LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w26 Maaki lup. 32
  • Beera Muvumu era Mwesigwa nga Benaya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Beera Muvumu era Mwesigwa nga Benaya
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
  • Laba Ebirala
  • Koppa Abaweereza ba Yakuwa Abaali Abeesigwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Vidiyo Erimu Obubaka Obuganyula
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • ‘Njigiriza Okukola by’Oyagala’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Beera Muvumu nga Zadooki
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
w26 Maaki lup. 32

OMUNTU AYOGERWAKO MU BAYIBULI

Beera Muvumu era Mwesigwa nga Benaya

Benaya yali mulwanyi muzira eyaweererezanga mu magye mu kiseera kya Kabaka Dawudi ne Kabaka Sulemaani. Wadde nga Benaya yali mwana wa kabona, era nga bakabona n’Abaleevi baabanga tebalina kulwana oba okukozesa eby’okulwanyisa, ye Benaya yalwananga entalo za Yakuwa era yali muvumu. Ng’ekyokulabirako, yakka mu kinnya ky’empologoma n’agitta, ate ku mulundi omulala yatta omusajja omuwagguufu. Dawudi yali yeesiga nnyo Benaya era yamulonda okuba omukulu w’abakuumi be.—2 Sam. 23:​20-23.

Benaya yasigala mwesigwa eri Dawudi ne mu kiseera nga Abusaalomu ne Adoniya beewaggudde. (2 Sam. 8:18; 15:18; 1 Bassek. 1:8) Ate era Dawudi bwe yali akaddiye, Benaya yayambako mu kufuula Sulemaani kabaka. (1 Bassek. 1:​32-40) Awatali kubuusabuusa Benaya yali mwesigwa eri Yakuwa, n’eri bakabaka Yakuwa be yafukako amafuta, wadde ng’abantu abalala tebaali beesigwa.

Naffe twetaaga okuba abavumu okulwanyisa omulabe waffe asingayo, Sitaani, n’abo abamuwagira. Ate era tusaanidde okuba abamalirivu okweyongera okukolera ku mitindo gya Bayibuli. (Bef. 6:11; 1 Peet. 5:​8, 9) Abantu abamu ne bwe basalawo okuva ku Yakuwa, ffe tusigala tuli beesigwa gy’ali nga tuli bakakafu nti ajja kutuwa emikisa.—2 Sam. 22:26.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza