LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w26 Maaki lup. 20-25
  • Yoleka Okutegeera Osobole ‘Okutuuka ku Buwanguzi’

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Yoleka Okutegeera Osobole ‘Okutuuka ku Buwanguzi’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • BEERA MWETOOWAZE, TOBA WA MALALA
  • SIGALA NG’OLI MUKKAKKAMU
  • WEESIGE YAKUWA BW’OBA NG’OTIDDE
  • WEEYONGERE OKUFUNA OKUTEGEERA
  • Omuwala Omuto Ayogera Ebikwata ku Katonda We
    Yoleka Obuvumu ng’Oweereza Katonda
  • Omulwanyi Omuzira n’Omuwala Omuto
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Omuwala Ayamba Omusajja ow’Amaanyi
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Yakuwa “Awonya Abamenyese Omutima”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
w26 Maaki lup. 20-25

MAAYI 25-31, 2026

OLUYIMBA 135 Yakuwa Akugamba: ‘Ba wa Magezi, Mwana Wange’

Yoleka Okutegeera Osobole ‘Okutuuka ku Buwanguzi’

“Omuntu ayoleka amagezi mu by’akola ajja kutuuka ku buwanguzi.”—NGE. 16:20.

EKIGENDERERWA

Tugenda kulaba engeri okutegeera gye kusobola okutuyamba okukola ekituufu mu mbeera enzibu.

1-2. Kitegeeza ki okuba n’okutegeera, era bwe tuba nakwo tuganyulwa tutya?

WALI owuliddeko nti toweereddwa kitiibwa kikugwanira? Wali oyisiddwako mu ngeri etali ya bwenkanya, oba omuntu n’akola ekintu ekikunyiiza? Oba wali weesanzeeko mu mbeera ekutiisa? Bwe kiba bwe kityo, oyinza okuba ng’okimanyi nti si kyangu kukola oba kwogera kintu kituufu mu mbeera ng’ezo. Bayibuli eyogera ku ngeri esobola okutuyamba nga twesanze mu mbeera ng’ezo n’endala nnyingi. Engeri eyo kwe kutegeera.

2 Bwe tuba n’okutegeera, tetujja kusalawo nga tusinziira ku ebyo bye tulaba byokka, naye tufuba okwekenneenya embeera tumanye ebizingirwamu. Okutegeera kutuyamba okumanya ensonga lwaki ekintu ekimu kibaddewo, era lwaki omuntu yeeyisizza mu ngeri emu oba endala. Ekyo kisobola okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Ng’ekyokulabirako, okutegeera kujja kutuyamba okumanya ddi lwe tusaanidde okwegendereza nga tuliko kye twogera, oba okumanya ddi lwe tusaanidde ‘okusirika.’ (Nge. 10:19; Zab. 4:4) Kusobola okutuyamba okwewala okusunguwala ennyo, n’okubuusa amaaso ensobi z’abalala. Ate era kusobola okutuyamba okukkiriza okubuulirirwa n’okukangavvulwa okuba kutuweereddwa. (Nge. 19:20) Bwe twoleka okutegeera, tetukoma ku kusanyusa Yakuwa kyokka, naye naffe tuganyulwa era ebyo bye twogera biganyula n’abalala. Singa twesanga mu mbeera enzibu eyinza okutuviirako okunyiiga amangu, tujja kusigala nga tuli bakkakkamu twewale okweyisa mu ngeri etali ya magezi. Ka twetegerezeeyo ebyokulabirako bisatu eby’abantu aboogerwako mu Bayibuli ebiraga engeri okutegeera gye kusobola okutuyamba okusigala nga tuli beetoowaze, nga tuli bakkakkamu, era nga twesiga Yakuwa.

BEERA MWETOOWAZE, TOBA WA MALALA

3. Naamani yali ani?

3 Okusobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi, tulina okwewala amalala. (1 Peet. 5:5) Okutegeera kusobola okutuyamba okusalawo obulungi. Mu ngeri ki? Lowooza ku musajja ayitibwa Naamani. Yali abeera mu Busuuli, eggwanga eriri mu bukiikakkono bwa Isirayiri. Naamani yali musajja wa kitiibwa nnyo; ye yali omuduumizi w’eggye lya Busuuli. Kyokka yali mulwadde wa bigenge.—2 Bassek. 5:1.

4. Naamani yayoleka atya amagezi?

4 Mukazi wa Naamani yalina omuwala omuto Omuyisirayiri eyali amuweereza. Lumu omuwala oyo yamugamba nti mu Isirayiri waaliyo nnabbi eyali asobola okuwonya omwami we obulwadde bwe yalina. (2 Bassek. 5:​2, 3) Oboolyawo Naamani yali asobola okugamba nti, ‘Omuwala ono omuto gwe twawamba ku balabe baffe alina ekintu eky’amakulu ky’ayinza okuŋŋamba?’ Naye Naamani yafumiitiriza ku ebyo omuwala oyo bye yayogera. Mu kifo ky’okwoleka amalala n’agaana okuwuliriza ebyo omuwala oyo bye yagamba, yayoleka obwetoowaze n’abikolerako. Yasaba olukusa okuva eri Kabaka wa Busuuli, agende mu Isirayiri asobole okuwonyezebwa.—2 Bassek. 5:​4, 5.

5. Kiki ekyaliwo Naamani bwe yatuuka mu Isirayiri?

5 Naamani yagenda eri Kabaka Yekolaamu owa Isirayiri, asobole okuwonyezebwa. Kyokka Yekolaamu yakitwala nti kabaka wa Busuuli amunoonyaako luyombo. Ekyo nnabbi Erisa bwe yakiwulira, yasaba Kabaka Yekolaamu asindike Naamani gy’ali. (2 Bassek. 5:​6-9) Naye Erisa teyakola ekyo Naamani kye yali asuubira. Erisa teyafuluma na mu nju ye okusisinkana Naamani wadde okwogera naye. Mu kifo ky’ekyo, Erisa yasindika omubaka agambe Naamani ekyo ky’alina okukola okusobola okuwonyezebwa.—2 Bassek. 5:10.

6. (a) Kiki ekiyinza okuba nga kye kyaleetera Naamani obutayagala kukolera ku ebyo omubaka Erisa gwe yamusindikira bye yamugamba? (b) Abaweereza ba Naamani baayoleka batya okutegeera, era biki ebyavaamu? (2 Bassekabaka 5:​13, 14)

6 Mu kusooka, Naamani teyasanyukira ebyo omubaka wa Erisa bye yamugamba. ‘Yasunguwala’ era “n’agenda nga musunguwavu nnyo.” (2 Bassek. 5:​11, 12) Lwaki? Oboolyawo yalowooza nti tebamuwadde kitiibwa kimugwanira ng’omuduumizi w’amagye ow’oku ntikko. Naamani ayinza n’okuba nga yalowooza nti ebyo Erisa bye yamugamba byali biraga nti tassa kitiibwa mu ggwanga lya Busuuli. Ka kibe ki Naamani kye yali alowooza, yasalawo okuddayo ewaabwe nga tawonyezeddwa. Kyokka, abaweereza be baayoleka okutegeera ne bamwegayirira akyuse mu ekyo kye yali asazeewo. Naamani yayoleka obwetoowaze n’akkiriza ekyo abaweereza be kye baali bamusaba. Yakolera ku ebyo Erisa bye yamulagira, n’awona!—Soma 2 Bassekabaka 5:​13, 14.

7. Kiki kye tuyigira ku Naamani? (Engero 22:4) (Laba n’ebifaananyi.)

7 Kiki kye tuyigira ku Naamani? Tukiraga nti tulina okutegeera nga tusooka kufumiitiriza ku mbeera nga tetunnasalawo. Ate era twoleka okutegeera nga tetusalawo nga tusinziira ku nneewulira yaffe. Okutegeera kusobola okutuyamba okuba abeetoowaze. Omuntu omwetoowaze aba akimanyi nti waliwo by’atamanyi. Ate era emirundi egimu tuba twetaaga obuyambi bw’abalala, naye okusingira ddala twetaaga obuyambi bwa Yakuwa. Wadde nga Naamani yali tannafuuka muweereza wa Yakuwa, yayoleka okutegeera, n’awuliriza amagezi agaamuweebwa abalala nga muno mwalimu omuwala omuto eyali omuweereza wa mukazi we, abaddu be, n’okusingira ddala Erisa, nnabbi wa Yakuwa. Naamani yalekera awo okuba ow’amalala. Ebintu ebyo byamuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi era n’awonyezebwa. N’olwekyo bwe tuba tetunnakola oba nga tetunnayogera kintu kyonna, tusaanidde okusooka ne tufumiitiriza. Ng’ekyokulabirako, singa omuntu akuwabula ng’akozesa Ebyawandiikibwa oba obulagirizi obuweebwa ekibiina kya Yakuwa naye n’otakkiriza kuwabula okwo, kirungi okusooka okufumiitiriza olabe obanga engeri gy’oneeyisaamu eneeraga obanga oli mwetoowaze, oba oli wa malala.—Soma Engero 22:4.

Ebifaananyi: Ow’oluganda ayoleka okutegeera ng’awuliriza bulungi abalala. 1. Awuliriza bulungi ng’ow’oluganda omuto amuwabula ng’akozesa brocuwa “Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza.” 2. Awuliriza bulungi nga mwannyinaffe akaddiye aliko by’amugamba ku nteekateeka y’okubuulira nga bakozesa akagaali. 3. Awuliriza bulungi ng’alaba programu ya JW Broadcasting ku tabbuleeti.

Nga Naamani bwe yayoleka obwetoowaze n’awuliriza abalala, naffe tusaanidde okuwuliriza obulungi nga waliwo atuwabula, nga waliwo atubuulira ekizibu, oba nga tufunye obulagirizi okuva eri ekibiina kya Yakuwa (Laba akatundu 7)


SIGALA NG’OLI MUKKAKKAMU

8. Ddi lwe tuyinza okukisanga nga kizibu okusigala nga tuli bakkakkamu?

8 Okutegeera kusobola okutuyamba okusigala nga tuli bakkakkamu ne tutakola bintu mu ngeri ya busungu singa wabaawo embeera eba etusoomoozezza. Kyo kituufu nti omuntu bw’ayogera oba n’akola ekintu ekitunyiiza, kiyinza okutuzibuwalira okusigala nga tuli bakkakkamu. (Bef. 4:26) Weetegereze engeri Dawudi ne Abbigayiri gye baayolekamu okutegeera mu mbeera etaali nnyangu.

9. Nabbali yayisa atya Dawudi?

9 Lowooza ku kino ekyaliwo: Dawudi n’abasajja be baali badduse Kabaka Sawulo era mu kiseera ekyo baali babeera mu ddungu ly’e Palani. (1 Sam. 25:1) Bwe baali mu ddungu eryo, baakuuma abasumba n’ebisibo by’omusajja omugagga eyali ayitibwa Nabbali. (1 Sam. 25:​15, 16) Ekiseera ky’okusala ebyoya by’endiga bwe kyatuuka, Dawudi yasindika abasajja be eri Nabbali bamusabe abawe ku mmere. (1 Sam. 25:​6-8) Naye Nabbali yakiraga nti yali tasiimye ebyo byonna Dawudi n’abasajja be bye baali bamukoledde. Nabbali yagaana ekyo abasajja abo kye baali bamusabye era yaddamu mu ngeri ey’obukambwe. Yayogera n’ebintu ebibi bingi ku Dawudi n’abasajja abo.—1 Sam. 25:​10, 11.

10. Dawudi ne Abbigayiri baayoleka batya okutegeera? (1 Samwiri 25:​32, 33) (Laba n’ekifaananyi.)

10 Singa ggwe wali Dawudi, wandiwulidde otya? Kyangu okutegeera ensonga lwaki Dawudi yasunguwala nnyo. Dawudi yali musajja ayoleka enneewulira era ku mulundi guno yasunguwala nnyo, n’asalawo nti agenda kutta Nabbali! (1 Sam. 25:​13, 21, 22) Dawudi n’abasajja be bwe baali mu kkubo nga bagenda okutta Nabbali, Abbigayiri, mukyala wa Nabbali era omukyala eyali ow’amagezi, yabasisinkana. Abbigayiri yayoleka atya okutegeera? Yali akimanyi nti Dawudi yali musajja mulungi wadde nga ku mulundi guno yali asunguwadde nnyo. N’olwekyo, Abbigayiri yakola kyonna ky’asobola okuyamba Dawudi okukkakkana, aleme kukola bintu olw’obusungu. Yamuleetera ekirabo era mu ngeri ey’obwetoowaze, n’amuwabula. (1 Sam. 25:​18, 23-31) Dawudi yakiraga nti alina okutegeera ng’awuliriza ebigambo Abbigayiri bye yamugamba kubanga yakiraba nti ebigambo ebyo byali byoleka endowooza Yakuwa gy’alina ku nsonga eyo. N’ekyavaamu, Dawudi yakkakkana, bw’atyo ne yeewala okukola ensobi ey’amaanyi.—Soma 1 Samwiri 25:​32, 33.

Dawudi awuliriza bulungi nga Abbigayiri afukamidde ku maviivi ge amwegayirira. Abasajja ba Dawudi babatunuulidde. Abaweereza ba Abbigayiri bamuli mabega era basitudde ebirabo bingi.

Olw’okuba Dawudi ne Abbigayiri baayoleka okutegeera, Dawudi yawona okukola ekintu eky’obulabe (Laba akatundu 10)


11. Okutegeera kunaatuyamba kutya bwe wabaawo ekitunyiizizza? (Engero 19:11)

11 Kiki kye tuyigira ku Dawudi ne Abbigayiri? Ne bwe kiba nti tulina ensonga entuufu kwe tusinziira okusunguwala, okwoleka okutegeera kijja kutuyamba okweyisa mu ngeri ey’amagezi tuleetewo emirembe. Okutegeera era kujja kutuyamba okulowooza ku ebyo ebiyinza okuvaamu singa twogera oba ne tukola ebintu olw’obusungu. (Soma Engero 19:11.) Abbigayiri bwe yayamba Dawudi okutegeera endowooza Yakuwa gye yalina, Dawudi yasobola okukkakkana ne yeewala okukola ebintu olw’obusungu. Bwe wabaawo ekikunyiizizza, weewale okukola ebintu nga tosoose kulowooza. (Yak. 1:19) Saba Yakuwa era fumiitiriza ku ndowooza Yakuwa gy’alina ku nsonga eyo. Oboolyawo ekyo kijja kukuyamba okukkakkana.

12. Abalala bayinza batya okutuyamba okusigala nga tuli bakkakkamu ne tusalawo bulungi?

12 Nga Yakuwa bwe yakozesa Abbigayiri okuyamba Dawudi okusigala nga mukkakkamu n’okutegeera endowooza Yakuwa gy’alina, ne leero asobola okukozesa bakkiriza bannaffe okutuyamba okusalawo obulungi nga waliwo ekitunyiizizza. N’olwekyo bwe wabaawo ekikunyiizizza, yogerako n’Omukristaayo omukulu mu by’omwoyo akuyambe okulaba ebintu nga Yakuwa bw’abiraba, kikusobozese okusalawo obulungi. (Nge. 12:15; 20:18) Ate era osobola okukoppa Abbigayiri singa weesanga mu mbeera ng’olina okuyamba mukwano gwo alina ekimunyiizizza. Yamba mukwano gwo okutunuulira ebintu nga Yakuwa bw’abitunuulira, kimuyambe okusalawo obulungi. Yakuwa ajja kuwa omukisa okufuba kwo ng’oyamba abalala okwoleka okutegeera n’okusigala nga bakkakkamu.

WEESIGE YAKUWA BW’OBA NG’OTIDDE

13. Bwe tuba nga tutidde, okutegeera kutuyamba kutya?

13 Ebiseera ebimu tuyinza okwesanga mu mbeera enzibu era ne tuwulira nga tutidde. Okutegeera kusobola okutuyamba okukiraba nti Yakuwa wa maanyi nnyo era nti bwe tumwesiga ajja kutuyamba mu mbeera yonna k’ebe nzibu etya. (Zab. 27:1) Yakuwa asobola okutuyamba mu mbeera yonna, ne bwe tuba nga tuwulira nti etusukkiriddeko. Ebyo bye tusoma ku nnabbi Yona bituyamba bulungi okutegeera ensonga eno. Yali musajja ayagala ennyo Yakuwa, naye yatya Yakuwa bwe yamuwa obuvunaanyizibwa obwalabika ng’obuzibu.

14. Kiki ekiyinza okuba nga kye kyaleetera Yona okutya okutuukiriza obuvunaanyizibwa Yakuwa bwe yali amuwadde?

14 Yakuwa yawa Yonna obuvunaanyizibwa obutaali bwangu. Yamugamba agende e Nineeve alangirire obubaka obw’omusango eri abantu abaali mu kibuga ekyo. (Yon. 1:​1, 2) Wandiwulidde otya nga Yakuwa akuwadde obuvunaanyizibwa ng’obwo? Okuva mu Isirayiri okutuuka mu kibuga Nineeve ekya Bwasuli, waaliwo olugendo luwanvu, era Yona yali asobola okulutambulira omwezi nga gumu. Abaasuli Yona be yalina okubuulira baali bantu bakambwe nnyo. Ate era Nineeve kyali kimanyiddwa ‘ng’ekibuga ekiyiwa omusaayi.’ (Nak. 3:​1, 7) Mu kifo ky’okukkiriza obuvunaanyizibwa obwali bumuweereddwa, Yona yasalawo okudduka agende mu kifo ekirala.—Yon. 1:3.

15. Kiki ekyayamba Yona okweyongera okwesiga Yakuwa? (Yona 2:​6-9)

15 Yona bwe yali adduka obuvunaanyizibwa Yakuwa bwe yali amuwadde, Yakuwa yamulaga nti alina amaanyi mangi ng’amuwonya mu ngeri ey’ekyamagero. (Yon. 1:​15, 17) Ekyo Yona kirina kye kyamuyigiriza. Yakitegeera nti yali talina kutya kugenda kubuulira bantu b’omu Nineeve, kubanga Yakuwa yandimukuumye mu mbeera yonna. (Soma Yona 2:​6-9.) Yakuwa bwe yaddamu okumutuma okugenda e Nineeve, Yona teyalonzalonza kugenda. Yagenda e Nineeve n’abuulira abantu obubaka obw’omusango. Abantu baamuwuliriza era ne bawona okuzikirizibwa.—Yon. 3:5.

16. Okutegeera kuyinza kutya okutuyamba nga tutidde? (Engero 29:25) (Laba n’ebifaananyi.)

16 Kiki kye tuyigira ku Yona? Tetusaanidde kukkiriza kintu kyonna, naddala okutya abantu, okutuleetera okulekera awo okuweereza Yakuwa. (Soma Engero 29:25.) Okutegeera kwayamba Yona okumalira ebirowoozo bye ku ngeri Yakuwa gye yandimuyambyemu, mu kifo ky’okubimalira ku bizibu bye yandifunye ng’atuukiriza obuvunaanyizibwa Yakuwa bwe yali amuwadde. Naffe bwe tuba n’ebitutiisa, tusaanidde okumalira ebirowoozo byaffe ku ngeri Yakuwa gye yatuyambamu oba gye yatukuumamu mu biseera ebyayita, mu kifo ky’okubimalira ku kintu ekitutiisa. Ate era tusobola okufumiitiriza ku byokulabirako bya bakkiriza bannaffe abaasobola okwaŋŋanga embeera ezaali zibatiisa oba abaatuukiriza obuvunaanyizibwa obwali bulabika ng’obuzibu olw’okwesiga Yakuwa.a (Beb. 13:6) Ka tweyongere okwoleka okutegeera nga twesiga Yakuwa era nga tuyamba n’abalala okumwesiga.

Ebifaananyi: 1. Nnabbi Yona ng’ayolekera omulyango gw’ekibuga Nineeve. 2. Ow’oluganda omuvubuka ayita mu lukuubo lw’essomero era lulimu abaana abeenyigira mu bintu Yakuwa by’atayagala. Bbendera ezirina langi za musoke zitimbiddwa mu lukuubo. Waliwo omuvubuka gwe bayiikiriza.

Bye tusoma ku Yona bituyamba okulaba nti okutegeera kusobola okutuyamba okukkiriza obulagirizi obuva eri Katonda, ekyo ne kitusobozesa okusalawo obulungi nga tuli mu mbeera enzibu (Laba akatundu 16)


WEEYONGERE OKUFUNA OKUTEGEERA

17. Tuyinza tutya okweyongera okufuna okutegeera?

17 Nga bwe tulabye mu kitundu kino, okutegeera kusobola okutuyamba okusalawo obulungi bwe twesanga mu mbeera enzibu. Tuyinza tutya okweyongera okufuna okutegeera? Yakuwa ye Nsibuko y’okutegeera era akozesa Ekigambo kye n’omwoyo gwe omutukuvu, okuyamba abaweereza be okufuna okutegeera. (Nek. 9:20; Zab. 32:8) Atuwa obulagirizi bwe twetaaga okusobola okusalawo obulungi, n’okwewala okusalawo nga tusinziira ku ngeri gye tuba twewuliramu. (Zab. 119:​97-101) Okufumiitiriza ku ebyo bye tusoma mu Bayibuli, n’okusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu, kituyamba okweyongera okufuna okutegeera. Ate era kituyamba okulaba ebintu nga Yakuwa bw’abiraba kitusobozese okusalawo obulungi.—Nge. 21:​11, obugambo obuli wansi.

18. Kiki ky’omaliridde okukola?

18 Ka tweyongere okunoonya okutegeera okuva eri Yakuwa era tukutwale nga kwa muwendo. (Zab. 14:2) Bwe tunaakola bwe tutyo, tetujja kuwaba “okuva mu kkubo ery’amagezi.” (Nge. 21:16) Mu kifo ky’ekyo, tujja kuba bamalirivu okwoleka okutegeera ekiseera kyonna, mu buli mbeera. N’ekinavaamu, tujja “kutuuka ku buwanguzi.”

BWE KITUUKA KU KWOLEKA OKUTEGEERA, TUYINZA TUTYA OKUKOPPA . . .

  • Naamani?

  • Dawudi ne Abbigayiri?

  • Yona?

OLUYIMBA 42 Okusaba kw’Omuweereza wa Katonda

a Ng’ekyokulabirako, soma ebyo ebikwata ku Georgiy Porchulyan mu kitundu, “Life Stories of Jehovah’s Witnesses” mu JW Library® oba ku jw.org.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza