JJULAAYI 13-19, 2026
OLUYIMBA 127 Oyagala Mbeere Muntu wa Ngeri Ki?
Kozesa Emisingi gya Bayibuli Okutendeka Omuntu Wo ow’Omunda
“Buli omu ajja kwetikka obuvunaanyizibwa bwe.”—Bag. 6:5.
EKIGENDERERWA
Tugenda kulaba engeri emisingi gya Bayibuli gye gisobola okutuyamba okutendeka omuntu waffe ow’omunda tusobole okusalawo obulungi.
1-2. (a) Adamu ne Kaawa baaweebwa kirabo ki? (b) Bandikiraze batya nti basiima ekirabo ekyo?
EBISOLO bikola ebintu okusinziira ku magezi agaabitonderwamu. Ebyuma bingi bikola okusinziira ku programu eba yabiteekebwamu. Naye abantu bo ba njawulo. Twatondebwa nga tulina ekirabo eky’enjawulo era Abakristaayo ab’amazima ekirabo ekyo bakitwala nga kya muwendo nnyo. Ekirabo ekyo lye ddembe ery’okwesalirawo, kwe kugamba, obusobozi bwe tulina obw’okweronderawo ekyo kye twagala. Bayibuli eraga nti omuntu eyasooka, Adamu, yatondebwa mu kifaananyi kya Katonda. (Lub. 1:26, 27) Yakuwa yatonda Adamu ne Kaawa nga balina amagezi n’okutegeera, era yabawa obusobozi bw’okwesalirawo.
2 Yakuwa teyawa Adamu ne Kaawa lukunkumuli lwa mateeka. Yabagamba kulabirira nsi, bagijjuze abaana baabwe, era bamusseemu ekitiibwa ng’oyo alina obuyinza okubateerawo ekkomo ku bintu bye balina okukola. (Lub. 1:28; 2:16, 17) Adamu ne Kaawa bandikiraze batya nti basiima Yakuwa, oyo eyali abawadde ekirabo eky’eddembe ery’okwesalirawo? Ekyo bandikikoze nga bakwata amateeka ge olw’okuba bamwagala, nga bakola ebimusanyusa, era nga bafumiitiriza ku ebyo byonna bye yali abakoledde.—Nge. 23:15.
3. Adamu ne Kaawa baakozesa batya eddembe lyabwe ery’okwesalirawo?
3 Nga Bayibuli bw’eraga, Adamu ne Kaawa tebaakozesa bulungi ddembe lyabwe ery’okwesalirawo. Baasalawo okujeemera Yakuwa. Beefaako bokka, era tebaakiraga nti baagala Yakuwa era nti basiima ebyo byonna bye yali abakoledde. (Lub. 3:1-7) Ne leero tubonaabona olw’ebyo ebyava mu ekyo Adamu ne Kaawa kye baasalawo.—Bar. 5:12.
4. (a) Okusinziira ku Abaggalatiya 6:5, buvunaanyizibwa ki ffenna bwe tulina? (b) Kirabo ki ekirala Yakuwa kye yatuwa kye tugenda okwogerako mu kitundu kino?
4 Ebiseera bye tulimu bizibu nnyo, era buli lunaku tuba n’eby’okusalawo bingi. (Soma Abaggalatiya 6:5.) Ebimu ku ebyo bye tusalawo biba byangu, ate ebirala biba bizibu. Tuyinza tutya okusalawo mu ngeri Yakuwa gy’asiima? Okusookera ddala tulina okukikkiriza nti twetaaga obuyambi bwe. (Nge. 16:3; Yer. 10:23) Ne Yesu omusajja eyali atuukiridde yali akimanyi nti yeetaaga obuyambi bwa Katonda. (Beb. 5:7) Ng’abantu abatatuukiridde, twetaaga nnyo obulagirizi bwa Katonda okusinga Yesu bwe yali abwetaaga. Kati ka twogere ku kirabo ekirala Katonda kye yatuwa ekitusobozesa okusalawo obulungi. Ekirabo kino ye muntu ow’omunda.
OMUNTU OW’OMUNDA KYE KI?
5. (a) Omuntu ow’omunda kye ki? (b) Omuntu ow’omunda atuyamba atya? (Abaruumi 2:14, 15)
5 Omuntu waffe ow’omunda bwe busobozi bwe tulina obw’okwawulawo ekituufu ku kikyamu. N’omuntu atamanyi mateeka ga Katonda alina omuntu ow’omunda. (2 Kol. 4:2) Omuntu waffe ow’omunda alinga omulamuzi, kwe kugamba, asobola okutulumiriza oba okutwejjeereza okusinziira ku ebyo bye tuba tulowooza oba bye tuba tukoze. (Soma Abaruumi 2:14, 15.) Omuntu waffe ow’omunda asobola okutulabula nga tugenda okukola ekintu kye tumanyi nti kikyamu. (1 Sam. 26:8-11) Ate era asobola okutukubiriza okukola ekyo kye tumanyi nti kituufu. Tusaanidde okukijjukira nti okuba n’eddembe ery’okwesalirawo ku bwakyo tekitegeeza nti buli kimu kye tunaasalawo kijja kuba kisiimibwa mu maaso ga Yakuwa. Omuntu ow’omunda y’atusobozesa okutegeera obanga ekyo kye tusalawo kirungi oba kibi.
6. Lwaki si buli kiseera nti omuntu waffe ow’omunda asobola okutuwa obulagirizi obulungi?
6 Naye eky’ennaku, emirundi egimu omuntu waffe ow’omunda ayinza obutatuyamba. Nga bwe tutatuukiridde, n’omuntu waffe ow’omunda naye tatuukiridde. Asobola obutakola bulungi olw’engeri gye twakuzibwamu, obuwangwa bwaffe, n’okwegomba kwaffe okubi. Bayibuli egamba nti omuntu waffe ow’omunda asobola okufuuka “omunafu,” ‘atali mulongoofu,’ okuba ‘ng’enkovu ey’oku mubiri ogwayokebwa ekyuma,” oba okuba “omubi.” (1 Kol. 8:12; Tit. 1:15; 1 Tim. 4:2; Beb. 10:22) Omuntu ow’omunda bw’atyo, aba takyasobola kutuwa bulagirizi butuufu. Aba nga minzaani etakyakola bulungi era nga yeetaaga okukanikibwa. N’olwekyo, omuntu waffe ow’omunda tusaanidde okumukuuma ng’ali mu mbeera nnungi. (1 Peet. 3:16) Ekyo tuyinza kukikola tutya?
ENGERI GYE TUYINZA OKUTENDEKAMU OMUNTU WAFFE OW’OMUNDA
7-8. (a) Kiki ekijja okutuyamba okutendeka omuntu waffe ow’omunda? (b) Emisingi gya Bayibuli giyinza gitya okutuyamba? Waayo ekyokulabirako. (Laba n’ekifaananyi.)
7 Tuyinza tutya okutendeka omuntu waffe ow’omunda? Tusaanidde okusoma Bayibuli obutayosa kituyambe okutegeera endowooza Yakuwa gy’alina ku kituufu n’ekikyamu. Okusoma amateeka ga Katonda kijja kutuyamba okutegeera obulungi endowooza ya Yakuwa. Naye nga bwe twalaba mu kitundu ekivuddeko, ebiseera ebisinga amateeka gakola mu mbeera zimu na zimu. Eyo y’ensonga lwaki bwe tuba tusoma Bayibuli tusaanidde okufuba okunoonya emisingi, kubanga gyo gituyamba okugaziya ku ngeri gye tutegeeramu endowooza ya Yakuwa n’engeri gy’awuliramu ku bintu ebitali bimu.—Is. 55:9.
8 Tusobola okwegeraageranya ku muntu ayita mu ddungu ng’alina gy’alaga. Kuba akafaananyi ng’otambulira mu ddungu eritaliimu makubo malambulukufu era nga temuli na bupande. Kiyinza okukwetaagisa okutunuulira enjuba oba emmunyeenye okusobola okumanya oludda olw’okukwata. Naye bw’oba ne mmaapu eriko ebintu ebirabwako esobola okukuyamba. Mmaapu eyo esobola okukuyamba okuba omukakafu nti ekkubo ly’okutte ttuufu, era esobola okukuyamba okukiraba nti owabye okuva ku kkubo eryo. Bayibuli eringa mmaapu etuwa obulagirizi bwe tuba twetaaga. Emisingi egiri mu Bayibuli tuyinza okugigeraageranya ku bintu ebirabwako ebiba ku kkubo kwe tutambulira. Bwe tutambulira ku misingi gya Bayibuli egyo, tuba bakakafu nti tujja kutuuka ku kiruubirirwa kyaffe mu bulamu, era ng’ekiruubirirwa ekyo kwe kusanyusa Yakuwa.
Emisingi gya Bayibuli giringa ebintu ebirabwako bye tusanga ku kkubo ebituyamba okukakasa nti ekkubo lye tuliko ttuufu (Laba akatundu 8)
9. Buyambi ki obulala obuli mu Abaruumi 9:1, obujja okutuyamba okutendeka omuntu waffe ow’omunda?
9 Okusobola okutendeka obulungi omuntu waffe ow’omunda, twetaaga obuyambi by’omwoyo gwa Katonda omutukuvu. (Soma Abaruumi 9:1.) Omwoyo omutukuvu gujja kutuyamba okutegeera endowooza ya Yakuwa ku bintu ebitali bimu. Ate era gusobola okutuyamba okufuna amaanyi ge twetaaga okukola ebyo Yakuwa by’ayagala. (Baf. 2:13) Naye tuyinza tutya okufuna obuyambi bw’omwoyo omutukuvu?
10. Tuyinza tutya okufuna obuyambi bw’omwoyo omutukuvu? (Luk. 11:10, 13)
10 Saba Yakuwa akuwe omwoyo gwe. (Soma Lukka 11:10, 13.) Tuli bakakafu nti Yakuwa ayagala okutuwa omwoyo gwe omutukuvu. (Yok. 3:34) Mwetegefu okuguwa abo bonna abakolera ku bulagirizi bwagwo. (Nge. 1:23; Yak. 1:5) Naye kiki ekirala ekisobola okutuyamba okutendeka omuntu waffe ow’omunda?
11. (a) Kiruubirirwa ki ekisingayo obukulu kye tusaanidde okuba nakyo? (b) Lwaki tusaanidde okuba abakakafu nti omuntu waffe ow’omunda atendekeddwa bulungi era akola bulungi?
11 Bulijjo fuba okusanyusa Yakuwa. (Nge. 8:34, 35) Ekyo kye kisaanidde okuba ekiruubirirwa kyaffe ekisinga obukulu mu bulamu. Bwe tukijjukira nti twagala okusanyusa Yakuwa mu buli kintu, kisobola okutuyamba okutendeka omuntu waffe ow’omunda. Bwe tuba n’omuntu ow’omunda atendekeddwa obulungi, tuba tufuba okutegeera endowooza ya Yakuwa era tuba tufaayo ku ngeri gy’ayinza okuwuliramu olw’engeri gye tweyisaamu. Olw’okuba ebiseera bye tulimu bizibu nnyo, kikulu okuba n’omuntu ow’omunda atendekeddwa obulungi. Emirundi mingi twolekagana n’embeera ezitoogerwako butereevu mu Bayibuli. Embeera ezo zizingiramu ebyo bye tusalawo bwe kituuka ku by’okwesanyusaamu, eby’emirimu, eby’obuyigirize, oba engeri gye tukolaganamu n’abalala. Kati olwo tuyinza tutya okuba abakakafu nti Yakuwa asiima ekyo kye tuba tusazeewo ku bintu ng’ebyo?—2 Kol. 1:12.
12. Kiki ekijja okutuyamba okumanya obanga omuntu waffe ow’omunda atuyamba okusalawo obulungi? (Abeefeso 5:10)
12 Fumiitiriza ku ebyo by’osoma mu Kigambo kya Katonda. (Zab. 49:3) Bwe tuba tusoma Bayibuli, tusaanidde okunoonya emisingi egijja okutuyamba okutegeera endowooza ya Yakuwa. (Soma Abeefeso 5:10.) Bwe tuba twolekagana n’embeera enzibu mu bulamu, tusaanidde okunoonya emisingi egiri mu Bayibuli egijja okutuyamba okwekebera okulaba obanga omuntu waffe ow’omunda atuyamba okusalawo obulungi. (Nge. 2:4-9, 11-13) Emisingi egyo gijja kutuyamba okutereeza n’okutendeka obulungi omuntu waffe ow’omunda kitusobozese okweyongera okukola Yakuwa by’ayagala.—Beb. 5:14.
13. Kiki kye tusaanidde okwewala okukola? Waayo ekyokulabirako.
13 Weewale okusooka okusalawo, oluvannyuma n’onoonya emisingi gya Bayibuli egiwagira ekyo ky’osazeewo. Tetwagala kuba ng’Abayisirayiri abaasigala mu Yuda oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi mu 607 E.E.T. Baagamba Yeremiya nti: “Yakuwa Katonda wo k’atubuulire ekkubo lye tugwanidde okutambuliramu ne kye tugwanidde okukola.” (Yer. 42:3-6) Naye baali baamaze dda okusalawo ekyo kye baali baagala okukola. Yakuwa bwe yabawa obulagirizi obwali butakwatagana n’ekyo kye baali baagala, baasalawo okukolera ku ekyo kye baali basazeewo. Ekyo kyavaamu ebizibu bingi. (Yer. 42:19-22; 43:1, 2, 4) N’olwekyo, nga tetunnaba kusalawo, tusaanidde okunoonya emisingi gya Bayibuli egiraga endowooza Yakuwa gy’alina ku ekyo kye twagala okusalawo era ne tugikolerako.
14. Bwe tuba tusalawo, lwaki twetaaga okukolera ku misingi gya Bayibuli?
14 By’osalawo byesigamye ku misingi gya Bayibuli. (Mat. 7:24-29; Yak. 1:23-25) Bwe tusalawo nga twesigama ku misingi gya Bayibuli, tuba tukolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu. N’ekivaamu, Yakuwa yeeyongera okugutuwa. (Bik. 5:32) Kyokka, singa tugaana okukolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu, tuyinza okwesanga nga ‘tugunakuwazizza.’ (Bef. 4:30; Is. 63:10; Bik. 7:51) Yakuwa asobola n’okulekera awo okutuwa omwoyo gwe. (Zab. 51:11; 1 Bas. 5:19) Ekyo kiba kya kabi nnyo kubanga twetaaga amaanyi agava eri omwoyo omutukuvu.—Bef. 3:16.
ENGERI GYE TUSOBOLA OKUZUULAMU EMISINGI GYA BAYIBULI EGITUUKIRAWO
15-16. (a) Tuyinza tutya okuzuula emisingi gya Bayibuli egituukirawo? (b) Misingi ki egiri mu Bayibuli egisobola okuyamba omuyizi okulekera awo okunywa ssigala?
15 Weeyambise ebintu bye tukozesa mu kwesomesa. Okusobola okukolera ku misingi gya Bayibuli, tulina okuba nga tumanyi we gisangibwa mu Byawandiikibwa. Ng’ekyokulabirako, watya singa omuyizi wo owa Bayibuli takitwala nti kikulu okulekayo okunywa ssigala? Ayinza okuba ng’agamba nti: ‘Okunywa ssigala tekyogerwako mu Bayibuli. Kati olwo tumanyira ku ki nti kikyamu?’ Oyinza otya okumuyamba okuzuula emisingi gya Bayibuli egikwata ku nsonga eyo, era n’omuyamba okugifumiitirizaako? Ekimu ku ebyo ebisobola okukuyamba kye Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza. Mu kitabo ekyo, osobola okumulaga omutwe ogugamba nti “Okunywa Sigala.” Wansi w’omutwe ogwo waliwo ekitundu ekigamba nti “Okunywa Ssigala Katonda Akutwala Atya?” (Laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjuuni 1, 2014.) Bw’anaasoma ekitundu ekyo, misingi ki gy’ajja okusangamu?
16 Weetegerezeyo emisingi etaano egiragibwa mu kitundu ekyo. (1) Tetusaanidde kuba baddu ba kintu kyonna ekireeta okufa. (Bar. 6:16) (2) Tusaanidde okwewala ekintu kyonna ekyonoona omubiri. (2 Kol. 7:1) (3) Yakuwa ayagala tumuweereze n’obulamu bwaffe bwonna. (Mat. 22:37) (4) Tusaanidde okwewala okukola ebintu ebirumya abalala. (Mat. 22:39; 1 Kol. 10:24) (5) Yakuwa asobola okutuwa amaanyi okukola ekituufu. (Baf. 4:13) N’olwekyo, wadde ng’okunywa ssigala tekwogerwako butereevu mu Bayibuli, emisingi egirimu gisobola okuyamba omuyizi wo okutegeera endowooza ya Yakuwa.
17. Ow’oluganda ne mwannyinaffe aboogerezeganya era nga bateekateeka embaga, bayinza batya okufuna emisingi gya Bayibuli egisobola okubayamba?
17 Ow’oluganda ne mwannyinaffe aboogerezeganya era nga bateekateeka embaga bayinza batya okufuna emisingi gya Bayibuli egisobola okubayamba okusalawo obulungi? Nabo basobola okukozesa Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza. Wansi w’omutwe “Embaga,” waliwo ebitundu ebirimu emisingi egisobola okubayamba. Weetegereze emisingi gino omukaaga. (1) Buli ekinaakolebwa ku mbaga kirina okuweesa Yakuwa ekitiibwa. (1 Kol. 10:31, 32) (2) Ennyambala yaffe erina okuba ng’esaanira era nga tejja kwesittaza balala. (1 Tim. 2:9; 1 Peet. 3:3, 4) (3) Tulina okwewala okukoppa ensi ya Sitaani nga tetweraga olw’ebintu bye tulina mu bulamu. (Yok. 17:14; Yak. 1:27; 1 Yok. 2:15, 16) (4) Ebintu byonna birina okukolebwa mu ngeri entegeke obulungi. (1 Kol. 14:40) (5) Embaga tezirina kubaako binyumu n’okutamiira. (Bag. 5:21) (6) Walina okubaawo kalabaalaba w’omukolo.—Yok. 2:8, 9.
18-19. (a) Kitabo ki ekirala ekisobola okutuyamba? (b) Misingi ki egisangibwa mu kitabo ekyo egisobola okukuyamba okusalawo obanga oneenyigira mu mikolo egimu? (Laba akasanduuko “Osobola Okuzuula Emisingi?”)
18 Ekintu ekirala ekiyambye Abakristaayo bangi kye kitabo Emisingi gya Bayibuli Egisobola Okutuyamba mu Bulamu. Ekitabo kino kirimu ebyawandiikibwa ebiteekeddwa wansi w’ensonga ez’enjawulo. Bw’omala okulonda ensonga gy’oyagala okunoonyerezaako, wansi waayo wabaawo ebibuuzo n’ebyawandiikibwa ebisobola okukuyamba. Ng’ekyokulabirako, Omukristaayo ayinza okwebuuza obanga yandigenze ku mukolo ogumu. Bw’agenda ku mutwe “Emikolo n’Ennaku Ezikuzibwa,” ajja kusangayo ensonga egamba nti “Emikolo Abakristaayo Gye bateenyigiramu.”
19 Wansi w’ensonga eyo waliwo ekibuuzo ekigamba nti: “Lwaki kikyamu okwenyigira mu mikolo egirina akakwate n’okusinza okw’obulimba? (1 Kol. 10:21; 2 Kol. 6:14-18; Bef. 5:10, 11).” Ekitundu ekyo kiraga emikolo Omukristaayo gy’atasaanidde kwenyigiramu. Wansi w’omutwe “Emikolo gy’eggwanga,” waliwo ebika by’emikolo ebirina akakwate n’okusinza okw’obulimba. Wansi wa buli mukolo, waliwo emisingi egisobola okuyamba Omukristaayo okusalawo obanga yandyenyigidde mu mikolo gamba ng’egy’eggwanga, egy’okujjukira entalo eggwanga lyabwe lye zaalwana, n’egyo egikolebwa okugulumiza abantu abatutumufu. Twebaza nnyo ekibiina kya Yakuwa olw’okutuwa ebintu ng’ebyo ebituyamba okutendeka obulungi omuntu waffe ow’omunda!
KAKASA NTI OMUNTU WO OW’OMUNDA ATENDEKEDDWA BULUNGI
20. Tuyinza tutya okukakasa nti tutendese bulungi omuntu waffe ow’omunda?
20 Tusiima nnyo ekirabo eky’eddembe ery’okwesalirawo Katonda kye yatuwa. Kyokka twetaaga okutendeka obulungi omuntu waffe ow’omunda okusobola okukozesa obulungi ekirabo ekyo. Omuntu ow’omunda atendekeddwa obulungi ajja kutuyamba okusalawo mu ngeri eweesa Yakuwa ekitiibwa era etuukana n’ebyo by’ayagala. Naye ekyo okusobola okubaawo, twetaaga obuyambi bw’omwoyo gwa Katonda. N’olwekyo, tulina okweyongera okumusaba atuwe omwoyo gwe omutukuvu era tukolere ku bulagirizi bwagwo. Ate era emisingi gya Bayibuli gijja kutuyamba okutendeka obulungi omuntu waffe ow’omunda. Ka bulijjo tufube okukozesa obulungi ebirabo bino. Bwe tunaakola bwe tutyo tujja kulaba amaanyi g’Ekigambo kya Katonda mu bulamu bwaffe.—2 Tim. 3:16, 17; Beb. 4:12.
OLUYIMBA 135 Yakuwa Akugamba: ‘Ba wa Magezi, Mwana Wange’