LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w26 Maaki lup. 26-31
  • Ensonga Lwaki Tusobola Okusigala nga Tuli Basanyufu Wadde Tukyayibwa

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ensonga Lwaki Tusobola Okusigala nga Tuli Basanyufu Wadde Tukyayibwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • ENSONGA LWAKI TUKYAYIBWA
  • ENSONGA LWAKI TUSOBOLA OKUSIGALA NGA TULI BASANYUFU WADDE NGA TUKYAYIBWA
  • Okwagala Kutuyamba Okugumira Obukyayi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Ebbaluwa Etuyamba Okugumiikiriza n’Obwesigwa Okutuuka ku Nkomerero
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Yakuwa Atuyamba Atya Okugumiikiriza?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • “Mweronderewo . . . Gwe Munaaweerezanga”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
w26 Maaki lup. 26-31

JJUUNI 1-7, 2026

OLUYIMBA 111 Ebituleetera Essanyu

Ensonga Lwaki Tusobola Okusigala nga Tuli Basanyufu Wadde Tukyayibwa

“Mulina essanyu abantu bwe banaabakyawanga.”—LUK. 6:22.

EKIGENDERERWA

Tugenda kulaba ensonga lwaki tusobola okusigala nga tuli basanyufu wadde nga tukyayibwa olw’okuweereza Yakuwa.

1. Bigambo ki Yesu bye yayogera, era lwaki byewuunyisa?

MU KUYIGIRIZA Kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yagamba nti: “Mulina essanyu abantu bwe banaabakyawanga.” (Luk. 6:22) Ebigambo ebyo biteekwa okuba nga byewuunyisa nnyo abo abaali bamuwuliriza. Ekyo kiri bwe kityo kubanga tewali muntu n’omu ayagala kukyayibwa. Kati olwo lwaki Yesu yayogera ebigambo ebyo? Kirungi okulowooza ku kibuuzo ekyo kubanga abagoberezi ba Yesu leero bakyayibwa abantu bangi. Mu kitundu kino tugenda kulaba ensonga lwaki tukyayibwa, n’ensonga lwaki tusobola okusigala nga tuli basanyufu wadde nga tukyayibwa.

ENSONGA LWAKI TUKYAYIBWA

2-3. Emu ku nsonga lwaki Abakristaayo ab’amazima bayigganyizibwa y’eruwa, era tusaanidde kutwala tutya abo abatuyigganya? (Yokaana 16:​2, 3)

2 Tukyayibwa olw’okuba tusinza Yakuwa. Yesu bwe yali ayogera ku abo abandiyigganyizza era ne batta abamu ku bagoberezi be, yagamba nti: “Kitange tebamumanyi era nange tebammanyi.” (Soma Yokaana 16:​2, 3.) Ani avunaanyizibwa ku kuyigganyizibwa kw’abantu ba Katonda? Ye Sitaani. Bayibuli eraga nti Sitaani ye “katonda w’ensi eno.” (2 Kol. 4:​3, 4) Azibye abantu amaaso baleme okutegeera amazima agakwata ku Yakuwa, era abasendasenda baziyize abo bonna abamanyi Yakuwa era abamwagala. (Yok. 8:​42-44) Ekyo bwe tukimanya kyandituleetedde kutwala tutya abo abatuyigganya? Bwe tukimanya nti abantu abo batuyigganya olw’okuba balimbiddwalimbiddwa Sitaani, kisobola okutuyamba okwewala okubakyawa.

3 Lowooza ku w’oluganda Pavel,a abeera mu nsi emu omulimu gwaffe gye gwawerebwa. Olw’okuba yali aweereza Yakuwa n’obwesigwa, yakwatibwa, n’akubibwa nnyo, era n’asibibwa mu kaduukulu yekka okumala emyezi egiwerako. Pavel agamba nti: “Kyeyoleka kaati nti Sitaani ne badayimooni be batuyigganya nga baagala okutulemesa okuweereza Yakuwa. Nkirabye bulungi nti abasinga obungi ku abo abakola mu makomera tebatulinaako buzibu. Baba bakola mulimu gwabwe.” Ow’oluganda omu abeera mu Croatia eyayigganyizibwa ennyo bazadde be abataali Bajulirwa ba Yakuwa agamba nti: “Kati nkiraba nti Sitaani ye mulabe wange, so si bazadde bange.”—Bef. 6:12.

4. Kiki kye tuyigira ku Yesu n’omuyigirizwa Siteefano? (Laba n’ekifaananyi.)

4 Abo abatuyigganya tetubakyawa. Mu butuufu tusobola n’okubasabira. (Mat. 5:44) Ku nsonga eno, waliwo kye tusobola okuyigira ku Yesu n’omuyigirizwa Siteefano. Abasirikale Abaruumi bwe baali bamaze okumukomerera ku muti ogw’okubonaabona, Yesu yasaba n’agamba nti: “Kitange, basonyiwe.” (Luk. 23:34) Yesu yali asaba Yakuwa asonyiwe abasirikale abo abaali baweereddwa ekiragiro okumutta. Ate era, ayinza okuba yali alowooza ku kibiina ky’abantu ekyawogganira waggulu nga kyagala bamutte kubanga baali bapikiriziddwa abakulembeze b’eddiini. Yesu yali akiraba nti abantu abo baali tebamanyi kye bakola. N’omuyigirizwa Siteefano naye yasaba Katonda asonyiwe abo abaali bagenda okumutta. (Bik. 7:​58-60) Yakuwa yaddamu essaala ezo? Yee. Bangi ku abo abeenyigira mu kuwozesa Yesu era ne bawagira attibwe, oluvannyuma beenenya, ne bamukkiririzaamu, era ne babatizibwa. (Bik. 2:​36-41) Ate era waakiri omuntu omu ku abo abaawagira okuttibwa kwa Siteefano, nga ye Sawulo ow’e Taluso, oluvannyuma yafuuka Omukristaayo era yawulira bubi nnyo olw’ebintu ebibi bye yakola mu butamanya.—1 Tim. 1:13.

Ow’oluganda alina ebinuubule mu maaso ali mu kaduukulu asaba, era omukuumi w’ekkomera ayimiridde awo kumpi.

Nga Yesu nʼomuyigirizwa Siteefano bwe baasabira abo abaali babayigganya, naffe tusobola okusabira abo abatuyigganya (Laba akatundu 4)


5. Ekyokulabirako kya César kituyigiriza ki?

5 Ne leero, Yakuwa addamu essaala ze tusabira abo abatuyigganya. Lowooza ku w’oluganda César, abeera mu Venezuela. Taata we yali mukambwe era yabayigganya nnyo olw’amazima. César agamba nti: “Maama wange yali atuukiriza bulungi obuvunaanyizibwa bwe awaka ng’omukyala era nga maama. Wadde nga yakulembezanga Obwakabaka, teyalagajjaliranga taata. Nze ne baganda bange yatuyigiriza okussa ekitiibwa mu taata. Ate era yatukubiriza okumugondera okuggyako nga ky’atugambye okukola kikontana n’ekyo Katonda ky’ayagala.” Emyaka bwe gyagenda giyitawo, endowooza ya taata we yakyuka. César agamba nti: “Lumu bwe nnali nnaakamala okusaba, nnabuuza taata obanga yandyagadde ntandike okumuyigiriza Bayibuli. Nneewuunya nnyo taata bwe yakkiriza era ekyo kyandeetera essanyu lingi.” Oluvannyuma lw’ekiseera, taata wa César yabatizibwa. Tekiri nti bonna abatuziyiza bakola enkyukakyuka ng’ezo, naye abamu bakyusa endowooza yaabwe bwe balaba nga tweyisa bulungi era nga twogera nabo mu ngeri eraga nti tubassaamu ekitiibwa. Tusanyuka nnyo bwe tulaba abantu abo nga bakola enkyukakyuka! Twesunga okulaba engeri Yakuwa “Omulamuzi w’ensi yonna” ow’ekisa ng’abasika okudda gy’ali.—Lub. 18:25.

6. Okusinziira ku Makko 13:​13, nsonga ki endala etuviirako okukyayibwa?

6 Tukyayibwa olw’okuba tussa ekitiibwa mu Yesu. Yesu yagamba nti Abakristaayo ab’amazima bandikyayiddwa abantu bonna “olw’erinnya [lye].” (Soma Makko 13:13.) “Erinnya” lya Yesu likiikirira ki? Likiikirira ekyo ky’ali n’obuyinza bw’alina nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda. Tukyayibwa abantu abatadde obwesige bwabwe mu bafuzi b’ensi, mu kifo ky’okubussa mu Yesu Kristo, oyo Yakuwa gw’alonze okufuga. Yesu abadde afuga nga Kabaka okuva mu 1914. Mu kiseera ekitali kya wala, ajja kuggyawo gavumenti z’abantu zonna.

7-8. Lwaki abamu ku baweereza ba Yakuwa bayisibwa bubi? (Yokaana 15:​18-20) (Laba n’ebifaananyi.)

7 Tukyayibwa olw’okugaana okweyisa ng’abantu abali mu nsi ya Sitaani. Yesu yagamba nti abagoberezi be ab’amazima bandikyayiddwa ‘olw’okuba si ba nsi.’ (Soma Yokaana 15:​18-20.) Okufaananako Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka, naffe tetutwalirizibwa ndowooza z’abantu mu nsi, enneeyisa yaabwe, n’enjogera yaabwe. N’ekivuddemu, bangi ku baganda baffe ne bannyinaffe bayisibwa bubi ku mirimu ne ku masomero. (1 Peet. 4:​3, 4) Eky’essanyu kiri nti abamu ku abo abatuyigganya, bakyusizza endowooza yaabwe era ne batandika okutwegomba olw’ebyo bye tukkiririzaamu n’engeri gye tweyisaamu.

8 Lowooza ku kyokulabirako kya Ignacio, abeera mu nsi emu ey’omu Amerika ow’omu masekkati. Ku ssomero gye yasomera waaliyo omusomesa eyamujereganga olw’okutambulira ku mitindo gya Katonda egy’obutuukirivu. Kyokka Ignacio bwe yali anaatera okutikkirwa, omusomesa oyo yamubuuza ekimuyambye okunywerera ku mitindo gya Katonda. Ignacio yamugamba nti okukolera ku mateeka ga Katonda akitwala nga kya bukuumi. Oluvannyuma Ignacio yayita omusomesa we okubaawo mu nkuŋŋaana, era yeewuunya nnyo omusomesa oyo bwe yajja! Omusomesa oyo yakwatibwako nnyo olw’okwagala ab’oluganda mu kibiina kwe baamulaga era ekyo kyamukubiriza okweyongera okujja mu nkuŋŋaana. Oluvannyuma omusomesa oyo naye bwe yatandika okuyiga Bayibuli, yayigganyizibwa. Kyokka yeeyongera okukola enkyukakyuka ezeetaagisa era oluvannyuma yabatizibwa.

Ebifaananyi: Biraga Ignacio ng’ali ku ssomero. 1. Ali mu kibiina era omusomesa amujerega ng’abaana bonna balaba. 2. Oluvannyuma, omusomesa oyo awuliriza bulungi nga Ignacio aliko ky’amunnyonnyola.

Ka tube ba myaka emeka, tusobola okwoleka obuvumu era ne tulwanirira okukkiriza kwaffe (Laba akatundu 8)b


9-10. (a) Kiki ekirala ekifuula Abakristaayo okuba ab’enjawulo ku bantu abali mu nsi ya Sitaani? (b) Kiki kye tuyigira ku mutume Pawulo?

9 Ate era tukiraga nti tetuli ba nsi ya Sitaani nga tetubaako ludda lwe tuwagira mu bya bufuzi n’entalo. (Yok. 18:36) Tukolera ku kubuulirira okuli mu Abaruumi 13:​1, nga tugondera ab’obuyinza. Kyokka wadde kiri kityo, ng’Abakristaayo tetubaako ludda lwe tuwagira mu bya bufuzi, tetwesimbawo, era tetulonda abo ababa beesimbyewo. Lwaki? Kubanga tuli beesigwa eri Yakuwa n’eri Obwakabaka bwe obufugibwa Kristo. Abajulirwa ba Yakuwa bangi basibiddwa mu makomera olw’ebyo bye bakkiririzaamu. Wadde nga baba basibiddwa, beeyongera okubuulira. Bwe batyo baba bakoppa omutume Pawulo, eyamala emyaka mingi ng’asibiddwa mu nnyumba ne mu kkomera. (Bik. 24:27; 28:​16, 30) Pawulo yeeyongera okubuulira abo bonna abaamuwulirizanga nga mwe muli abakuumi b’ekkomera, abakungu ba gavumenti, bagavana, bakabaka, era oboolyawo n’abakungu ba Empula Nero owa Rooma.—Bik. 9:15.

10 Ne leero, baganda baffe ne bannyinaffe abasibiddwa bawa obujulirwa eri abalamuzi, abakungu ba gavumenti, n’abakuumi b’amakomera. Ow’oluganda omu eyamala emyaka egisukka mu mukaaga ng’asibiddwa mu kkomera olw’obutabaako ludda lw’awagira mu by’obufuzi, yagamba nti okusibibwa mu kkomera yali takitwala ng’ekibonerezo. Yali akitwala ng’omukisa Yakuwa gwe yali amuwadde okunoonya abantu abasobola okufuuka abaweereza be. Tusanyuka nnyo Yakuwa bw’atukozesa okubuulira amawulire amalungi eri abantu ng’abo! (Bak. 4:3) Ka twetegereze ensonga endala ezituleetera okusigala nga tuli basanyufu wadde nga tukyayibwa olw’okuweereza Yakuwa.

ENSONGA LWAKI TUSOBOLA OKUSIGALA NGA TULI BASANYUFU WADDE NGA TUKYAYIBWA

11. Okuyigganyizibwa kuyinza kutya okunyweza okukkiriza kwaffe? Waayo ekyokulabirako.

11 Tukimanyi nti ensi bw’etukyawa kituukiriza obunnabbi obuli mu Bayibuli. Mu bunnabbi obusookera ddala mu Bayibuli Yakuwa yagamba nti Sitaani n’ezzadde lye, kwe kugamba, abo bonna abamugoberera, bandikyaye abo abaagala Yakuwa era abamuweereza. (Lub. 3:15) Enfunda n’enfunda Yesu yakiraga nti obunnabbi obwo butuufu, era ebyo bye yayogera ku nsonga eyo byawandiikibwa abawandiisi b’Enjiri bonna abana. (Mat. 10:22; Mak. 13:​9-12; Luk. 6:​22, 23; Yok. 15:20) Ate era abawandiisi abalala ab’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani nabo baawandiika ku nsonga eyo y’emu. (2 Tim. 3:12; Yak. 1:2; 1 Peet. 4:​12-14; Yud. 3, 17-19) N’olwekyo, tekitwewuunyisa bwe tuyigganyizibwa. Mu kifo ky’ekyo, tuba basanyufu nti obunnabbi bwa Bayibuli butuukirizibwa, era ekyo kitukakasa nti tuweereza Katonda ow’amazima. Mwannyinaffe omu aweerereza mu nsi omulimu gwaffe gye gukugirwa agamba nti: “Bwe nneewaayo eri Yakuwa, nnali nkimanyi nti ekiseera kyandituuse ne njigganyizibwa. N’olwekyo, tekyanneewuunyisa bwe nnayigganyizibwa era tekyantiisa.” Omwami we y’omu ku bantu abaamuyigganyanga. Yamuyisanga bubi era yayokya Bayibuli ye n’ebitabo ebyesigamiziddwa ku Bayibuli. Kyokka mwannyinaffe oyo yeeyongera okunyweza okukkiriza kwe era teyakkiriza kutya kumuleetera kuddirira. (Beb. 10:39) Agamba nti: “Obunnabbi bwalaga nti abo abasinza Yakuwa mu ngeri entuufu balina okuyigganyizibwa. N’olwekyo bwe nnayigganyizibwa, kyankakasa nti nnali nzudde eddiini ey’amazima.”

12. Kiki ekyayamba ow’oluganda omu okugumira okuyigganyizibwa?

12 Wadde nga tukimanyi nti okuyigganyizibwa kulina okubaawo, kiyinza okutuzibuwalira okukugumira. Ow’oluganda omu bwe yali awandiika ku kiseera kye yamala mu kkomera yagamba nti: “Ebiseera ebimu nneeraliikiriranga nnyo era ne nkaaba.” Kiki ekyayamba ow’oluganda oyo okugumira embeera eyo? Yagamba nti: “Nnanyiikiriranga okusaba. Mu butuufu ekintu kye nnasookanga okukola buli ku makya, kwe kusaba. Buli embeera enzibu lwe yabangawo mu lunaku, nnasabanga. Ate era bwe nnasunguwalanga olw’okuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya, nneggaliranga mu kinaabiro ne nsaba.” Ow’oluganda oyo era yafumiitiriza ku byokulabirako by’abaweereza ba Yakuwa abaakuuma obwesigwa omuli abo aboogerwako mu Bayibuli, n’abo abaliwo mu kiseera kino. Ekyo kyamuyamba okugumira okuyigganyizibwa n’okufuna emirembe Yesu gye yasuubiza abagoberezi be.—Yok. 14:27; 16:33.

13. Kiki ekisobola okutuyamba okugumira obukyayi?

13 Okwagala kwe tulina kusingira wala obukyayi. Yesu yayagala Kitaawe n’omutima gwe gwonna okutuukira ddala okufa. Ate era yayagala ne mikwano gye. (Yok. 13:1; 15:13) Naffe bwe tuba n’okwagala okw’amaanyi eri Yakuwa ne bakkiriza bannaffe, kisobola okutuyamba okugumira obukyayi. Mu ngeri ki? Okuddamu ekibuuzo ekyo, ka tulabe ekyokulabirako ky’omutume Pawulo.

14. Kiki ekyayamba Pawulo okusigala nga mwesigwa eri Yakuwa okutuukira ddala okufa?

14 Ng’ebulayo ekiseera kitono Pawulo attibwe, yawandiikira mukwano gwe Timoseewo n’amugamba nti: “Katonda teyatuwa mwoyo gwa butiitiizi, wabula ogw’amaanyi, ogw’okwagala.” (2 Tim. 1:7) Pawulo yali ategeeza ki? Pawulo yali ategeeza nti Omukristaayo bw’aba ayagala nnyo Yakuwa kisobola okumuleetera okuba omumalirivu okugumira embeera enzibu ennyo. (2 Tim. 1:8) Awatali kubuusabuusa okwagala Pawulo kwe yalina eri Yakuwa kwamuyamba okwoleka obuvumu n’anywerera ku kusinza okw’amazima okutuukira ddala okufa.—Bik. 20:​22-24.

15. Leero ab’oluganda boolese batya okwagala okwa nnamaddala eri bakkiriza bannaabwe? (Laba n’ekifaananyi.)

15 Twagala nnyo bakkiriza bannaffe abasigala nga banywevu wadde nga bayigganyizibwa. Abamu ku baganda baffe leero batuuka n’okussa obulamu bwabwe mu kabi ku lwa bakkiriza bannaabwe, nga Akula ne Pulisikira bwe baateeka obulamu bwabwe mu kabi ku lwa Pawulo. (Bar. 16:​3, 4) Ng’ekyokulabirako, mu Russia ab’oluganda bangi bagenda mu kkooti okuzzaamu amaanyi bakkiriza bannaabwe ababa bakwatiddwa. Mwannyinaffe omu eyali akwatiddwa bwe yalaba nga bakkiriza banne bangi bazze mu kkooti, yakwatibwako nnyo era n’alemererwa n’okwogera okumala akabanga. Okwagala bakkiriza banne kwe baamulaga kwamuzzaamu nnyo amaanyi mu kiseera we yali ageetaagira. Mazima ddala, okwagala kwe tulina kwa maanyi nnyo okusinga obukyayi!

Abasirikale babiri abakyala batwala mwannyinaffe mu mmotoka nga bakkiriza banne bwe bamukubira mu ngalo.

Ne mu nsi omulimu gwaffe gye gwawerebwa oba gye gukugirwa, bakkiriza bannaffe balagaŋŋana okwagala (Laba akatundu 15)c


16. Lwaki omutume Peetero yagamba nti abo abayisibwa obubi olw’okuweereza Katonda balina ensonga ebaleetera okuba abasanyufu? (1 Peetero 4:14)

16 Tukimanyi nti bwe tugumira obukyayi kisanyusa Katonda. (Soma 1 Peetero 4:14.) Omutume Peetero yagamba nti waliwo ensonga ereetera abo abayisibwa obubi olw’okuweereza Katonda okuba abasanyufu. Nsonga ki eyo? Okuyisibwa mu ngeri ng’eyo, bukakafu obulaga nti tulina omwoyo gwa Katonda. Peetero yali amanyi kye kitegeeza okusiimibwa Katonda n’okugumira okuyigganyizibwa. Oluvannyuma lw’olunaku lwa Pentekooti mu mwaka 33 E.E., abasirikale Abayudaaya abaali bakuuma ku yeekaalu baasindikibwa okukwata Peetero n’abatume abalala olw’okubuulira. Naye Peetero yayoleka obuvumu n’alwanirira okukkiriza kwe. (Bik. 5:​24-29) Ye n’abatume abalala tebaalekera awo kubuulira wadde nga baali bakubiddwa nnyo. Baasanyuka nnyo kubanga “Katonda yali abawadde enkizo okuweebuulwa olw’erinnya lya Yesu.” Naffe tusobola okusanyuka nga twolekagana n’embeera enzibu.—Bik. 5:​40-42.

17. Kiki Yesu kye yagamba abatume be mu kiro ekyasembayo nga tannafa?

17 Mu kiro ekyasembayo nga Yesu tannattibwa yagamba abayigirizwa be nti: “Oyo anjagala Kitange ajja kumwagala, era nange nja kumwagala.” (Yok. 14:21) Twesunga nnyo ekiseera lwe tuliba nga tetukyayibwa olw’okuweereza Yakuwa! (2 Bas. 1:​6-8) Naye nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, ka bulijjo tweyongerenga okujjukira ensonga lwaki tusobola okusigala nga tuli basanyufu wadde nga tukyayibwa.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Lwaki abagoberezi ba Yesu bakyayibwa?

  • Mu ngeri ki okwagala kwe tulina gye kuli okw’amaanyi okusinga obukyayi?

  • Lwaki tusobola okusigala nga tuli basanyufu wadde nga tukyayibwa?

OLUYIMBA 149 Oluyimba olw’Obuwanguzi

a Amannya agamu gakyusiddwa.

b EKIFAAANANYI: Kiraga Ignacio ng’abuulira omusomesa we.

c EKIFAANANYI: Kiraga mwannyinaffe ng’atwalibwa okusibibwa olw’okukkiriza kwe era nga bakkiriza bannaffe abalala bakiraga nti bali ku ludda lwe.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza