LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w26 Maayi lup. 2-7
  • Lwaki Emisingi gya Bayibuli Mikulu Nnyo

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Lwaki Emisingi gya Bayibuli Mikulu Nnyo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • EMISINGI GYA BAYIBULI KYE KI?
  • LWAKI EMISINGI GYA BAYIBULI MIKULU?
  • TUYINZA TUTYA OKUZUULA EMISINGI GYA BAYIBULI?
  • BEERA MUMALIRIVU OKUKOLERA KU MISINGI GYA BAYIBULI
  • Kozesa Emisingi gya Bayibuli Okutendeka Omuntu Wo ow’Omunda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
  • Kolera ku Misingi gya Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Okusalawo mu Ngeri Eraga nti Twesiga Yakuwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Amateeka ga Katonda Gatuganyula Gatya?
    Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
w26 Maayi lup. 2-7

JJULAAYI 6-12, 2026

OLUYIMBA 98 Ebyawandiikibwa​—Byaluŋŋamizibwa Katonda

Lwaki Emisingi gya Bayibuli Mikulu Nnyo?

‘Muweeyo emibiri gyammwe . . . nga ssaddaaka entukuvu nga mukozesa obusobozi bwammwe obw’okulowooza.’—BAR. 12:1.

EKIGENDERERWA

Tugenda kulaba emisingi gya Bayibuli kye ki, n’engeri gye tusobola okugizuulamu.

1-2. (a) Bayibuli yawandiikibwa ddi? (b) Lwaki Bayibuli ekyali ya muganyulo ne leero?

BAYIBULI yawandiikibwa emyaka mingi emabega. Yatandika okuwandiikibwa emyaka nga 3,500 emabega, era bukya emalirizibwa wayiseewo emyaka nga 2,000. Ne leero, “ekigambo kya Katonda” kiramu era kya maanyi. (Beb. 4:12; 2 Tim. 3:16, 17) Abantu bukadde na bukadde leero bakolera ku magezi agali mu Bayibuli era gabayambye okusalawo obulungi n’okuba abasanyufu.

2 Kisoboka kitya okuba nti ekitabo ekikadde bwe kityo kikyali kya muganyulo ne leero? Kiri bwe kityo lwa nsonga nga bbiri. Esooka, obubaka obuli mu Bayibuli buva eri “Katonda omulamu,” Omutonzi ow’amagezi yekka. (1 Tim. 4:10; Bar. 16:26, 27) Eyokubiri, Bayibuli yawandiikibwa ng’erimu emisingi egikola ekiseera kyonna. Emisingi egyo gisobola okuganyula abantu bonna, ka babe ba mulembe ki oba nga boolekagana na bizibu bya ngeri ki.

3. Bibuuzo ki bye tugenda okuddamu mu kitundu kino?

3 Emisingi gya Bayibuli kye ki? Lwaki gya muganyulo nnyo gye tuli leero? Tuyinza tutya okuzuula emisingi bwe tuba tusoma Bayibuli? Ekitundu kino kigenda kuddamu ebibuuzo ebyo. Ate era tugenda kulaba engeri ebyo Yesu bye yayigiriza gye biraga obukulu bw’okukolera ku misingi gya Bayibuli.

EMISINGI GYA BAYIBULI KYE KI?

4. Emisingi gya Bayibuli kye ki?

4 Emisingi gya Bayibuli ge mazima agatakyukakyuka amateeka ga Katonda kwe geesigamiziddwa. Ebiseera ebimu omusingi guyinza okuba nga gulagibwa bulungi mu tteeka. (Mat. 22:37) Kyokka, emisingi gya Bayibuli gisingira wala amateeka. Amateeka agamu gayinza okuba nga gakola mu mbeera ezimu naye nga tegakola mu mbeera ndala. Amateeka gayinza okuteekebwawo nga gakola okumala ekiseera oba nga gakwata ku mbeera emu yokka. Naye emisingi gya Bayibuli bulijjo gisobola okutuyamba okutegeera endowooza Yakuwa gy’aba alina ku nsonga ezitali zimu. Tusobola okugamba nti mu misingi mwe muva amateeka. Buli tteeka Yakuwa lye yatuwa, alina ensonga kwe yasinziira okulituwa, naye emisingi amateeka ge kwe geesigamiziddwa gisobola okukozesebwa mu mbeera ez’enjawulo, era gisigala gikola ekiseera kyonna. (Zab. 119:111) Amateeka gayinza okwetaaga okukyusibwa, naye emisingi gya Bayibuli tegiva ku mulembe.—Is. 40:8.

5. Waayo ekyokulabirako ekiraga enjawulo eriwo wakati w’amateeka n’emisingi? (Laba n’ebifaananyi.)

5 Ka tulabeyo ekyokulabirako ekisobola okutuyamba okutegeera enjawulo eriwo wakati w’amateeka n’emisingi. Maama ayinza okugamba omwana we akyali omuto nti, ‘Tokwatanga ku ssigiri.’ Eryo liba tteeka. Naye omusingi oguli emabega w’etteeka eryo gwe guno: Tokwatanga ku kintu ekyokya; kisobola okukwokya. Omusingi ogwo gukola ne ku bintu gamba nga ppaasi, entamu eyokya, oba ekintu ekirala kyonna, ekisobola okuviirako omuntu okuggya. Omusingi ogwo tegukola waka wokka, naye gukola ne mu bifo ebirala omwana gy’ayinza okugenda. Kya lwatu omwana bw’agenda akula, ayinza okutandika okukozesa essigiri. Wadde kiri kityo, alina okwegendereza essigiri ereme okumwokya. N’olwekyo etteeka lisobola okukyuka, naye omusingi oguli emabega w’etteeka eryo tegukyuka.

Ebifaananyi: Maama ne mutabani we nga bafumba. 1. Alabula mutabani we akyali omuto obutakwata ku ntamu eyokya. 2. Oluvannyuma lw’emyaka, maama ali ne mutabani we era mutabani we afumba.

Etteeka lisobola okukyuka, naye omusingi oguli emabega w’etteeka eryo tegukyuka (Laba akatundu 5)


LWAKI EMISINGI GYA BAYIBULI MIKULU?

6. (a) Biki Yakuwa by’atuwadde okuyitira mu Kigambo kye? (b) Yakuwa okutuwa emisingi kiraga ki?

6 Olw’okuba Yakuwa atwagala, atuwa amateeka agoogera obutereevu ku nsonga ezimu tusobole okwewala okugwa mu mitawaana. (Yak. 2:11) Ate era, atuyamba okumanya emisingi egiri emabega w’amateeka ago. Yakuwa akozesa Bayibuli okutuwa obulagirizi ku mbeera nnyingi mu bulamu eziyinza okuba nga tezirina mateeka gazoogerako butereevu. Emisingi gya Bayibuli gituyamba okusalawo obulungi mu bulamu era n’okukola ekituufu. Okuba nti Yakuwa yatuwa emisingi, kiraga nti atussaamu ekitiibwa, era atuleka okukozesa eddembe lyaffe okusalawo mu ngeri eraga nti tumwagala era nti twagala emitindo gye.—Bag. 5:13.

7. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti emisingi gya Bayibuli mikulu. (Laba n’ekifaananyi.)

7 Okutegeera engeri emisingi gya Bayibuli gye gisobola okutuyambamu, lowooza bupande obuteekebwa ku nguudo, abavuzi b’ebidduka bwe balina okugoberera. Bungi ku bupande obwo buba bulaga amateeka ge balina okugoberera, era bwe batagagoberera ab’obuyinza bayinza okubavunaana. Obupande obwo buyinza okuba nga buyamba omuvuzi okumanya sipiidi ki gy’atalina kusussa, oba ddi lw’alina okuyimirira. Kyokka obupande obulala bulabula abavuzi b’ebidduka ku kabi akayinza okuba ku kkubo. Ng’ekyokulabirako, buyinza okubalabula nti ekkubo liseerera, oba nti ekifo kye bayitamu ensolo zitera okusalirawo. Omuvuzi w’ekidduka alina obumanyirivu bw’alaba obupande ng’obwo akozesa amagezi ng’avuga era aba mwegendereza. Ng’ekyokulabirako, enkuba bw’eba etonnya oba nga waliyo olufu, omuvuzi ayinza okukendeeza sipiidi kw’avugira kubanga embeera y’obudde teba nnungi. Mu ngeri y’emu, wadde ng’Abakristaayo beewala enneeyisa evumirirwa obutereevu mu Kigambo kya Katonda, era basaanidde okwewala ebirowoozo n’ebikolwa ebisobola okubaviirako okumenya amateeka ga Katonda. Ekyo kibeetaagisa bulijjo okuba n’endowooza ya Yakuwa, kibasobozese okusalawo obulungi.

Emmotoka ng’etambulira ku luguudo oluli ku lusozi ekiro. Amataala gaayo gamulisizza ku bupande obuliko obubonero obulabula.

Obupande bungi obuli ku makubo bulabula abavuzi b’ebidduka ku kabi ke bayinza okusanga. Emisingi gya Bayibuli nagyo gituyamba mu ngeri y’emu (Laba akatundu 7)


8. Nga bwe kiragibwa mu Abaruumi 12:1, 2, emisingi gya Bayibuli gituyamba gitya?

8 Waliwo n’emiganyulo emirala gye tufuna bwe tufuba okuzuula emisingi egiri mu Bayibuli era ne tugikolerako. Ng’ekyokulabirako, tutendekebwa okutegeera endowooza Yakuwa gy’alina ku bintu ebitali bimu. Bwe tusoma ebyo ebiri mu Bayibuli, tuyiga okufumiitiriza ku ngeri gye tusobola okubikolerako. Twebuuza ensonga lwaki Yakuwa yabiwandiisa mu Bayibuli, n’engeri gye bisobola okutuganyulamu. Bwe tukola bwe tutyo, tuyiga okukozesa ‘obusobozi bwaffe obw’okulowooza’ nga tuweereza Yakuwa. Ate era twekakasiza “ekyo Katonda ky’ayagala, ekirungi, ekisiimibwa, era ekituukiridde.”—Soma Abaruumi 12:1, 2.a

9. Muganyulo ki omulala gwe tufuna bwe tukolera ku misingi gya Bayibuli? (Abebbulaniya 5:13, 14)

9 Bwe tuyiga okukolera ku misingi gya Bayibuli, tufuuka Bakristaayo abakulu mu by’omwoyo. Bwe tukolera ku Misingi gya Bayibuli, enkolagana yaffe ne Yakuwa yeeyongera okunywera. (Soma Abebbulaniya 5:13, 14.) Abaana abato beetaaga okuweebwa olukalala lw’amateeka okusobola okumanya eky’okukola mu mbeera ezitali zimu. Bayinza okugondera amateeka ago olw’okuba batya okubonerezebwa. Kyokka Yakuwa atutwala ng’abantu abakulu so si ng’abaana abato. Mukakafu nti tujja kusalawo nga tukolera ku bulagirizi bw’atuwa era bwe tukola bwe tutyo tumusanyusa.—Zab. 147:11; Nge. 23:15, 26; 27:11.

TUYINZA TUTYA OKUZUULA EMISINGI GYA BAYIBULI?

10. Tuyinza tutya okuzuula emisingi egiri mu Bayibuli?

10 Bwe tuba tusoma Bayibuli tusaanidde okunoonya emisingi egijja okutuyamba okutegeera endowooza Yakuwa gy’alina ku nsonga ezitali zimu. Ate era tusobola okuzuula emisingi singa tufumiitiriza ku nsonga lwaki Yakuwa yawa etteeka lye tuba tusomyeko. Gye tukoma okutegeera ensonga lwaki amateeka ng’ago gaaweebwa, gye tukoma okutegeera Yakuwa. Naye okusobola okutegeera obulungi endowooza Yakuwa gy’alina ku bintu ebitali bimu, tulina okumusaba atuyambe, era tulina okukulaakulanya obusobozi bwaffe obw’okulowooza. (Nge. 2:10-12) Tusobola okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Lwaki Katonda yawa etteeka lino? Bwe kiba nti ekintu kino Yakuwa takyagala, awulira atya singa omuweereza we akola ekintu ekirala ekifaananako bwe kityo? Bino bye nsomye mu Bayibuli binjigiriza ki era nnyinza ntya okubikolerako?’ Bwe tutegeera ensonga lwaki Yakuwa yawa amateeka agatali gamu era ne tufumiitiriza ne ku ebyo bye tuba tusomye, kijja kutuyamba okusalawo mu ngeri etuukana n’ebyo Yakuwa by’ayagala.

11. Mu Kuyigiriza Kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yatulaga atya engeri gye tusobola okuzuulamu emisingi gya Bayibuli? (Laba n’ekifaananyi.)

11 Mu Kuyigiriza Kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yatulaga engeri gye tusobola okuzuulamu emisingi gya Bayibuli. Ka twetegerezeeyo ebyokulabirako bisatu. Mu buli kyakulabirako, Yesu yasooka kwogera ku tteeka. Oluvannyuma yayogera ku musingi, oba ku nsonga lwaki etteeka eryo lyaweebwa. Bwe tufumiitiriza ku ebyo bye yayigiriza, tujja kulaba engeri emisingi egyo gye gisobola okutuyamba okusalawo obulungi ne mu kiseera kino.

Yesu ng’atudde wansi w’omuti ayigiriza abayigirizwa be.

Mu Kuyigiriza Kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yatuyamba okulaba engeri gye tuyinza okuzuula emisingi gya Bayibuli egiri emabega w’amateeka ga Katonda (Laba akatundu 11)


12. Ogumu ku misingi egiri emabega wa Matayo 5:21, 22 gwe guluwa? (Laba n’ekifaananyi.)

12 Soma Matayo 5:21, 22. “Tottanga.” Ogumu ku misingi egiri emabega w’etteeka lino gwe guluwa? Yakuwa tayagala tukyawe muntu yenna ka kibe mu birowoozo, mu bye twogera, oba mu bikolwa. Yesu yakiraga nti omuntu ne bw’aba teyeenyigidde mu kikolwa kya kutta, singa asibira muganda we ekiruyi, kwe kugamba, singa “asigala ng’amusunguwalidde,” oba n’ayogera naye ng’akozesa ebigambo ebivuma, omuntu oyo aba amenye omusingi oguli emabega w’etteeka eryo, era aba “ajja kuvunaanibwa.” Mu butuufu, ebintu ebyo bye biyinza okuviirako omuntu okutta munne.—1 Yok. 3:15.

13. Tuyinza tutya okukolera ku musingi oguli mu Matayo 5:21, 22? (Laba n’ekifaananyi.)

13 Tuyinza tutya okukolera ku musingi oguli mu Matayo 5:21, 22? Tusaanidde okwewala okusibira abalala ekiruyi. (Leev. 19:18; Yob. 36:13) Lwaki? Kubanga ekyo kisobola okutusigamu obukyayi era ne kituviirako okwogera oba okukola ebintu ebirumya abalala. (Nge. 10:12) Mu bintu ebyo muzingiramu olugambo n’okuwaayiriza era ng’ebintu ebyo bisobola okwonoona erinnya ly’omuntu omulala. (Nge. 20:19; 25:23) Yesu we yaweera omusingi ogwo tewaaliwo bintu bye tukozesa leero, gamba ng’amasimu, Intaneeti, oba emikutu emigattabantu. Wadde kiri kityo, omusingi ogwo gukola ne ku bintu ng’ebyo. Ka tubeere mu mbeera ki, tusaanidde okwewala okwogera ebintu eby’obukyayi era ebiyinza okwonoona erinnya ly’omuntu eddungi.

Ebifaananyi: 1. Omusingi: “Tottanga.” 2. Bannyinaffe babiri balina gwe bageya, waliwo mwannyinaffe omulala abawulira era si musanyufu olw’ebyo bye boogera.

(Laba akatundu 12-13)


14. Musingi ki oguli emabega w’etteeka eriri mu Matayo 5:27, 28? (Laba n’ekifaananyi.)

14 Soma Matayo 5:27, 28. “Toyendanga.” Musingi ki oguli emabega w’etteeka lino? Ng’oggyeeko okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, Yakuwa era akyawa ebirowoozo ebiyinza okuleetera omuntu okwenyigira mu bikolwa ebyo. Yesu yalaga nti singa omusajja omufumbo atunuulira omukazi atali mukyala we era n’amwegwanyiza, aba ayonoonye mu maaso ga Yakuwa. N’olwekyo, tusaanidde okwewala ebirowoozo byonna ebiyinza okutuleetera okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, wadde ng’ekyo kiyinza okutwetaagisa okufuba ennyo. (Mat. 5:29, 30) Omusingi guno gukwata ne ku Bakristaayo abatali bafumbo.

15. Tuyinza tutya okukolera ku musingi oguli mu Matayo 5:27, 28? (Laba n’ekifaananyi.)

15 Tuyinza tutya okukolera ku musingi oguli mu Matayo 5:27, 28? Tusaanidde okwewala okulowooza ku bintu eby’obugwenyufu. (2 Sam. 11:2-4; Yob. 31:1-3) Kya lwatu, buli Mukristaayo omukulu mu by’omwoyo yeewala okulaba ebifaananyi eby’obuseegu eby’engeri yonna. Tagamba nti tewali kabi konna kali mu kulaba bifaananyi bya buseegu, kasita mba nga nze sibyenyigiramu. Ate era teyeerimbalimba ng’agamba nti si kibi okulaba ebika by’ebifaananyi ebimu eby’obuseegu, ye bw’aba akitwala nti ebifaananyi ebyo si bibi nnyo bw’obigeraageranya ku birala. Mu kiseera kya Yesu, tewaaliwo bintu gamba ng’amasimu, kompyuta, firimu, oba ebifaananyi. Wadde kiri kityo, Yesu yatuwa omusingi ogutuyamba okutegeera endowooza Yakuwa gy’alina ku bintu eby’obuseegu ebiragibwa mu bifaananyi oba mu vidiyo. Kino kituyamba okutegeera nti tekisanyusa Yakuwa singa omuntu yeenyigira mu bintu gamba ng’okuweereza vidiyo oba ebifaananyi ebirimu eby’obuseegu, oba singa twogera oba ne tuweereza obubaka obulimu ebintu eby’obugwenyufu ku ssimu. Okukolera ku musingi guno kiyamba abafumbo buli omu okwewala ebintu ebiyinza okumuleetera obutaba mwesigwa eri munne. (Mal. 2:15) Ate era omusingi ogwo guyamba Abakristaayo bonna, ka kibe nti bafumbo oba si bafumbo, okwewala ekintu kyonna ekiyinza okubaviirako okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu.—Nge. 5:3-14.

Ebifaananyi: 1. Omusingi: “Toyendanga.” 2. Ow’oluganda aggya apu y’emikutu emigattabantu mu ssimu ye.

(Laba akatundu 14-15)


16. Musingi ki oguli emabega w’etteeka eriri mu Matayo 5:43, 44? (Laba n’ekifaananyi.)

16 Soma Matayo 5:43, 44. “Yagalanga muliraanwa wo.” Musingi ki oguli emabega w’etteeka lino? Yakuwa ayagala abantu bonna tubatwale nga baliraanwa baffe era tubalage okwagala. Eky’ennaku, Abayudaaya abaaliwo mu kiseera kya Yesu baali bakitwala nti etteeka lino litegeeza nti balina kwagala Bayudaaya bannaabwe bokka era nti balina okukyawa abalabe baabwe. Naye Yesu yali akimanyi nti eyo si ye nsonga lwaki Yakuwa yawa etteeka eryo. Yali akimanyi nti Kitaffe ow’omu ggulu atwagala ennyo atusuubira okutwala buli muntu nga muliraanwa waffe, era tatusuubira kusosola balala olw’eggwanga lyabwe oba langi yaabwe.—Mat. 5:45-48.

17. Tuyinza tutya okukolera ku musingi oguli mu Matayo 5:43, 44? (Laba n’ekifaananyi.)

17 Tuyinza tutya okukolera ku musingi oguli mu Matayo 5:43, 44? Okwagala kwe tulina eri bantu bannaffe kujja kutuleetera obutabaako ludda lwe tuwagira mu ntalo oba okuzeenyigiramu. (Is. 2:4; Mi. 4:3) Ate era okwagala okwo kujja kutuleetera okuyisa abantu abalala mu ngeri ey’ekisa, ka babe ba langi ki, ba ggwanga ki, oba ba ddiini ki. (Bik. 10:34, 35) Ate era okwagala okwo kujja kutuyamba okusonyiwa abalala bwe baba nga bakoze ebintu ebitulumya, oba nga balumizza mikwano gyaffe oba ab’eŋŋanda zaffe.—Mat. 18:21, 22; Mak. 11:25; Luk. 17:3, 4.

Ebifaananyi: 1. Omusingi: “Oyagalanga muliraanwa wo.” 2. Ow’oluganda ne mukazi we bali mu kubuulira era balaga omusajja ali mu katale akatabo “Nyumirwa Obulamu!”

(Laba akatundu 16-17)


BEERA MUMALIRIVU OKUKOLERA KU MISINGI GYA BAYIBULI

18. (a) Tusaanidde kuba bamalirivu kukola ki? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu ekiddako?

18 Tuli basanyufu nti Yakuwa tatuyisa nga baana abato, naye atutwala ng’abantu abakulu! Ayagala tukolere ku misingi egiri mu Bayibuli, kituyambe okusalawo obulungi. (1 Kol. 14:20) Bwe tuba tuliko bye tusalawo, ka tubeere bamalirivu ‘okutegeeranga ekyo Yakuwa ky’ayagala.’ (Bef. 5:17) Bulijjo twagala okusalawo obulungi kubanga twagala Yakuwa era twagala okukola ebimusanyusa, so si olw’okutya nti ajja kutubonereza. Naye waliwo ekintu ekirala ekisobola okutuyamba okusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa. Ekintu ekyo ye muntu waffe ow’omunda. Ensonga eyo tujja kugyogerako mu kitundu ekiddako.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Emisingi gya Bayibuli kye ki?

  • Emisingi gyawukana gitya ku mateeka?

  • Egimu ku misingi gya Bayibuli Yesu gye yayigiriza mu Kuyigiriza Kwe okw’Oku Lusozi gye giruwa?

OLUYIMBA 95 Ekitangaala Kyeyongera

a Abakristaayo bakubirizibwa okwekenneenya n’obwegendereza emisingi gya Bayibuli. Tusaanidde okumanya engeri emisingi egyo gye gikwataganamu, era n’engeri gye gikwata ku ebyo bye tuba twagala okusalawo. Tusobola okukozesa obusobozi obw’okulowooza Katonda bwe yatuwa okusalawo mu ngeri eneetuleetera okufuna emikisa gye. Mu kyasa ekyasooka, engeri Abakristaayo gye baali basinzaamu, yali ya njawulo nnyo ku y’Abayudaaya. N’olwekyo Abayudaaya abaafuuka Abakristaayo baalina okukola enkyukakyuka ey’amaanyi. Bwe baali tebannafuuka Bakristaayo, Abayudaaya baalinga bagoberera amateeka amangi abakulembeze b’eddiini ge baabateerawo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza