LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w08 3/15 lup. 19-20
  • Nnasuubiza Okumusisinkana

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Nnasuubiza Okumusisinkana
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Emitwe emitono
  • Omwoyo ogw’Okwefiiriza
  • Ekyokulabirako Lucía Kye Yalekawo
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 3/15 lup. 19-20

Nnasuubiza Okumusisinkana

WALIWO gwe nnasuubiza okusisinkana. Kiki ekyandeetera okukola ekyo, nze omukazi ow’omu Spain akyali omuto? Ka nnyinnyonnyole

Mu maka ga bazadde bange temwali mirembe na kutegeeragana. Amaka gaffe gajjula ennaku nga mwannyinaze eyali ow’emyaka ena afiiridde mu kabenje. Ng’oggyeko ekyo, maama teyalina ssanyu mu bufumbo olw’empisa za taata embi. Naye ekyo tekyamulemesa kutuyigiriza mpisa nnungi, nze ne mukulu wange omulenzi.

Bwe waayita ekiseera, mwannyinaze yawasa, era nange nnafumbirwa. Mu bbanga ttono kyazuulibwa nti maama yalina obulwadde bwa kookolo, era oluvannyuma bwamutta. Kyokka nga tannafa, alina ekintu eky’omuwendo kye yatulekera.

Omuntu omu bwe baali bamanyiganye yali ayogedeeko naye ku ssuubi ly’okuzuukira, era bw’atyo maama yakkiriza okuyiga Baibuli. Mu kiseera ky’obulamu bwe ekyasembayo, essuubi eryo ery’omu Baibuli lyamuyamba okufuna essanyu.

Bwe twalaba engeri obubaka bwa Baibuli gye bwali bumuyambyemu, naffe, nze ne mwannyinaze, ne tutandika okuyiga Ekigambo kya Katonda. Nnabatizibwa ng’Omujulirwa wa Yakuwa ng’ebula omwezi gumu nzaale omwana wange ow’okubiri, Lucia.

Olunaku lwe nnabatizibwa lwali lukulu nnyo gye ndi. Ensonga emu yali nti nnali nneewaddeyo okuweereza Yakuwa emirembe gyonna. Ate endala yali nti nnali nsobola okuyamba abaana bange okuyiga amazima.

Kyokka ku ky’okuyamba abaana bange, essanyu lye nnafuna lyali lya kaseera buseera. Lucía bwe yali aweza emyaka ena, olubuto lwatandika okumuluma ennyo. Oluvannyuma lw’okukeberwa, omusawo yatugamba nti ku kibumba kye kwaliko ekizimba ekinene. Omusawo yagamba nti Lucía yali alina kookolo akula amangu ddala. Lucía bw’atyo yatandika okumeggana n’obulwadde bwa kookolo okumala emyaka musanvu, era yamala ebiseera bingi mu ddwaliro.

Omwoyo ogw’Okwefiiriza

Mu kiseera kino ekyali ekizibu, Lucía yateranga okunzizzaamu amaanyi ng’angwa mu kifuba era n’anywegera. Abasawo nabo beewuunya nnyo engeri gye yagumira obulwadde. Yakolagananga bulungi ne bannansi ng’abayamba okutwalira abaana abalala abaali mu ddwaliro eby’okunywa n’ebintu ebirala. Bannansi batuuka n’okuwa Lucía ekkooti y’ekisawo enjeru ng’eriko ka bbaagi akagamba nti “muyambi wa bannansi.”

Omu ku bakyala abaali bakola mu ddwaliro yagamba nti: “Lucía yansanyusa nnyo. Yali mwana muyiiya, mukozi era yali ayagala nnyo okusiiga ebifaananyi. Yali amanyi bulungi okweyogerako era ng’endowooza ye ya kikulu ddala.”

Ekigambo kya Katonda kyayamba Lucía okuba omunywevu era omukkakkamu. (Beb. 4:12) Yali akimanyi bulungi nti mu nsi empya, “okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa,” ng’Ekigambo kya Katonda bwe kisuubiza. (Kub. 21:4) Olw’okuba yali afaayo ku balala, yakozesa buli kakisa okubabuulira obubaka obuli mu Baibuli. Okukkiririza mu kuzuukira kyayamba Lucía obutatya n’okusigala nga musanyufu wadde nga yali tasuubira kuwona. (Isa. 25:8) Bw’atyo bwe yali okutuusizza ddala kookolo bwe yamutta.

Ku lunaku olwo lwe nnasuubiza okumusisinkana. Lucía kumpi yali takyasobola kutunula. Kitaawe yamukwata omukono ogumu nange ne mukwata omulala. Nnamugamba nti: “Totya, sijja kukulekawo. Ssa mpolampola. Bw’onoozuukuka, ojja kuba owulira bulungi. Tojja kuddamu kuwulira bulumi, era nja kuba wamu naawe.”

Kati nnina okutuukiriza kye nnasuubiza. Nkimanyi nti tekijja kuba kyangu kulinda okutuusa lw’alizuukira. Naye mmanyi nti bwe nnaagumiikiriza era ne nsigala nga ndi mwesigwa, nja kumulaba ng’azuukidde.

Ekyokulabirako Lucía Kye Yalekawo

Ekyokulabirako kya Lucía eky’obuvumu, n’engeri ekibiina gye kyanzizaamu amaanyi, byakyusa nnyo endowooza y’omwami wange ataali mukkiriza. Olunaku Lucía lwe yafa, omwami wange yaŋŋamba nti yali agenda kulowooza ku ebyo ebyali bibaddewo. Nga wayiseewo wiiki ntono, yasaba omukadde omu mu kibiina okumuyigiriza Baibuli. Waayita ekiseera kitono n’atandika okujjanga mu nkuŋŋaana zonna. Yakuwa yamuyamba n’alekera awo okunywa sigala, ekintu ekyali kyamulema okukola.

Nkyali munakuwavu olw’okufiirwa Lucía, naye nneebaza nnyo Yakuwa olw’ekyokulabirako Lucía kye yalekawo. Essuubi ly’okuzuukira nze n’omwami wange lituzzaamu amaanyi era twesunga ekiseera lwe tuliddamu okulaba Lucía nate.

Okufa kwa muwala wange kulina muliraanwa wange omu gwe kwakwatako ennyo. Lumu ku Lwomukaaga ku makya ng’enkuba etonnya, omukyala omu eyalina omwana omulenzi bwe baali basoma ne Lucía yajja ewaffe. Omwana we ow’obulenzi ow’emyaka 11 yali yafa obulwadde bwe bumu. Bwe yawulira ekyali kituuse ku Lucía, omukyala oyo yanoonya we twali tubeera n’ajja okutulaba. Yali ayagala okumanya ekyali kinnyamba okugumira okufa kwa Lucía era y’aleeta ekirowoozo tutandikewo ekibiina ekyandiyambye abazadde abali mu mbeera efaananako eyaffe.

Nnamunnyonnyola nti ekimu ku bisuubizo bya Baibuli kye kyali kinnyambye okugumira embeera okusinga essuubi lyonna abantu lye bayinza okumpa. Yaddamu amaanyi bwe nnamusomera ebigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana 5:28, 29. Yakkiriza okuyiga Baibuli era yatandika okuwulira “emirembe gya Katonda, egisinga okutegeerwa kwonna.” (Baf. 4:7) Emirundi mingi bwe mba mmuyigiriza Baibuli, tusiriikiriramu ne tukuba akafaananyi nga tuli mu nsi empya nga twaniriza abaagalwa baffe abaafa abaliba bazuukiziddwa.

Yee, Lucía yateekawo ekyokulabirako ekirungi mu kiseera ky’obulamu bwe ekyali ekimpi. Okukkiriza kwe kwagatta amaka gaffe mu kuweereza Katonda, era kundeetedde okweyongera okuba omumalirivu okusigala nga ndi mwesigwa. Awatali kubuusabuusa, ffenna abaali bafiiriddwako abaagalwa baffe tulina okufuba okubayo okubasisinkana nga bazuukiziddwa.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

Ekifaananyi ky’olusuku lwa Katonda Lucía kye yakuba

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza