LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w13 2/15 lup. 8-12
  • Obusika Bwaffe obw’Eby’Omwoyo Obutwala nga bwa Muwendo?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Obusika Bwaffe obw’Eby’Omwoyo Obutwala nga bwa Muwendo?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Emitwe emitono
  • ABAYUDAAYA BAATWALIBWA MU BUWAMBE
  • ENJIGIRIZA EGAMBA NTI KATONDA ALI MU BUSATU SI MPYA
  • EBY’OBUSAMIZE
  • ABAFU BALINA GYE BALI NGA BABONAABONA?
  • TWETAAGA ‘EKINUNULO OKUTUSUMULULA’
  • WEEYONGERE OKUWEEREZA YAKUWA
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 2/15 lup. 8-12
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]

Obusika Bwaffe obw’Eby’Omwoyo Obutwala nga bwa Muwendo?

“Katonda . . . yakyukira ab’amawanga okulondamu abantu ab’okuyitibwa erinnya lye.”​—BIK. 15:14.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Nokolayo enjigiriza emu ey’obulimba, era olage engeri Yakuwa gy’atuyambye okugyewala.

  • Yakuwa atununudde atya okuva mu kibi n’okufa?

  • Ndowooza ki gy’olina ku bufuzi bwa Yakuwa ne ku kuba omwesigwa gy’ali?

1, 2. (a) ‘Weema ya Dawudi’ kye ki, era yaddamu etya okuzimbibwa? (b) Leero, baani abaweereza Yakuwa?

MU LUKUŊŊAANA lw’akakiiko akafuzi olwali mu Yerusaalemi mu mwaka gwa 49 E.E., omuyigirizwa Yakobo yagamba nti: “Simyoni [Peetero] annyonnyodde bulungi engeri Katonda gye yakyukira ab’amawanga okulondamu abantu ab’okuyitibwa erinnya lye. Era ekyo kikwatagana n’ebigambo bya Bannabbi ebigamba nti, ‘Oluvannyuma lw’ebintu bino, ndiddamu okuzimba eweema ya Dawudi eyagwa; era ndiddamu okuzimba ebyamenyekamenyeka ne ngiyimiriza nate, abantu abasigaddewo ku bantu bano basobole okunoonya Yakuwa, awamu n’ab’amawanga gonna abayitibwa erinnya lyange, bw’ayogera Yakuwa akola ebintu bino ebyamanyibwa okuva edda n’edda.’”​—Bik. 15:13-18.

2 ‘Weema ya Dawudi’ be bakabaka abaali bava mu lunyiriri lwa Dawudi. Weema eyo yagwa, Zeddekiya bwe yaggibwa ku ntebe y’obwakabaka. (Am. 9:11) Kyokka, ‘weema’ eyo yaddamu okuzimbibwa, muzzukulu wa Dawudi, Yesu, bwe yafuuka Kabaka. (Ez. 21:27; Bik. 2:29-36) Nga Yakobo bwe yakiraga, obunnabbi bwa Amosi era bwalaga nti Abayudaaya n’Ab’amawanga baali ba kulondebwa okufugira awamu ne Yesu nga bakabaka mu ggulu. Leero, ensigalira y’Abakristaayo abaafukibwako amafuta awamu n’abayigirizwa ba Yesu ‘ab’endiga endala’ baweerereza wamu Yakuwa era bakolera wamu omulimu gw’okubuulira.​—Yok. 10:16.

ABAYUDAAYA BAATWALIBWA MU BUWAMBE

3, 4. Kiki ekyayamba abantu ba Yakuwa okusigala nga beesigwa gy’ali nga bali e Babulooni?

3 Abayudaaya bwe baatwalibwa mu buwambe e Babulooni, kyeyoleka lwatu nti ‘weema ya Dawudi’ yali egudde. Okuva bwe kiri nti Abababulooni baali basinza bakatonda ab’obulimba, kiki ekyayamba abantu ba Katonda okusigala nga beesigwa gy’ali mu myaka 70 gye baamala nga bali mu buwambe e Babulooni, okuva mu 607 E.E.T. okutuuka mu 537 E.E.T.? Ekyo ekiyambye abantu ba Yakuwa okusigala nga beesigwa gy’ali nga bali mu nsi eno efugibwa Sitaani, nabo kye kyabayamba. (1 Yok. 5:19) Abaweereza ba Yakuwa balina obusika obw’eby’omwoyo obubayambye okusigala nga beesigwa gy’ali.

4 Ekimu ku by’obusika bye tulina kye Kigambo kya Katonda. Abayudaaya abaali mu buwambe e Babulooni tebaalina Byawandiikibwa byonna, naye baali bamanyi Amateeka ga Musa, omwali Amateeka Ekkumi. Baali bamanyi ‘ennyimba za Sayuuni,’ engero nnyingi, era baali bamanyi n’ebikwata ku baweereza ba Yakuwa abalala abaali abeesigwa. Mu butuufu, Abayudaaya abo baakaaba amaziga bwe bajjukira Sayuuni, era tebeerabira Yakuwa. (Soma Zabbuli 137:1-6.) Ekyo kyabayamba okusigala nga banywevu mu by’omwoyo wadde nga baali mu Babulooni, omwali mujjudde enjigiriza ez’obulimba n’ebikolwa ebibi.

ENJIGIRIZA EGAMBA NTI KATONDA ALI MU BUSATU SI MPYA

5. Kiki ekiraga nti Abababulooni n’Abamisiri baali bakkiririza mu busatu?

5 Abababulooni baasinzanga bakatonda bangi abaali mu busatu. Ng’ekyokulabirako, baalina katonda eyalimu bakatonda abasatu: Sini (katonda w’omwezi), Samasi (katonda w’enjuba), ne Isita (katonda omukazi ow’oluzaalo n’entalo). Abamisiri nabo baali bakkiririza mu busatu. Baali bakkiriza nti katonda yabanga n’omukazi n’omwana. Era baali bakkiriza nti bonna abo abasatu baali bakatonda naye nga tebenkanankana. Ng’ekyokulabirako, baalina katonda eyalimu bakatonda abasatu: katonda Osirisi, katonda omukazi Isisi, n’omwana waabwe Kolusi.

6. Kiki amadiini ga Kristendomu kye gayigiriza ku Katonda, naye lwaki tetubuzaabuziddwa njigiriza eyo enkyamu?

6 Amadiini ga Kristendomu nago gayigiriza nti Katonda ali mu busatu. Gagamba nti Katonda alimu bakatonda basatu: Kitaffe, Omwana, n’omwoyo omutukuvu. Naye okwo kuba kutyoboola Yakuwa, Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, kubanga baba ng’abagamba nti Yakuwa kitundu kimu kya kusatu ekya Katonda. Abantu ba Yakuwa tebabuzaabuziddwa njigiriza eyo enkyamu olw’okuba bakkiririza mu bigambo bino ebyaluŋŋamizibwa: “Wulira ggwe Isirayiri: Yakuwa Katonda waffe ye Yakuwa omu.” (Ma. 6:4, NW) Yesu yajuliza ebigambo ebyo, era Abakristaayo ab’amazima bakkiriziganya n’ebyo Yesu bye yayogera.​—Mak. 12:29.

7. Lwaki omuntu akkiririza mu busatu talina kubatizibwa ng’omuweereza wa Yakuwa Katonda?

7 Enjigiriza egamba nti Katonda ali mu busatu ekontana n’ebigambo Yesu bye yagamba abagoberezi be. Yabagamba nti: “Mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, n’Omwana, n’omwoyo omutukuvu.” (Mat. 28:19) Omuntu okusobola okubatizibwa ng’Omukristaayo ow’amazima era ng’Omujulirwa wa Yakuwa, alina okuba ng’akkiriza nti Kitaffe, Yakuwa, alina obuyinza ku Yesu era nti Yesu Mwana wa Katonda eyajja ku nsi n’awaayo obulamu bwe nga ssaddaaka. Era omuntu oyo alina okuba ng’akkiriza nti omwoyo omutukuvu maanyi ga Katonda agakola, so si Katonda. (Lub. 1:2) Omuntu asigala ng’akkiririza mu busatu, talina kubatizibwa ng’omuweereza wa Yakuwa Katonda. Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti obusika bwaffe obw’eby’omwoyo butuyambye okwewala enjigiriza eyo enkyamu era eteweesa Katonda kitiibwa.

EBY’OBUSAMIZE

8. Ndowooza ki Abababulooni gye baalina ku bakatonda ne ku badayimooni?

8 Abababulooni baalina enjigiriza ez’obulimba nnyingi, baali bakkiririza mu bakatonda bangi, era nga bakkiririza mu badayimooni ne mu by’obusamize. Ekitabo ekiyitibwa International Standard Bible Encyclopaedia kigamba nti: ‘Abababulooni baali bakkiriza nti badayimooni basobola okuleetera abantu obulwadde oba okubasuula eddalu. Abababulooni baasabanga bakatonda baabwe okubakuuma, badayimooni baleme kubatuusaako kabi.’

9. (a) Oluvannyuma lw’okuva mu buwambe e Babulooni, Abayudaaya bangi baatwalirizibwa batya enjigiriza ez’obulimba? (b) Kiki ekiyinza okutuyamba okwewala eby’obusamize?

9 Oluvannyuma lw’okuva mu buwambe e Babulooni, Abayudaaya bangi baatwalirizibwa enjigiriza ez’obulimba. Bangi baatandika okukkiririza mu njigiriza y’Abayonaani egamba nti badayimooni basobola okuba abalungi oba ababi. Kyokka Bayibuli ekiraga kaati nti Katonda tayagala bantu be beenyigire mu bikolwa eby’obusamize. Okumanya endowooza Yakuwa gy’alina ku by’obusamize kye kimu ku ebyo ebiri mu busika bwaffe obw’eby’omwoyo. (Is. 47:1, 12-15) Bwe twewala eby’obusamize, tuba n’obukuumi.​—Soma Ekyamateeka 18:10-12; Okubikkulirwa 21:8.

10. Enjigiriza za Babulooni Ekinene n’ebikolwa byakyo ebibi byasibuka wa?

10 Okufaananako abantu b’omu Babulooni eky’edda, abantu abali mu Babulooni Ekinene, amadiini gonna ab’obulimba, nabo beenyigira mu by’obusamize. (Kub. 18:21-24) Amadiini ag’obulimba agaliwo leero gafaananako amadiini agaali mu Babulooni eky’edda olw’okuba nnyingi ku njigiriza zaago n’ebintu ebibi bye gakola byasibuka mu Babulooni eky’edda. Olw’okuba abantu abali mu Babulooni Ekinene beenyigira mu by’obusamize, basinza ebifaananyi, era bakola ebintu ebibi bingi, mu kiseera ekitali kya wala Babulooni Ekinene kijja kuzikirizibwa.​—Soma Okubikkulirwa 18:1-5.

11. Kulabula ki okukwata ku by’obusamize okuzze kufulumira mu bitabo byaffe?

11 Yakuwa yagamba nti: “Sisobola kugumiikiriza bya busamize.” (Is. 1:13, NW) Mu kyasa ekya 19, abantu bangi baali beenyigira mu by’obusamize. Magazini ya Zion’s Watch Tower eya Maayi 1885 yagamba nti: ‘Amadiini ag’edda gaayigirizanga nti omuntu bw’afa, aba tafiiridde ddala era nti n’obulombolombo abantu bwe baakolanga bwali bwekuusa ku njigiriza eyo.’ Era magazini eyo yagamba nti: ‘Badayimooni oluusi boogera n’abantu nga baagala okubaleetera okulowooza nti baba boogera n’abantu baabwe abaafa. Ekyo kireetedde abantu bangi okuba wansi w’obufuge bwa badayimooni.’ Akatabo kaffe akayitibwa, What Say the Scriptures About Spiritism? nako kaalabula ku kabi akali mu by’obusamize, era ne leero ebitabo byaffe bikola kye kimu.

ABAFU BALINA GYE BALI NGA BABONAABONA?

12. Kiki Sulemaani kye yayogera ku mbeera y’abafu?

12 “Abo bonna abategedde amazima” basobola bulungi okuddamu ekibuuzo ekyo. (2 Yok. 1) Ffenna tukkiriziganya n’ebigambo bya Sulemaani bino: “Embwa ennamu ekira empologoma enfu obulungi. Kubanga abalamu bamanyi nga balifa: naye abafu tebaliiko kye bamanyi . . . Buli kintu omukono gwo kye gulaba okukola, okikolanga n’amaanyi go; kubanga tewali mulimu newakubadde okuteesa newakubadde okumanya newakubadde amagezi mu magombe gy’ogenda.”​—Mub. 9:4, 5, 10.

13. Eddiini y’Abayonaani n’empisa zaabwe byakwata bitya ku Bayudaaya?

13 Yakuwa yali yabuulira Abayudaaya amazima agakwata ku bafu. Naye Buyonaani bwe yatandika okufuga Yuda ne Busuuli, abafuzi baayo baagezaako okuleetera abantu okukkiriza eddiini y’Abayonaani n’empisa zaabwe. N’ekyavaamu, Abayudaaya baatandika okukkiriza nti waliwo ekintu ekiwonawo ng’omuntu afudde era nti wansi eyo waliyo ekifo emyoyo gy’abafu gye gibonyaabonyerezebwa. Abayonaani si be baasooka okuba n’enjigiriza eyo. Abababulooni baali bakkiriza nti “waliwo ekifo emyoyo gy’abafu gye gibonyaabonyerezebwa era nga mu kifo ekyo eriyo bakatonda ne badayimooni ab’amaanyi era ab’entiisa.” (The Religion of Babylonia and Assyria) Kyeyoleka lwatu nti Abababulooni baali bakkiriza nti waliwo ekintu ekiwonawo ng’omuntu afudde.

14. Kiki Yobu ne Ibulayimu kye baali bamanyi ku ekyo ekibaawo ng’omuntu afudde ne ku kuzuukira?

14 Wadde ng’omusajja omwesigwa Yobu yali talina Byawandiikibwa, yali amanyi amazima agakwata ku ekyo ekibaawo ng’omuntu afudde. Ate era yali akimanyi nti bwe yandifudde, Yakuwa, Katonda ow’okwagala yandimuzuukizza. (Yob. 14:13-15) Ne Ibulayimu yali akkiririza mu kuzuukira. (Soma Abebbulaniya 11:17-19.) Okuva bwe kiri nti tekisoboka kuzuukiza muntu atafa, abasajja abo abaali batya Katonda baali tebakkiriza nti waliwo ekintu ekiwonawo ng’omuntu afudde. Tewali kubuusabuusa nti omwoyo gwa Katonda gwayamba Yobu ne Ibulayimu okutegeera ekyo ekibaawo ng’omuntu afudde n’okukkiririza mu kuzuukira. Amazima ago kye kimu ku ebyo ebiri mu busika bwaffe obw’eby’omwoyo.

Yakuwa Atuyambye Atya Obutabuzaabuzibwa Njigiriza Nkyamu?

[Ekifaananyi]

“Wulira ggwe Isiraeri: Yakuwa Katonda waffe ye Yakuwa omu.”​—Ma. 6:4, NW

[Ekifaananyi]

“Sisobola kugumiikiriza bya busamize.”​—Is. 1:13, NW

[Ekifaananyi]

“Abafu tebaliiko kye bamanyi.”​—Mub. 9:5, 10

TWETAAGA ‘EKINUNULO OKUTUSUMULULA’

15, 16. Twasumululwa tutya okuva mu kibi n’okufa?

15 Tuli basanyufu nnyo okuba nti Katonda atuyambye okutegeera enteekateeka gye yateekawo okusobola okutununula okuva mu kibi n’okufa bye twasikira okuva ku Adamu. (Bar. 5:12) Tukimanyi bulungi nti Yesu “teyajja kuweerezebwa, wabula okuweereza, n’okuwaayo obulamu bwe okununula abangi.” (Mak. 10:45) Nga kitusanyusa nnyo okukimanya nti okuyitira mu ssaddaaka ‘y’ekinunulo kya Kristo Yesu tusobola okusumululwa’!​—Bar. 3:22-24.

16 Okusobola okusonyiyibwa ebibi byabwe, Abayudaaya n’Ab’amawanga abaaliwo mu kyasa ekyasooka baali beetaaga okwenenya ebibi byabwe n’okukkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu. Bwe kityo bwe kiri ne leero. (Yok. 3:16, 36) Omuntu bw’agaana okulekayo enjigiriza enkyamu, gamba ng’eyo egamba nti Katonda ali mu busatu n’eyo egamba nti waliwo ekiwonawo ng’omuntu afudde, tasobola kuganyulwa mu kinunulo kya Yesu. Naye ffe si bwe tutyo bwe tuli. Tumanyi amazima agakwata ku Mwana wa Katonda. “Mu oyo twasumululwa okuyitira mu kinunulo, ekitegeeza nti ebibi byaffe byasonyiyibwa.”​—Bak. 1:13, 14.

WEEYONGERE OKUWEEREZA YAKUWA

17, 18. Biki ebiyinza okutuyamba okumanya ebyafaayo by’ekibiina kya Yakuwa, era ebyafaayo ebyo bituganyula bitya?

17 Tulina bingi bye tuyinza okwogera ku bintu Yakuwa by’atuyigirizza, ku ngeri gy’atuyambyemu mu bulamu, ne ku mikisa gy’atuwadde. Okumala emyaka mingi obutabo bwaffe obwa Yearbook bubadde bufulumiramu ebintu ebitali bimu ebikwata ku mulimu gwaffe ogukolebwa mu nsi yonna. Ebyafaayo ebikwata ku kibiina kya Yakuwa byogerwako mu vidiyo eyitibwa Faith in Action, Ekitundu 1 ne 2, era ne mu bitabo, gamba nga Jehovah’s Witnesses​—Proclaimers of God’s Kingdom. Ate era magazini zaffe zifulumiramu ebitundu ebikwata ku bakkiriza bannaffe ebituzzaamu amaanyi.

18 Abaisiraeri baaganyulwa nnyo bwe baafumiitirizanga ku ngeri Katonda gye yabanunulamu okuva mu buddu e Misiri. Naffe tujja kuganyulwa nnyo singa tufumiitiriza ku byafaayo by’ekibiina kya Yakuwa. (Kuv. 12:26, 27) Musa bwe yali ng’akaddiye yagamba Abaisiraeri nti: “Jjukira ennaku ez’edda, lowooza emyaka gy’emirembe emingi: buuza kitaawo, anaakulaga; abakadde bo, banaakubuulira.” (Ma. 32:7) Ng’abantu ba Yakuwa era endiga z’omu ddundiro lye, ffenna tulangirira n’essanyu ettendo lye n’ebikolwa bye eby’ekitalo. (Zab. 79:13) Ebintu bye tuyigira ku byafaayo by’ekibiina kya Yakuwa bijja kutuyamba okweyongera okumuweereza.

19. Okuva bwe kiri nti tutambulira mu kitangaala eky’eby’omwoyo, kiki kye tusaanidde okukola?

19 Tuli basanyufu nnyo okuba nti tetutambulira mu kizikiza eky’ensi ya Sitaani naye tutambulira mu kitangaala ekiva eri Katonda. (Nge. 4:18, 19) N’olwekyo, ka tweyongere okusoma Ekigambo kya Katonda n’okubuulira amawulire amalungi nga tulina endowooza ng’ey’omuwandiisi wa Zabbuli eyatendereza Yakuwa ng’agamba nti: “N[n]aayogeranga ku butuukirivu bwo, ku bubwo bwokka. Ai Katonda, ggwe wanjigirizanga okuva mu buto bwange; era okutuusa leero n[n]aabuuliranga ebikolwa byo eby’ekitalo. Weewaawo, bwe ndiba nkaddiye era nga mmeze envi, Ai Katonda, tondekanga; okutuusa lwe ndibuulira amaanyi go emirembe egijja okubaawo, n’obuyinza bwo buli muntu agenda okujja.”​—Zab. 71:16-18.

20. Kintu ki abaweereza ba Yakuwa ffenna kye tumanyi, era kiki ky’omaliridde okukola?

20 Abaweereza ba Yakuwa ffenna tumanyi ensonga lwaki kikulu okuwagira obufuzi bwa Yakuwa n’okusigala nga tuli beesigwa gy’ali. Mu butuufu, tubuulira abantu abalala nti Yakuwa ye Mufuzi w’Obutonde Bwonna era nti y’agwanidde okusinzibwa. (Kub. 4:11) Yakuwa atuwa omwoyo gwe omutukuvu okutuyamba okubuulira abantu amawulire amalungi, okubabudaabuda, n’okubayamba okufuna essuubi. (Is. 61:1, 2) Sitaani akoze kyonna ekisoboka okulaba nti afuga abantu bonna naye alemereddwa. Okuva bwe kiri nti obusika bwaffe obw’eby’omwoyo tubutwala nga bwa muwendo, tuli bamalirivu okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa n’okumuweereza emirembe n’emirembe.​—Soma Zabbuli 26:11; 86:12.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza