“Abaana Busika Okuva eri Yakuwa”
KIKI ekikujjira mu birowoozo bw’owulira ekigambo “obusika”? Oyinza okulowooza ku ssente, ettaka, oba ekintu ekirala eky’omuwendo ekyakuweebwa omu ku b’eŋŋanda zo. N’olwekyo, eky’obusika kiba kintu kya muwendo era oba oyagala okukikuuma n’okukirabirira obulungi.
Bayibuli egamba nti abaana “busika okuva eri Yakuwa.” (Zab. 127:3) N’olwekyo, abazadde Abakristaayo batwala abaana baabwe ng’ebirabo eby’omuwendo okuva eri Kitaabwe ow’omu ggulu, era baagala okukola kyonna kye basobola okubakuuma, okubalabirira mu by’omubiri, mu by’omwoyo, n’okufaayo ku nneewulira yaabwe.
Eky’ennaku, leero abazadde abamu tebatwala baana baabwe ng’ebirabo okuva eri Katonda. (Is. 49:15; 2 Tim. 3:1-3) Ate abalala bayinza okuba nga baagala okulabirira abaana baabwe, naye ne bazibuwalirwa olw’ebisoomooza ebitali bimu. Ebimu ku bintu ebisoomooza ebikifuula ekizibu eri abazadde okulabirira abaana baabwe bye biruwa? Kiki Yakuwa ky’asuubira abazadde okukolera abaana baabwe? Era biki ebisobola okuyamba abazadde Abakristaayo okukuza obulungi abaana baabwe?
EBISOOMOOZA
Okupikirizibwa abantu b’omu kitundu oba ab’eŋŋanda. Mu nsi ezimu, abazadde abalina abaana abangi bassibwamu nnyo ekitiibwa mu bitundu gye babeera. N’olwekyo, abafumbo bayinza okuwulira nti balina okuzaala abaana bangi, oboolyawo abasukka ne ku abo be basobola okulabirira olw’okuba ekyo abantu b’omu kitundu oba ab’eŋŋanda zaabwe kye babasuubiramu.
Okweraliikirira ebiseera eby’omu maaso. Mu nsi ezimu abaana gye bafa ennyo olw’endya embi, endwadde, oba olw’obutaba na malwaliro gamala, abafumbo abamu basalawo okuba n’abaana bangi nga basuubira nti abamu ne bwe bafa abalala bajja kukula. Ate abafumbo abamu basalawo okuzaala abaana bangi nga bakitwala nti bwe baliba bakaddiye abaana baabwe bajja kubalabirira. Kino kitera okubaawo mu nsi ezimu gavumenti gye zitalabirira bannamukadde.
Enkola z’ekizaala ggumba. Mu bitundu ebimu kiba kizibu okufuna eddagala erisobola okuyamba abafumbo abamu okuziyiza okufuna olubuto. Ate mu bitundu ebirala, eddagala eriyamba abafumbo okuziyiza okufuna olubuto lya mutindo gwa wansi. N’olwekyo, abafumbo abamu batya okulikozesa kubanga liyinza okutuusa obulabe ku mibiri gyabwe. Kyokka mu bitundu ebirala, eddagala ng’eryo lya bbeeyi nnyo ne kiba nti abafumbo abamu tebasobola kuligula.a
KIKI YAKUWA KY’ASUUBIRA ABAZADDE OKUKOLERA ABAANA BAABWE?
Funayo akadde obeereko na buli omu ku baana bo
Okukola ku byetaago by’abaana baabwe. Yakuwa awadde abazadde obuvunaanyizibwa okukola ku byetaago eby’omubiri eby’abaana baabwe abakyali abato. Asuubira abazadde okuba abakozi abanyiikivu basobole okufunira buli mwana waabwe emmere, eby’okwambala, n’aw’okusula. Yakuwa era asuubira abazadde okusomesa abaana baabwe. N’olwekyo, mu kifo ky’abazadde Abakristaayo okutwala abaana baabwe mu masomero g’ebisulo, bakakasa nti babeera nabo okutuusa lwe bakula, kibasobozese okuyigiriza abaana baabwe ebintu ebijja okubayamba mu bulamu, okufuna obudde okubeerako nabo, era ekyo kireetera abaana okuwulira nti baagalibwa era nti balina obukuumi. Yakuwa akimanyi nti abazadde okusobola okukola ebintu ebyo tekibeetaagisa kuba bagagga. Mu butuufu, Yakuwa bwe yali alonda abazadde abanaakuza omwana we teyalonda abo abaalina ssente ennyingi, wabula yalonda abo abaali abakozi abanyiikivu era abaali basobola okumulabirira.—Mat. 13:55, 56; Luk. 2:24.
Omusingi oguli mu Bayibuli: “Mazima ddala, singa omuntu yenna talabirira babe, naddala ab’omu maka ge, aba yeegaanye okukkiriza era aba mubi n’okusinga omuntu atalina kukkiriza.”—1 Tim. 5:8.
Yakuwa akimanyi nti abazadde bayinza okwetaaga obuyambi bwe bagenda bakula. Mu butuufu, emu ku ngeri abaana gye basobola okukiraga nti bassaamu bazadde baabwe ekitiibwa kwe kubaako ebintu bye bakola okubayambako nga bakaddiye. (Kuv. 20:12; 1 Tim. 5:4) Wadde kiri kityo, Yakuwa asanyuka nnyo bw’akiraba nti okusingira ddala abazadde bafaayo ku ngeri gye banaalabiriramu abaana baabwe, mu kifo ky’okussa ebirowoozo ku ngeri abaana abo gye banaabalabiriramu nga bakaddiye.—2 Kol. 12:14.
Kola ku byetaago byabwe eby’eby’omwoyo. Abazadde Abakristaayo era balina obuvunaanyizibwa obw’okuyamba abaana baabwe okwagala Yakuwa n’okumusinza. Eri Yakuwa obwo bwe buvunaanyizibwa obusinga obukulu bw’awadde abazadde.—Ma. 6:6, 7.
Omusingi oguli mu Bayibuli: “Mubakulize [abaana bammwe] mu kukangavvula ne mu kubuulirira kwa Yakuwa.”—Bef. 6:4.
YAKUWA AYAGALA OKUZE BULUNGI ABAANA BO
Musaleewo nga bukyali baana bameka be munaazaala
Weeteeketeeke bulungi. Bw’oba oyagala okuzaala abaana, fumiitiriza nnyo ku mbeera yo. Ng’ekyokulabirako, bw’osalawo okuzaala abaana abawerako kiba kirungi okwebuuza obanga olina ssente ezimala okubaliisa, okubambaza, n’okubatwala ku ssomero. Bwe kiba nga kijja kubabeerera kizibu, yogera ne munno mu bufumbo mulabe obanga musobola okukendeeza ku muwendo gw’abaana be munaazaala, kibasobozese okubalabirira obulungi nga Yakuwa bw’ayagala. Kya lwatu, Yakuwa akimanyi nti ebintu ebimu bisobola obutatambula nga bwe tuba tubiteeseteese. (Mub. 9:11) Naye bwe mufuba okukola kyonna kye musobola okukuza obulungi abaana bammwe, Yakuwa ajja kubawa emikisa.
Emisingi egiri mu Bayibuli: “Enteekateeka z’abanyiikivu zivaamu ebirungi, naye abo bonna abapapa bajja kwavuwala.”—Nge. 21:5.
“Ani ku mmwe ayagala okuzimba omunaala atasooka kutuula wansi n’abalirira ebyetaagisa okulaba obanga alina ebimala okugumaliriza?”—Luk. 14:28.
Mukulembeze ebintu eby’omwoyo mu maka gammwe. Mukakase nti okusinza Yakuwa kye kintu ekisinga obukulu mu maka gammwe. Bw’oba ng’olina abaana, beera mumalirivu okuyamba buli omu ku bo okuweereza Yakuwa. Bayambe okussaayo omwoyo n’okubaako bye bayiga nga bali mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Kakasa nti muba n’Okusinza kw’Amaka buli wiiki. Tendeka abaana bo okubuulira. Kijjukire nti gwe avunaanyizibwa okutendeka abaana bo, era obuvunaanyizibwa obwo tosaanidde kubulekera baana bo abakulu oba ab’eŋŋanda zo abalala. Okuyamba abaana bo okwagala Yakuwa kyetaagisa ebiseera n’okufuba, naye ojja kusanyuka nnyo bw’onoolaba ng’abaana bo baweereza Yakuwa.
Omusingi oguli mu Bayibuli:“Tewali kisinga kunsanyusa ng’okuwulira nti abaana bange batambulira mu mazima.”—3 Yok. 4.b
Weesige Yakuwa. Ka kibe nti mu kiseera kino olina abaana oba ng’olowooza ku ky’okubafuna, ba mukakafu nti ekyo Yakuwa ky’akusuubiramu okukola ng’omuzadde kikulu nnyo okusinga obuwangwa bwo oba empisa y’abantu b’omu kitundu gy’obeera.
Okuyamba abaana bo okwagala Yakuwa n’okumuweereza kyetaagisa ebiseera n’okufuba
Bw’osalawo okuzaala abaana abatono, weesige Yakuwa nti ajja kukulabirira ng’okaddiye. Weewale okukitwala nti abaana bo bateekeddwa okukulabirira ng’okaddiye. Tosaanidde kweraliikirira nti tewajja kubaawo muntu akulabirira. Yakuwa asuubiza okukulabirira, era bulijjo atuukiriza ebisuubizo bye.—Yos. 23:14.
Emisingi egiri mu Bayibuli: “Weesigenga Yakuwa n’omutima gwo gwonna, era teweesigamanga ku kutegeera kwo. Mulowoozengako mu byonna by’okola, anaatereezanga amakubo go.”—Nge. 3:5, 6.
“Nnali muto, naye kati nkaddiye, kyokka sirabangako mutuukirivu ayabuliddwa, wadde abaana be nga basabiriza emmere.”—Zab. 37:25.
“Kale musooke munoonyenga Obwakabaka n’obutuukirivu bwe, era ebyo ebirala byonna biribongerwako.”—Mat. 6:33.
Abaana birabo bya muwendo Yakuwa by’awadde abazadde. Kiteekwa okuba nga kisanyusa nnyo Yakuwa bw’alaba abazadde Abakristaayo nga basiima ebirabo ebyo! Abazadde bakola ku byetaago by’abaana baabwe eby’omubiri, eby’omwoyo, bafaayo ku nneewulira yaabwe. Ate era basalawo baana bameka be banaazaala, era ekyo Yakuwa ky’abeetaagisa okukuza obulungi abaana baabwe bakitwala nga kikulu okusinga obuwangwa bwabwe oba embeera z’omu kitundu gye babeera. Bwe bakola bwe batyo abazadde Abakristaayo baba bakitwala nti abaana baabwe birabo eby’omuwendo, kwe kugamba, ‘obusika okuva eri Yakuwa.’
a Omwami n’omukyala be balina okwesalirawo obanga banaakozesa enkola ey’ekizaala ggumba oba nedda. Be basalawo baana bameka be banaazaala, ddi lwe banaabazaala, era oba banaakozesa enkola yonna ey’ekizaala ggumba kasita kiba nti teggyaamu lubuto. Tewali asaanidde kubasalira musango olw’ekyo kye baba basazeewo. (Bar. 14:4, 10-13) Ate era, omwami n’omukyala tebasaanidde kwerabira kubuulirira okuli mu 1 Abakkolinso 7:3-5.
b Wadde ng’abaana aboogerwako mu kyawandiikibwa ekyo bakiikirira abantu Yokaana be yayamba okuyiga amazima, abazadde Abakristaayo nabo bawulira nga Yokaana bwe bayamba abaana baabwe okuweereza Yakuwa.