Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Ddi amawanga lwe ganaalangirira ‘emirembe n’obutebenkevu’?
Nga bwe twalaba mu kitundu “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” ekyali mu gumu ku Omunaala gw’Omukuumia egyakafulumizibwa, Yakuwa anaatera okuteeka “ekirowoozo kye,” mu mitima ‘gy’amayembe ekkumi’ (gavumenti zonna eziri ku nsi) agaleetere okuwa amaanyi gaago n’obuyinza bwago eri ‘ensolo emmyufu,’ nga kye Kibiina ky’Amawanga Amagatte. Ensolo eno era eyitibwa “ekifaananyi ky’ensolo.” (Kub. 13:14, 15; 17:3, 16, 17) Oluvannyuma “amayembe ekkumi” n’ensolo enaaba yaakaweebwa amaanyi, bijja kuggyawo amadiini gonna ag’obulimba mu nsi yonna. Okulangirira ‘emirembe n’obutebenkevu’b amawanga ganaakikola Yakuwa tannaba kuzikiriza madiini ag’obulimba oba ng’amaze okugazikiriza?—1 Bas. 5:3.
Tetumanyidde ddala kiseera kyennyini amawanga lwe gagenda okulangirira ‘emirembe n’obutebenkevu.’ Singa twali tumanyi kalonda yenna akwata ku kiseera ekyo, twandibadde tetwetaaga kusigala nga tuli bulindaala. Kyokka, enfunda n’enfunda Yesu yakubiriza abagoberezi be okusigala nga bali “bulindaala.” (Mat. 24:42; 25:13; 26:41) Kati ka twetegereze obunnabbi omutume Pawulo bwe yaluŋŋamizibwa okuwandiika mu bbaluwa gye yawandiikira Abassessalonika.
Pawulo yawandiika nti: “Bwe baliba bagamba nti, “Mirembe n’obutebenkevu!” olwo okuzikiriza okw’amangu ne kulyoka kubajjira.” (1 Bas. 5:2, 3) Ebitabo byaffe bizzenga binnyonnyola bwe biti ebigambo bya Pawulo ebyo: Okulangirira ‘emirembe n’obutebenkevu’ kujja kubaawo ng’ebulayo akaseera katono ekibonyoobonyo ekinene kitandike, era ng’ekibonyoobonyo ekyo kijja kutandika n’okuzikirizibwa kwa Babulooni Ekinene, nga gano ge madiini gonna ag’obulimba. Ate era tubaddenga tugamba nti okulangirira emirembe n’obutebenkevu ke kabonero akasembayo akanaalaga nti ekibonyoobonyo ekinene kinaatera okutandika.
Kyokka oluvannyuma lw’okunoonyereza n’obwegendereza, tukirabye nti kirabika waliwo engeri endala gye tusobola okutegeeramu ebigambo ebyo. Kisoboka okuba nti okulangirira ‘emirembe n’obutebenkevu’ kujja kubaawo oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kw’amadiini ag’obulimba. Lwaki tugamba bwe tutyo? Lowooza ku nsonga zino wammanga:
Amadiini ag’obulimba geenyigidde gatya mu ntalo eziriwo ku nsi? Bayibuli egamba nti: “Mu kyo [Babulooni Ekinene, oba “malaaya omukulu”] mwasangibwamu omusaayi . . . ogw’abo bonna abattibwa ku nsi.” (Kub. 17:1, 5; 18:24) Ebyafaayo biraga nti amadiini ag’obulimba gazze gawagira entalo n’ebikolwa eby’obutujju, era gaviiriddeko abantu bukadde na bukadde okuttibwa. N’olwekyo mu kifo ky’okuleetawo emirembe n’obutebenkevu, amadiini ag’obulimba gaviiriddeko entalo n’ebikolwa eby’obukambwe. Ekyo kituleetera okwebuuza ekibuuzo kino: Kyandiba nti amawanga gajja kulangirira ‘emirembe n’obutebenkevu’ nga gasoose kuzikiriza Babulooni Ekinene? Kisoboka okuba bwe kityo, naye tetulina bukakafu.
Kiki ekinaabaawo oluvannyuma lw’okulangirira ‘emirembe n’obutebenkevu’? Pawulo yagamba nti: “Olwo okuzikiriza okw’amangu ne kulyoka kubajjira.” (1 Bas. 5:3) Bwe kiba nti amawanga gajja kulangirira emirembe n’obutebenkevu ng’amadiini ag’obulimba tegannaba kuzikirizibwa, kiba kitegeeza nti wajja kwetaaga ekiseera okuyitawo amadiini ag’obulimba gazikirizibwe oluvannyuma amawanga nago gazikirizibwe. Naye olw’okuba Pawulo yagamba nti okuzikirizibwa kw’amawanga kujja kujja mangu, kisoboka okuba nti amawanga gajja kulangirira ‘emirembe n’obutebenkevu’ nga gasoose kuzikiriza madiini ag’obulimba.
Abantu ba Yakuwa banaakwatibwako batya ng’ebintu ebyo bituukiridde? Pawulo yagamba nti: “Ab’oluganda, temuli mu kizikiza ne kiba nti olunaku olwo lulibagwako bugwi ng’obudde bwe bukya ng’ababbi tebamanyi.” (1 Bas. 5:4) Kirowoozeeko: Okulangirira ‘emirembe n’obutebenkevu’ bwe kuba nga kugenda kubaawo oluvannyuma lw’okuzikiriza amadiini ag’obulimba, awo abantu ba Yakuwa bajja kukitegeera nti n’okuzikirizibwa kw’amawanga kujja kuba kusembedde. Kyokka go amawanga aganaaba galangiridde emirembe n’obutebenkevu, gajja kuba gawulira nti galina emirembe era nga tegasuubira kintu kyonna kugazikiriza. Amawanga ago gajja kuzikirizibwa mu bwangu nga tegakisuubira.
Kati olwo, kiki kye tuba tusuubira? Mu kiseera ekitali kya wala, “amayembe ekkumi” n’ensolo enaaba eweereddwa obuyinza bijja kuzikiriza amadiini ag’obulimba. Eyo y’ejja okuba entandikwa y’ekibonyoobonyo ekinene. Ate era tukimanyi nti wajja kubaawo ekiseera, amawanga galangirire ‘emirembe n’obutebenkevu.’ Ekyo kinaabaawo ddi? Twogedde ku bintu bibiri ebiyinza okubaawo. Ekisooka: Okulangirira emirembe kuyinza okubaawo ng’amadiini ag’obulimba tegannaba kuzikirizibwa. Ekyokubiri: Okulangirira ‘emirembe n’obutebenkevu’ kuyinza kubaawo oluvannyuma lw’amawanga okuzikiririza ddala amadiini ag’obulimba. Kyokka tulina okulindirira tulabe ekinaabaawo. Emirundi mingi obunnabbi obuli mu Bayibuli butegeerwa bulungi mu kiseera nga butuukirizibwa oba nga bumaze okutuukirizibwa.—Geraageranya Yokaana 12:16.
Naye ekisinga obukulu gye tuli kwe kusigala nga tuli beesigwa eri Katonda, mu kifo ky’okumalira ebirowoozo byaffe ku ddi amawanga lwe ganaalangirira ‘emirembe n’obutebenkevu.’ Tusaanidde okusigala “nga tutunula era nga tutegeera bulungi,” kitusobozese okweteekerateekera ebyo byonna ebiyinza okubaawo mu biseera eby’omu maaso.—1 Bas. 5:6.
a Laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Noovemba 2025.
b Ebigambo omutume Pawulo by’akozesa biraga nti okulangirira emirembe n’obutebenkevu kisoboka okubaawo emirundi egisukka mu gumu.