Okubunyisa Amawulire Amalungi mu Nsozi Andes
FFENNA 18 twali twebase wansi. Enkuba yali etonnya nnyo era nga tutintima olw’obunnyogovu. Okusinziira ku mbeera akayumba gye kaalimu, kirabika kaali tekasulwangamu bantu.
Kiki ekyali kireese abantu 18 mu kitundu kino? Eky’okuddamu kiri nti twali twagala kugondera kiragiro kya Yesu okubuulira amawulire amalungi “okutuusa ku nkomerero y’ensi.” (Bik. 1:8; Mat. 24:14) Twali tugenze kubuulira mu kitundu ekyesudde mu nsozi z’omu Bolivia eziyitibwa Andes.
Okutuukayo
Ekizibu kye twasooka okusanga kyali kya kutuukayo. Twakizuula nti emmotoka ezigenda mu bifo ng’ebyo ebyesudde zaali tezitambulira ku biseera. Bbaasi eyalina okututwala bwe yajja, teyali nnene nga bwe twali tusuubira era abamu ku ffe tetwafuna we tutuula. Naye ffenna twamala ne tutuuka gye twali tugenda.
Twali twagala kugenda mu byalo ebiri waggulu ddala mu nsozi Andes. Bwe twava mu bbaasi, ffenna nga bwe twali mu kibinja twasimba lwa kasota ne tutandika okwambuka olusozi nga twetisse ebintu byaffe.
Wadde ng’ebyalo byali birabika ng’ebitono, amayumba gaali geesudde nnyo era kyatutwalira ekiseera kiwanvu okumalako buli kyalo. Ne bwe twagendanga ewala ennyo, wabangayo ennyumba endala ze tulengera. Emirundi mingi twabuliranga mu bukubo obungi obwali buyita mu nnimiro.
“Bulijjo Muli Ludda Wa?”
Omukyala omu bwe yamanya nti twali tuvudde lugendo, yatukkiriza okukozesa effumbiro lye n’enku ze okufumba eky’emisana. Omwami omu bwe yategeera Baibuli ky’eyigiriza ku mbeera y’abafu yatubuuza, “Bulijjo muli ludda wa?” Bye yayiga yabyagala nnyo era bwe twali tuva ku kyalo ekyo, yatuwerekera nga bw’atubuuza ebibuuzo ebirala bingi. Omwami omulala yali tawuliranga ku Bajulirwa ba Yakuwa era yasiima nnyo ebitabo byaffe. Yatwebaza nnyo olw’okujja era yatusuza.
Lumu ekizikiza kyali kya maanyi nnyo ekiro ne twesaanga nga we tuzimbye weema zaffe waliwo ebiwuka. Mangu ddala byatandika okutuluma. Olw’okuba twali tukooye nnyo, twali tetulina na gaseguka. Naye oluvannyuma byalekera awo okutuluma.
Mu kusooka emigongo n’embirizi byatuluma olw’okusula wansi, naye oluvannyuma twakimanyiira. Era bwe twazukuka ku makya ne tulaba ebire nga biseeyeeya mu biwonvu ne tulengera n’ensozi ezikutte omuzira, twerabira obulumi bwonna bwe twali tusuze nabwo. Ng’oggyeko omugga ogwali gukulukuta n’ebinyonyi ebyali biyimba, ekifo kyali kisirifu ddala.
Bwe twamala okunaaba mu mugga, twasomera wamu ekyawandiikibwa, ne tulya eky’enkya, ne tulyoka tulinnya olusozi okugenda mu byalo ebirala. Olusozi tetwalulinyira bwereere. Twasanga omukyala omukadde eyakaaba bwe yalaba erinnya lya Katonda, Yakuwa, mu Baibuli. Kyamuyitirirako. Kati yali asobola okukozesa erinnya lya Katonda ng’asaba!
Omusajja omu omukadde yagamba nti Katonda yali amujjukidde, era yatandika okuyimba ng’agamba nti bamalayika be baali batutumye gy’ali. Omusajja omulala eyali omulwadde ennyo nga tasobola na kuva mu nju yatugamba nti ku kyalo tewali muntu n’omu yali azze kumulaba. Yeewunya bwe yakimanya nti twali tutindizze eggendo okuva e La Paz. Ate omwami omulala kyamusanyusa okumanya nti Abajulirwa ba Yakuwa bakyalira abantu mu maka gaabwe, so ng’ate amadiini amalala go gakuba bukubi bidde okubayita bagende mu makanisa.
Ennyumba z’omu kitundu ekyo zonna tezirimu masanyalaze, n’olwekyo oluba okuziba ng’abantu beebaka era bazuukuka bukedde. Ekyo kitegeeza nti twalina okutandika okubuulira ku ssaawa 12 ez’oku makya ng’abantu tebannagenda mu nnimiro. Abamu be twasanganga nga bakola baayimirizangamu ne bawuliriza obubaka bwaffe okuva mu Kigambo kya Katonda, oboolyawo nga n’ente ze balimisa bwe ziwummulamu. Bangi be twasanganga awaka baatutuzanga ku maliba g’endiga ne bakuŋŋanya ab’omu maka okutuwuliriza. Abalimi abamu baatuwa ensawo za kasooli ennnene olw’okusiima ebitabo bye twabalekera.
“Temwanneerabira”
Kya lwatu nti abantu okusobola okuyiga ebisingawo kyetaagisa okubakyalira enfunda eziwera. Bangi baatwegayirira tuddeyo tubayigirize. Eno ye nsonga lwaki tugenze mu kitundu kya Bolivia kino emirundi egiwerako.
Lumu bwe twali tuzzeeyo, omukyala omu omukadde yasanyuka nnyo okuddamu okutulaba era n’agamba nti: “Mulinga baana bange. Temwanneerabira.” Omusajja omu yatwebaza nnyo olw’omulimu gwe tukola era n’atusaba tusule ewuwe lwe tunaddayo. Mpozzi ekisingayo obulungi ekyava mu kufuba kwaffe kwe kuba nti omukyala gwe twali twogedde naye emabegako yali asengukidde mu kibuga era nga kati yali abuulira amawulire amalungi.
Ku lukyala lwaffe olwasooka, twagenda okutuuka ku lunaku olusembayo ng’amafuta ga sitoovu gatuweddeko era nga n’ebyokulya kumpi tewakyali. Twakuŋŋaanya enku ne tufumba emmere eyali esigaddewo ne tulyoka tutambula okuddayo. Twali tukyali wala n’akabuga we twalina okulinnyira bbaasi. Twagenda okutuukayo nga buzibye.
Okuddayo Ewaffe
Mu kuddayo twafuna ebizibu kubanga bbaasi yayonooneka. Oluvannyuma twalinnya loole eyali etisse akabindo. Kino kyatuwa akakisa okubuulira basaabaze bannaffe abaali baagala okumanya ensonga eyali etututte mu kitundu ekyo. Wadde nga baali basirise, baali bantu balungi era nga ba kisa.
Oluvannyuma lw’okutambulira mu loole essaawa mwenda mulamba, twatuuka eka—nga ffenna empeewo etuyisemu era nga tutobye. Naye olugendo tetwatambula lwa bwereere. Bwe twali tudda twasobola okukola enteekateeka okusoma Baibuli n’omukyala omu abeera mu kibuga.
Ddala yali nkizo ya maanyi okutuusa amawulire amalungi ku bantu ababeera mu bitundu ng’ebyo ebyesudde. Twabuulira mu byalo ebinene bina n’ebitono bingi nnyo. Kino kyatujjukiza ebigambo bino ebigamba nti: “Nga birungi ku nsozi ebigere by’oyo aleeta ebigambo ebirungi, alanga emirembe, aleeta ebigambo eby’obulungi, alanga obulokozi.”—Is. 52:7; Bar. 10:15.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Nga twetegese okugenda okubuulira amawulire amalungi