LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w08 3/15 lup. 12-16
  • Yakuwa Atuwuliriza Bwe Tumukaabirira

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Yakuwa Atuwuliriza Bwe Tumukaabirira
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Yakuwa Ategeera Ebizibu Byaffe
  • Weesige Yakuwa Okukuyamba
  • Tunaafuna Tutya Amaanyi Okugumiikiriza?
  • Okununulibwa mu Bizibu Byaffe Byonna
  • Weesige Yakuwa, “Katonda ow’Okubudaabuda Kwonna”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Yakuwa Kye ‘Kigo Kyaffe mu Biro eby’Okulaba Ennaku’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Okwesiga Yakuwa Kituyamba Okuba Abavumu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Engeri gy’Oyinza Okwaŋŋangamu Ebikweraliikiriza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 3/15 lup. 12-16

Yakuwa Atuwuliriza Bwe Tumukaabirira

“Amaaso ga Mukama galaba abatuukirivu, n’amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.”​—ZAB. 34:15.

1, 2. (a) Abantu bangi bawulira batya leero? (b) Lwaki kino tekitwewuunyisa?

OLINA ebizibu ebikunyigiriza? Bwe kiba kityo, toli wekka. Abantu bangi nnyo boolekagana n’ebizibu buli lunaku mu nsi eno embi. Abamu bawulira nga tebasobola na kubigumira. Bawulira ng’omuwandiisi wa zabbuli Dawudi eyawandiika nti: “Nnyongobera, mmenyesemenyese: mpulugumye olw’okweraliikirira kw’omutima gwange. Omutima gwange guntundugga, amaanyi gange gampeddemu: omusana ogw’amaaso gange, era nagwo gumbuze.”​—Zab. 38:8, 10.

2 Ng’Abakristaayo, ebizibu ebibaawo mu bulamu tebitwewuunyisa. Tukimanyi nti “okulumwa” kye kimu ku bintu ebiri mu kabonero k’okubeerawo kwa Yesu. (Mak. 13:8; Mat. 24:3) Ekigambo ekyavvuunulwa “okulumwa” kitegeeza obulumi obungi omukazi bw’ayitamu ng’azaala. Ng’ekyo kiraga bulungi okubonaabona abantu kwe balimu mu biro bino eby’okulaba “ennaku”!​—2 Tim. 3:1.

Yakuwa Ategeera Ebizibu Byaffe

3. Kiki abantu ba Katonda kye bamanyi obulungi?

3 Abantu ba Yakuwa bakimanyi bulungi nti nabo basobola okutuukibwako ebizibu bino, era kirabika nti embeera ejja kwongera kwonooneka bwonoonesi. Ng’oggyeko ebizibu abantu bye boolekagana nabyo, ffe ng’abaweereza ba Katonda tulina ‘omulabe Setaani’ amaliridde okunafuya okukkiriza kwaffe. (1 Peet. 5:8) Nga kyangu okuwulira nga Dawudi eyagamba nti: “Okuvumibwa kumenye omutima gwange; era njijudde ennaku: nnoonyezza anansaasira, naye tewabadde n’omu: era abanansanyusa, naye ne siraba”!​—Zab. 69:20.

4. Kiki ekituzzaamu amaanyi bwe tuba tulina ebizibu?

4 Ddala Dawudi yali ategeeza nti teyalina ssuubi n’akatono? Nedda. Weetegereze ebigambo bye ebirala ebiri mu zabbuli eyo: “Mukama awulira abaavu, so tanyooma basibe be,” kwe kugamba abantu be abasibe. (Zab. 69:33) Okutwalira awamu, oluusi tuyinza okuwulira ng’ebizibu bye tulina biringa ebitusibye mu kkomera. Kiyinza okulabika nti abalala tebategeera bizibu byaffe​—era nga bwe kitera okuba. Naye okufaananako Dawudi, tuddamu amaanyi okukimanya nti Yakuwa ategeera bulungi ebizibu byaffe.​—Zab. 34:15.

5. Kabaka Sulemaani yali mukakafu ku ki?

5 Mutabani wa Dawudi Sulemaani yayogera ku nsonga eno ku mukolo gw’okuwaayo yeekaalu mu Yerusaalemi. (Soma 2 Ebyomumirembe 6:29-31.) Yeegayirira Yakuwa awulire okusaba kwa buli muntu yenna eyandimukaabiridde ‘n’endwadde ye n’obuyinike bwe ye.’ Katonda yandikoze ki ng’awulidde okusaba kw’abantu abo abalina ebizibu? Sulemaani yalaga nti yali mukakafu nti Katonda teyandiwulidde buwulizi kusaba kwabwe, wabula yandibaddeko kyakola okubayamba. Lwaki? Kubanga amanyidde ddala bulungi ekiri mu ‘mitima gy’abaana b’abantu.’

6. Kiki kye tulina okukola okugumira ebitweraliikiriza, era lwaki?

6 Naffe tusobola okutuukirira Yakuwa mu kusaba ‘n’endwadde zaffe n’obuyinike bwaffe,’ ebizibu bye tuba nabyo kinnoomu. Kituzzaamu amaanyi okukimanya nti ategeera bulungi ebizibu byaffe era nti atufaako. Omutume Peetero yakakasa ensonga eno bwe yagamba nti: ‘Mumusindikirenga ebibeeraliikiriza byonna, kubanga abafaako.’ (1 Peet. 5:7, NW) Yakuwa akwatibwako bwe tufuna ebizibu. Yesu yalaga nti Yakuwa afaayo bwe yagamba nti: “Enkazaluggya ebbiri tebazitundamu ppeesa limu? era tewaliba n’emu ku zo erigwa wansi Kitammwe nga tamanyi: era n’enviiri zammwe ez’oku mutwe zaabalibwa zonna. Kale temutyanga; mmwe musinga enkazaluggya ennyingi.”​—Mat. 10:29-31.

Weesige Yakuwa Okukuyamba

7. Tuli bakakafu nti tujja kufuna buyambi ki?

7 Tuli bakakafu nti Yakuwa mwetegefu okutuyamba nga twolekagana n’ebizibu. “Katonda kye kiddukiro n’amaanyi gaffe, omubeezi ddala atabula mu kulaba ennaku.” (Zab. 34:15-18; 46:1) Katonda atuyamba atya? Lowooza ku biri mu 1 Abakkolinso 10:13 awagamba nti: “Katonda mwesigwa, ataabaganyenga kukemebwa okusinga bwe muyinza; naye awamu n’okukemebwa era anassangawo n’obuddukiro, mulyoke muyinzenga okugumiikiriza.” Yakuwa ayinza okujjawo ekizibu kyaffe, oba okutuwa amaanyi ge twetaaga okukigumira. Kyonna ky’asalawo okukola, aba atuyambye.

8. Tuyinza tutya okufuna obuyambi bwa Katonda?

8 Tuyinza tutya okufuna obuyambi obwo? Weetegereze kye tukubirizibwa okukola: ‘Mumusindikirenga ebibeeraliikiriza byonna.’ Kino kitegeeza nti mu ngeri ey’akabonero tukwasa Yakuwa obuvunaanyizibwa obw’okukola ku bizibu byaffe byonna. Tulekera awo okweraliikirira ne tubeera bagumiikiriza nga tumwesiga nti ajja kukola ku byetaago byaffe. (Mat. 6:25-32) Okumwesiga kitwetaagisa okuba abeetoowaze, nga tetwesigama ku busobozi bwaffe oba amagezi gaffe. Bwe twewombeeka ‘wansi w’omukono gwa Katonda ogw’amaanyi,’ tuba tukkiriza nti ddala tuli wansi we. (Soma 1 Peetero 5:6.) Kino kituyamba okugumira ekizibu kyonna Katonda ky’aba akkiriza okututuukako. Wadde nga tuyinza okwagala okufuna obuweerero obw’amangu, tuli bakakafu nti Yakuwa amanyi ekiseera kyennyini n’engeri y’okutuyambamu.​—Zab. 54:7; Is. 41:10.

9. Bizibu ki Dawudi bye yalina okukwasa Yakuwa?

9 Jjukira ebigambo bya Dawudi ebiri mu Zabbuli 55:22: “Gussenga omugugu gwo ku Mukama, naye anaakuwaniriranga: taaganyenga abatuukirivu okujjulukuka ennaku zonna.” Dawudi we yawandiikira ebigambo ebyo, yalina ebizibu bingi. (Zab. 55:4) Zabbuli eno yagiwandiika nga mutabani we Abusaalomu agezaako okuwamba obwakabaka bwe. Akisoferi, omuwi w’amagezi Dawudi gwe yali asinga okwesiga, yeegatta mu lukwe luno. Dawudi yalina okudduka mu Yerusaalemi okusobola okuwonya obulamu bwe. (2 Sam. 15:12-14) Ne mu mbeera ezo enzibu, Dawudi yasigala yeesiga Katonda okumuyamba, era bwe kityo bwe kyali.

10. Kiki kye tuteekwa okukola nga twolekaganye n’ebizibu?

10 Okufaananako Dawudi, kikulu nnyo okutuukirira Yakuwa mu kusaba ne tumutegeeza ekizibu kyonna kye tuba twolekaganye nakyo. Ka twetegereze omutume Pawulo kye yatukubiriza okukola bwe tuba n’ebitweraliikiriza. (Soma Abafiripi 4:6, 7.) Kiki ekinaava mu kusaba ng’okwo okw’amaanyi? ‘Emirembe gya Katonda egisinga okutegeerwa kwonna gijja kukuuma emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe mu Kristo Yesu.’

11. “Emirembe gya Katonda” gikuuma gitya emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe?

11 Embeera yo eneetereera bw’onoonyiikirira okusaba? Ekyayinza okutereera. Naye tulina okukijjukira nti oluusi Yakuwa okusaba kwaffe takuddamu nga bwe tuba tusuubira. Wadde kiri kityo, okusaba kutuyamba obuteeraliikirira kisukkiridde nga tulina ebizibu. “Emirembe gya Katonda” gisobola okutuyamba okugumira ebizibu ebiba bitweraliikiriza. Okufaananako ekibinja ky’abasirikale abakuuma ekibuga kireme kulumbibwa, “emirembe gya Katonda” gijja kukuuma emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe. Era emirembe egyo gijja kutuyamba okuggwamu okutya, okubuusabuusa, ebirowoozo ebimalamu amaanyi, era gituyambe obutapapa kukola kintu kyonna kye tuyinza okwejjusa.​—Zab. 145:18.

12. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti omuntu asobola okuba n’emirembe mu mutima wadde ng’alina ebizibu.

12 Tuyinza tutya okuba n’emirembe mu mutima wadde nga tulina ebizibu? Lowooza ku kyokulabirako kino. Omukozi ayinza okuba ng’alina mukama we amuyisa obubi. Kyokka, omukozi oyo afuna akakisa okwogerako ne nnannyini kampuni, omusajja ow’ekisa. Nnannyini kampuni ategeeza omukozi oyo nti ekizibu kye akimanyi bulungi era nti mukama we anaatera okukyusibwa. Olowooza omukozi oyo awulira atya? Okukakasibwa okwo n’okumanya ekigenda okubaawo bimuyamba okuguma wadde ng’akyayolekagana n’embeera eyo okumala akaseera. Okufaananako omukozi oyo, naffe tukimanyi nti Yakuwa ategeera bulungi embeera yaffe, era atukakasa nti mangu ddala “omufuzi w’ensi eno ajja kugoberwa ebweru.” (Yok. 12:31, NW) Ng’ekyo kituzzaamu nnyo amaanyi!

13. Ng’oggyeko okusaba, kiki ekirala kye tulina okukola?

13 Kati olwo kimala okutegeeza obutegeeza Yakuwa ebizibu byaffe mu kusaba? Nedda. Tulina okukola ekisingako awo. Tulina okukolera ku kusaba kwaffe. Kabaka Sawulo bwe yatuma abasajja okugenda ewa Dawudi okumutta, Dawudi yasaba nti: “Ondokole mu balabe bange, ai Katonda wange: ongulumize eri abo abangolokokerako. Ondokole eri abo abakola obutali butuukirivu, omponye eri abo abaagala omusaayi.” (Zab. 59:1, 2) Ng’oggyeko okusaba, Dawudi yakolera ku kulabula kwa mukazi we n’adduka. (1 Sam. 19:11, 12) Naffe bwe tutyo, tusobola okusaba Katonda okutuwa amagezi okwaŋŋanga ebizibu, oboolyawo ne biwewukako.​—Yak. 1:5.

Tunaafuna Tutya Amaanyi Okugumiikiriza?

14. Kiki ekiyinza okutuyamba okugumira ebizibu?

14 Ebizibu byaffe biyinza obutaggibwawo mangu ago. Biyinza n’okweyongera mu maaso okumala ekiseera. Bwe kiba kityo, kiki ekiyinza okutuyamba okugumiikiriza? Ekisooka, jjukira nti bwe tweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa nga tulina ebizibu, tulaga nti tumwagala. (Bik. 14:22) Lowooza ne ku ebyo Setaani bye yayogera ku Yobu: “Yobu akusinziza bwereere? Bulijjo omukuuma ye n’ennyumba ye ne byonna by’alina. Buli ky’akola okiwadde omukisa, era omuwadde ente ezijjuza ensi yonna. Naye kati n’omala omuggyako byonna by’alina​—ajja kukwegaana ng’olaba!” (Yobu 1:9-11, Today’s English Version) Obugolokofu bwa Yobu bw’alaga nti ekyo kyali kya bulimba. Bwe tugumira embeera enzibu, naffe tuba tulaga nti Setaani mulimba. Era obugumiikiriza bwaffe butuyamba okuba abagumu n’okunyweza essuubi lyaffe.​—Yak. 1:4.

15. Byakulabirako ki ebiyinza okutuzzaamu amaanyi?

15 Ekyokubiri, jjukira nti “ebibonoobono ebyo bituukirira eri baganda bammwe abali mu nsi.” (1 Peet. 5:9) Yee, “siwali kukema okubakwata okutali kwa bantu.” (1 Kol. 10:13) N’olwekyo, ojja kuddamu amaanyi bw’onoofumiitiriza ku byokulabirako by’abalala mu kifo ky’okulowooza ennyo ku bizibu byo. (1 Bas. 1:5-7; Beb. 12:1) Lowooza ku bantu b’omanyi abagumidde ebizibu eby’amaanyi. Ogezezzaako okusoma ku byokulabirako ebikwata ku abo abaayita mu bizibu ebifaananako ebibyo? Ebyokulabirako ng’ebyo biyinza okukuzzaamu ennyo amaanyi.

16. Katonda atuyamba atya okugumira ebizibu ebitali bimu?

16 Ekyokusatu, jjukira nti Yakuwa ye “Kitaffe ow’okusaasira era Katonda ow’okubudaabuda kwonna, atubudaabuda mu kubonaabona kwaffe kwonna tusobole okubudaabuda abo abali mu kubonaabona okwa buli ngeri olw’okubudaabuda kwe tufuna okuva eri Katonda.” (2 Kol. 1:3, 4, NW) Katonda abeera ng’atuyimiridde ku lusegere okutuzzaamu amaanyi, si mu kizibu kye tuba nakyo kyokka, naye ne “mu kubonaabona kwaffe kwonna.” Kati olwo naffe tuba tusobola okubudaabuda abalala nga bali “mu kubonaabona okwa buli ngeri.” Pawulo yali akirabye mu bulamu bwe nti ebigambo ebyo bituufu.​—2 Kol. 4:8, 9; 11:23-27.

17. Baibuli eyinza etya okutuyamba okwaŋŋanga ebizibu mu bulamu?

17 Eky’okuna, tulina Ekigambo kya Katonda, Baibuli, ‘ekigasa olw’okuyigirizanga, olw’okunenyanga, olw’okutereezanga, olw’okubuulirira okuli mu butuukirivu: omuntu wa Katonda alemenga okubulwa kyonna kyonna, ng’alina ddala byonna olwa buli mulimu omulungi.’ (2 Tim. 3:16, 17) Ekigambo kya Katonda kituyamba okwaŋŋanga ebizibu mu bulamu. Ng’oggyeko ekyo, kituwa bye twetaaga olwa “buli mulimu omulungi,” era kituyamba okuba na buli ‘kyonna kyonna’ tusobole ‘okubeerera ddala na byonna.’ Ebigambo ‘okubeerera ddala na byonna’ bwe bivvuunulwa butereevu bitegeeza “okuba na buli ekyetaagisa.” Mu biseera eby’edda, ekigambo kino kiyinza okuba nga kyali kitegeeza eryato eryabanga liteekeddwamu buli kyetaagisa nga ligenda ku lugendo lwalyo, oba ekyuma ekisobola okukola omulimu gwakyo obulungi. Bw’atyo ne Yakuwa okuyitira mu Kigambo kye atuwa buli kye twetaaga okusobola okwaŋŋanga ekizibu kyonna kye tuyinza okwolekagana nakyo. N’olwekyo, tuyinza okugamba nti, “Katonda bw’aba alese ekizibu okubaawo, ajja kunnyamba okukigumira.”

Okununulibwa mu Bizibu Byaffe Byonna

18. Kiki ekirala ekinaatuyamba okugumira ebizibu?

18 Eky’okutaano, kijjukirenga nti Yakuwa anaatera okumalawo ebizibu byonna ebiruma abantu. (Zab. 34:19; 37:9-11; 2 Peet. 2:9) Katonda tajja kukoma ku kutununula mu bizibu bye tulina kati kyokka, naye era ajja kutuwa n’obulamu obutaggwaawo, ka kibe kubeera ne Yesu mu ggulu oba mu lusuku lwa Katonda ku nsi.

19. Tusobola tutya okugumira ebizibu?

19 Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, tulina okwolekagana n’ebizibu mu nsi eno embi. Nga twesunga ekiseera ekyo ng’ebizibu byonna biweddewo! (Zab. 55:6-8) Ka bulijjo tukijjukire nti bwe tugumira ebizibu, tuba tulaga nti Setaani mulimba. Ka tweyongere okunywera okuyitira mu kusaba ne mu luganda lwaffe olw’Ekikristaayo, nga tukimanyi nti ne baganda baffe boolekagana n’ebizibu ebiringa ebyaffe. Weeyongere okukozesa obulungi Ekigambo kya Katonda, kikuyambe okubeera na byonna ebyetaagisa. Okwagala kw’olina eri “Katonda ow’okubudaabuda kwonna” tokuganya kuddirira. Jjukira nti “amaaso ga Mukama galaba abatuukirivu, n’amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.”​—Zab. 34:15.

Osobola Okuddamu?

• Dawudi yawulira atya olw’ebizibu bye yayitamu?

• Kabaka Sulemaani yali mukakafu ku ki?

• Biki ebinaatuyamba okugumira ebizibu Yakuwa by’akkiriza okubaawo?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]

Sulemaani yali mukakafu nti Yakuwa yandiyambye abantu Be abaalina ebizibu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Dawudi yakwasa Yakuwa ebizibu bye ng’ayitira mu kusaba era ng’akolera ku ky’asaba

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza