OMUNTU AYOGERWAKO MU BAYIBULI
Okufaananako Obadiya Yiga Okutya Katonda
Obadiya yali muwanika wa Kabaka Akabu, omufuzi eyali omubi era eyatumbula okusinza Baali mu Isirayiri. Kyokka Obadiya yayiga okutya Yakuwa “okuviira ddala mu buto bwe.” (1 Bassek. 18:1-13) N’olwekyo Nnaabakyala Yezebeeri bwe yalagira nti bannabbi ba Yakuwa bonna battibwe, Obadiya yali akimanyi nti yali alina okwoleka obuvumu abeeko ky’akolawo okubayamba. Okukweka wadde omu ku bannabbi abo kyali kya bulabe nnyo; naye Obadiya yakweka bannabbi 100 era n’abawanga emmere mu kiseera ekyo eky’enjala! Kiteekwa okuba nga tekyali kyangu Obadiya okuyamba abantu abo nga tewali amutegedde kubanga waaliwo bannabbi ab’obulimba bikumi na bikumi.—1 Bassek. 18:19.
Kiki kye tuyigira ku musajja oyo eyali atya Katonda? Wadde nga Obadiya yali atya Akabu, yali asinga kutya Katonda. Ekyo kyamusobozesa okuba omuvumu n’ateeka obulamu bwe mu kabi okusobola okukuuma baganda be. Singa okusinza okw’amazima kuwerebwa mu kitundu gye tubeera, naffe tusaanidde okuba abantu abatya Katonda. Okutya Katonda kujja kutukubiriza okuyamba baganda baffe ne bannyinaffe nga balina ebizibu.