonda eriri mu nnukuta ennya ez’Olwebbulaniya lisangibwa ne ku bipapajjo by’ebibya ebitali bimu ebisangibwa mu Isiraeri.
15. Septuagint kye ki, era lwaki yali yeetaagibwa?
15 Emyaka egisukka mu 2,000 emabega, Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya byavvuunulwa mu Luyonaani era enkyusa eyo yayitibwa Septuagint. Lwaki kyali kyetaagisa okuvvuunula Ebyawandiikibwa ebyo mu Luyonaani? Abayudaaya baali mu buwambe e Babulooni okuva mu 607 E.E.T. okutuuka mu 537 E.E.T. Bwe baateebwa, abamu ku bo baasalawo okusigala mu Babulooni. Kyokka ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, Abayudaaya bangi baasengukira mu bitundu bya Alekizandiriya mu Misiri. Abayudaaya abo baali baagala Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya bikyusibwe mu Luyonaani, olulimu olwali lusinga okwogerwa mu nsi yonna mu kiseera ekyo. Mu Septuagint ezimu mulimu erinnya lya Katonda mu Lwebbulaniya.
16. Wa we tusanga erinnya lya Katonda mu kitabo Bay Psalm Book?
16 Ekitabo ekyasooka okukubibwa mu kyapa mu matwale ga Bungereza ag’omu Amerika kiyitibwa Bay Psalm Book. Ekitabo ekyo kirimu Zabbuli ezavvuunulwa mu Lungereza okuva mu Lwebbulaniya. Kyasooka kukubibwa mu 1640. Mu kitabo ekyo, erinnya lya Katonda lisangibwa mu byawandiikibwa, gamba nga Zabbuli 1:1, 2, awagamba nti “alina omukisa omuntu” atatambulira mu kuteesa kw’ababi, “naye amateeka ga Iehovah (Yakuwa) ge gamusanyusa.” Okumanya ebisingawo ebikwata ku linnya lya Katonda, laba brocuwa eyitibwa The Divine Name That Will Endure Forever.
YAKUWA AKUUMYE AMAZIMA
17, 18. (a) Amazima kye ki? (b) ‘Amazima ag’amawulire amalungi’ kye ki?
17 Tuli basanyufu okuba nti tuweereza Yakuwa, “Katonda ow’amazima.” (Zab. 31:5) Amazima kye ki? Amazima bye bintu byonna ebituufu ebikwata ku kintu. Mu nnimi Bayibuli mwe yasooka okuwandiikirwa, ebigambo ebyavvuunulwa “amazima” bitegeeza ekintu ekituufu era ekyesigika.
18 Yakuwa atuyambye okumanya amazima era bulijjo agenda yeeyongera okutuyamba okutegeera ebintu ebirala bingi ebikwata ku mazima. (2 Yok. 1, 2) Bayibuli egamba nti: “Ekkubo ery’abatuukirivu liriŋŋanga omusana ogwakayakana, ogweyongerayongera okwaka okutuusa obudde lwe butuukirira”! (Nge. 4:18) Ffenna tukkiriziganya n’ebigambo Yesu bye yayogera ng’asaba Katonda. Yagamba Katonda nti: “Ekigambo kyo ge mazima.” (Yok. 17:17) Ekigambo kya Katonda kirimu ‘amazima ag’amawulire amalungi,’ nga zino ze njigiriza z’Ekikristaayo zonna. (Bag. 2:14) Mu njigiriza ezo mwe muli amazima agakwata ku linnya lya Yakuwa, obufuzi bwe, ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu, okuzuukira, n’Obwakabaka bwa Katonda. Kati ka tulabe engeri Katonda gy’akuumyemu amazima wadde nga Sitaani akoze kyonna ekisoboka okulaba nti agakweka.
YAKUWA TAKKIRIZA SITAANI KUKWEKA MAZIMA
19, 20. Nimuloodi y’ani, era kiki abantu kye baagezaako okukola mu kiseera kye?
19 Oluvannyuma lw’Amataba waaliwo enjogera egamba nti: “Nga Nimuloodi omuyizzi ow’amaanyi aziyiza Yakuwa.” (Lub. 10:9, NW) Okuva bwe kiri nti Nimuloodi yali aziyiza Yakuwa, yali asinza Sitaani era yali ng’abo Yesu be yayogerako ng’agamba nti: “Mmwe muva eri kitammwe Omulyolyomi, era mwagala okukola ebyo by’ayagala. Oyo . . . teyanywerera mu mazima.”—Yok. 8:44.
20 Nimuloodi yali afuga Babeeri n’ebibuga ebirala ebyali wakati w’Omugga Tiguli n’Omugga Fulaati. (Lub. 10:10) Ayinza okuba nga ye yalagira abantu okuzimba ekibuga Babeeri n’omunaala gwakyo mu 2269 E.E.T. Yakuwa yali ayagala abantu basaasaane mu nsi yonna, naye abazimbi ba Babeeri baagamba nti: “Kale nno, twezimbire ekibuga, n’ekigo, (ekirituusa) entikko yaakyo mu ggulu, era twefunire erinnya; tuleme okusaasaanira ddala ewala mu nsi zonna.” Naye ekyo Yakuwa teyakikkiriza kubaawo kubanga ‘yatabulatabula olulimi lw’ensi yonna’ era n’asaasaanya abantu abaali bazimba omunaala. (Lub. 11:1-4, 8, 9) Bwe kiba nti Sitaani yali ayagala kutandikawo eddiini emu ng’abantu bonna ku nsi basinza ye, olukwe lwe lwagwa butaka. Yakuwa takkirizza kusinza okw’amazima kusaanyizibwawo, era buli lukya abantu abeegatta ku kusinza okw’amazima beeyongera obungi.
21, 22. (a) Lwaki okusinza okw’amazima tekusobola kusaanyizibwawo? (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?
21 Okusinza okw’amazima tekusobola kusaanyizibwawo. Lwaki? Kubanga Omuyigiriza waffe Asinga Obukulu akuumye Ekigambo kye, akakasizza nti abantu bamanya erinnya lye, era ayambye abantu okutegeera amazima. (Is. 30:20, 21) Bwe tusinza Katonda mu ngeri gy’ayagala, tufuna essanyu lingi. Naye ekyo okusobola okukikola, twetaaga okusigala nga tutunula mu by’omwoyo, nga twesiga Yakuwa, era nga tufuba okukolera ku bulagirizi bw’omwoyo gwe omutukuvu.
22 Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba engeri amadiini agamu gye gaatandika okuyigiriza ebintu ebikyamu. Tujja kukiraba nti ebintu ebyo bikontana n’ebyo Bayibuli by’eyigiriza. Era tujja kulaba engeri Yakuwa gy’atuyambyemu okumanya amazima agamukwatako. Ebyo byonna bye bizingirwa mu busika bwaffe obw’eby’omwoyo.