LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w26 Febwali lup. 20-25
  • Weetegekedde Okusoomooza kw’Oyinza Okufuna Oluvannyuma lw’Okubatizibwa?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Weetegekedde Okusoomooza kw’Oyinza Okufuna Oluvannyuma lw’Okubatizibwa?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • MUKKIRIZA MUNNO BW’AKOLA EKINTU EKIKUNYIIZA
  • BW’OTANDIKA OKULOWOOZA KU BINTU BYE WALEKA EMABEGA
  • ABALALA BWE BAVA KU YAKUWA
  • Yakuwa “Awonya Abamenyese Omutima”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Beera Mwetoowaze Bwe Wabaawo Ebintu by’Otategeera
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Kijjukirenga nti Yakuwa “Ye Katonda Omulamu”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Okuba n’Enkolagana Ennungi ne Bakkiriza Bannaffe Kituganyula!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
w26 Febwali lup. 20-25

APULI 27–MAAYI 3, 2026

OLUYIMBA 99 Ab’Oluganda Bukadde na Bukadde

Weetegekedde Okusoomooza kw’Oyinza Okufuna Oluvannyuma lw’Okubatizibwa?

“Ka ntambulire mu makubo go.”—ZAB. 17:5.

EKIGENDERERWA

Tugenda kulaba ebyo Abakristaayo abaakabatizibwa bye basobola okukola okweteekerateekera okusoomooza kwe bayinza okufuna.

1-2. Tuyinza tutya okweteekerateekera okusoomooza kwe tuyinza okufuna nga tuweereza Yakuwa? Waayo ekyokulabirako.

TUKIMANYI nti olw’okuba tuli mu nsi ya Sitaani tujja kuba n’ebitusoomooza. Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Ebyesittaza bijja kubaawo.” (Mat. 18:7) Nga tulowooza ku bigambo bya Yesu ebyo, twetaaga okweteekerateekera ebintu ebiyinza okutusoomooza nga mu bino muyinza n’okubaamu okufuna obutakkaanya oba ebizibu ebitali bimu ne bakkiriza bannaffe.

2 Lowooza ku kyokulabirako kino. Abantu ba Yakuwa bulijjo bakubirizibwa okweteekerateekera obutyabaga. Ekyo tukikola tutya? Tusooka ne tumanya butyabaga ki obuyinza okugwa mu kitundu gye tubeera. Ekyo kikulu nnyo naddala bwe tuba nga twakasenga mu kitundu ekipya. Bwe tumala okumanya obutyabaga obuyinza okugwawo, tusaanidde okweteekerateekera buli kamu ku bwo. (Nge. 21:5) Mu ngeri y’emu, kirungi okumanya ebintu ebiyinza okukusoomooza oluvannyuma lw’okubatizibwa. Ekyo kijja kukuyamba okumanya ky’osaanidde okukola okubyeteekerateekera. Bw’onookola bw’otyo, ojja kuba osobola okugumira ebintu ebyo era kikuyambe okusigala ng’olina enkolagana ennungi ne Yakuwa. (Zab. 17:5) Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu ebisoomooza bya mirundi esatu, n’engeri gye tuyinza okweteekerateekera buli kimu ku byo.a

MUKKIRIZA MUNNO BW’AKOLA EKINTU EKIKUNYIIZA

3. Kusoomooza ki kwe tuyinza okufuna?

3 Ojjukira engeri gye wawuliramu lwe wasooka okugenda mu lukuŋŋaana lw’Abajulirwa ba Yakuwa n’olaba okwagala kwe balagaŋŋana? Ekyo kyakuleetera okuba omukakafu nti wali ozudde amazima? (Yok. 13:35; Bak. 3:12) Mwannyinaffe Blancab bw’atyo bwe yawulira. Kyokka bwe yamala okubatizibwa, waliwo ekintu ekyabaawo kye yali tasuubira. Agamba nti: “Waliwo mukkiriza munnange eyampisa mu ngeri etali ya kisa. Ate era nnakiraba nti yali ayogera ebintu ebitali birungi ku balala. Ekyo nnali sikisuubira kuba nnali njize nti Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okuba abantu ab’emirembe era abalaga abalala okwagala.” Kya lwatu abantu ba Yakuwa bafuba okukulaakulanya engeri z’Ekikristaayo, kyokka wadde kiri kityo, nabo tebatuukiridde. (Bef. 4:​23, 24; 1 Yok. 1:8) Oluusi omu ku bo ayinza okukola oba okwogera ekintu ekikunyiiza. (Yak. 3:8) Eky’ennaku, ebintu ng’ebyo biviiriddeko abamu okulekera awo okuweereza Yakuwa.

4. Bwe kituuka ku kusonyiwa abalala, magezi ki agayinza okutuyamba? (Abeefeso 4:32)

4 Kiki ky’osobola okukola kati ne kiba nti singa mukkiriza munno akunyiiza tekikuleetera kulekera awo kuweereza Yakuwa? Bulijjo koleranga ku magezi agali mu Abeefeso 4:32. (Soma.) Bw’ofuba okukola ky’osobola okuyisa abalala mu ngeri ey’ekisa, kijja kukuyamba okukendeeza ku butakkaanya bw’oyinza okufuna n’abalala. Ate era kifuule kiruubirirwa kyo okusonyiwa abalala ensobi ze baba bakoze. Kiki ekisobola okukuyamba? Kijjukire nti emirundi mingi osaba Yakuwa akusonyiwe ensobi zo era owulira bulungi bw’akusonyiwa. (Mat. 6:12) Bw’okijjukira nti Yakuwa akusonyiwa emirundi mingi, kijja kukuyamba okwanguwa okusonyiwa abalala.

5. Musingi ki ogusobola okutuyamba nga waliwo akoze ekintu ekitunyiiza? (Engero 19:11) (Laba n’ebifaananyi.)

5 Soma Engero 19:11. Bayibuli egamba nti mukkiriza munnaffe bw’atunyiiza, obutegeevuc busobola okutuyamba okulwawo okusunguwala. Omusingi ogwo guyambye nnyo Rima eyabatizibwa emyaka mitono emabega. Agamba nti: “Bakkiriza bannange bwe bakola ebintu ebirumya oba ebitali bya kisa, nzijukira Engero 19:11. Ndowooza ku mbeera yaabwe ne ku ebyo bye bayiseemu, era nfuba okufumiitiriza ku nsonga eyinza okuba ng’ebaviiriddeko okweyisa bwe batyo. Ate era nfuba okubuulirako nabo. Ekyo kinnyamba okweyongera okubategeera obulungi.” Amagezi ago malungi. Naawe osobola okutegeera obulungi bakkiriza banno mu kiseera kino. Gy’onookoma okubategeera obulungi, gye kijja okukoma okukubeerera ekyangu okubasonyiwa nga bakoze ekintu ekikunyiiza.

Ebifaananyi: 1. Ow’oluganda anyiize olw’engeri ow’oluganda omulala gy’ayogedde naye nga balina emirimu gye bakola wabweru w’Ekizimbe ky’Obwakabaka. 2. Oluvannyuma, ow’oluganda eyanyiize abuulirako wamu n’ow’oluganda eyamunyiizizza.

Bw’oba n’obutakkaanya ne mukkiriza munno, buulirako wamu naye (Laba akatundu 5)


6. Kiki ekisobola okutuyamba okuba n’enkolagana ennungi ne bakkiriza bannaffe mu kibiina?

6 Kiki ky’osobola okukola okuba n’enkolagana ennungi ne bakkiriza banno mu kibiina? Weeyongere okumanya obulungi bakkiriza banno kikusobozese okussa ebirowoozo byo ku ngeri ennungi ze booleka. (Geraageranya Engero 10:12; Bar. 12:10; Baf. 2:​2, 3) Weetegereze engeri ekyo gye kyayamba Mark, ow’oluganda eyali yaakabatizibwa. Bwe yatandika okumala ebiseera ebiwerako ng’ali wamu ne bakkiriza banne, yatandika okulaba obunafu bwabwe. Kiki ekyayamba Mark obuteesittala olw’obunafu bwa bakkiriza banne? Agamba nti: “Nnakiraba nti ebirowoozo byange nnali mbimalidde ku butali butuukirivu bw’abakkiriza bannange, kyokka ng’ensobi ze bakola ntono nnyo bw’ozigeraageranya ku bintu ebibi abantu mu nsi bye bakola. Nnakitegeera nti sirina kumalira birowoozo byange ku butali butuukirivu bwa bakkiriza bannange. Bwe kityo ebirowoozo byange mbissa ku ngeri ennungi ze balina.” Naawe ebirowoozo byo bw’onoobissa ku ngeri ennungi bakkiriza banno ze balina, ojja kuba n’enkolagana ennungi nabo.

BW’OTANDIKA OKULOWOOZA KU BINTU BYE WALEKA EMABEGA

7. Kiki ekiyinza okutuleetera okutandika okulowooza ku bintu bye twaleka emabega?

7 Bwe wafuuka Omujulirwa wa Yakuwa oteekwa okuba nga wasanyuka nnyo okuleka ebintu ebiri mu nsi ya Sitaani. Oyinza okuba nga wali olowooza nti omuntu bw’afuuka omuweereza wa Yakuwa tayinza kuddamu kwegomba bintu ng’ebyo. Naye bw’oba oyolekagana n’ebizibu, oyinza okutandika okulowooza ebintu bye waleka emabega osobole okuweereza Yakuwa, sinakindi n’otandika n’okubyegomba. (Geraageranya Okubala 11:​4-6.) Ng’ekyokulabirako, ab’oluganda abamu bayinza okuba nga baasalawo okuleka emirimu egibasasula ssente ennyingi naye nga gibatwalira ebiseera bingi. Abalala bwe baatandika okuyiga Bayibuli, mikwano gyabwe gyabeekutulako. Ate abalala baalekera awo okwenyigira mu bintu ebibi Yakuwa by’atayagala wadde nga byali bibawa essanyu. Nga kiba kya nnaku nnyo singa Omukristaayo atandika okufumiitiriza ku bintu bye yaleka era ekyo ne kimuviirako okutandika okuva ku Yakuwa! Kiki ky’osobola okukola kati ne kiba nti ne bw’onaaba oyolekaganye n’ebizibu mu biseera eby’omu maaso, tojja kwegomba bintu bye waleka?

8. Kiki kye tuyigira ku Ibulayimu ne Saala?

8 Bayibuli erimu ebyokulabirako by’abasajja n’abakazi abeesigwa abalina bye beefiiriza okusobola okuweereza Katonda. Ng’ekyokulabirako, olw’okuba Ibulayimu ne Saala baagondera ekiragiro kya Yakuwa, baaleka ekibuga Uli ekyali kirabika obulungi, ne batandika okubeera mu weema. (Beb. 11:​8, 9) Kirabika oluusi baalowoozanga ku bintu ebirungi bye baaleka mu kibuga Uli. Naye singa beeyongera okujjukira ebintu ebirungi bye baaleka, kyandibaviiriddeko okubyegomba, era ekyo oboolyawo ne kibaleetera okwagala okuddayo mu kibuga ekyo. Naye ekyo Ibulayimu ne Saala si kye baakola. Mu kifo ky’ekyo, ebirowoozo byabwe baabimalira ku bintu ebirungi Yakuwa bye yali abasuubizza mu biseera eby’omu maaso.—Beb. 11:​15, 16.

9. Omutume Pawulo yali atwala atya ebintu bye yaleka emabega? (Abafiripi 3:​7, 8, 13)

9 Omutume Pawulo naye aliko ebintu bye yaleka okusobola okufuuka Omukristaayo. Ng’ekyokulabirako, bwe yali tannafuuka Mukristaayo, yayigirizibwa Amateeka g’Abayudaaya era omusomesa omukenkufu ayitibwa Gamalyeri ye yamusomesa. (Bik. 22:3) Pawulo yali anaatera okufuuka omu ku bakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya ab’amaanyi. (Bag. 1:​13, 14) Naye bwe yafuuka omugoberezi wa Kristo, ebintu ebyo byonna yabireka. Bwe yakyuka n’afuuka Omukristaayo, buli kimu kyamugenderanga bulungi? Nedda. Yakubibwanga, n’asibibwa mu kkomera, era Bayudaaya banne baamukyawa. (2 Kol. 11:​23-26) Singa Pawulo ebirowoozo bye yabimalira ku kusoomooza kwe yayitamu ng’afuuse Omukristaayo, era n’ageraageranya obulamu bwe yalimu mu kiseera ekyo ku obwo bwe yalimu nga tannafuuka Mukristaayo, oboolyawo yandirowoozezza nti yakola nsobi okufuuka omugoberezi wa Kristo. Ekyo Pawulo teyakikola. Mu kifo ky’ekyo, ebirowoozo bye yabimalira ku nkizo gye yafuna ey’okubeera omugoberezi wa Kristo ne ku mpeera gye yali agenda okufuna mu biseera eby’omu maaso. Pawulo yali mukakafu nti emikisa gye yafuna olw’okufuuka omugoberezi wa Kristo gyali gisingira wala ebintu byonna yeefiiriza!—Soma Abafiripi 3:​7, 8, 13.

10. Kiki kye tusaanidde okufumiitirizangako? (Makko 10:​29, 30) (Laba n’ebifaananyi.)

10 Kiki kye tuyiga? Singa otandika okulowooza ennyo ku bintu bye waleka okusobola okufuuka Omukristaayo, era lowooza ne ku nsonga lwaki waleka ebintu ebyo. (Mub. 7:10) Geraageranya ebintu bye waleka ku mikisa emingi gy’ofunye okuva lwe watandika okuweereza Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, kati olina enkolagana ey’oku lusegere n’Omuyinza w’Ebintu Byonna. (Nge. 3:32) Olina baganda bo ne bannyoko ab’eby’omwoyo abakwagala ennyo mu kibiina kyo n’okwetooloola ensi yonna. (Soma Makko 10:​29, 30.) Ate era, Yakuwa akusuubizza ebintu ebirungi bingi by’agenda okukukolera mu biseera eby’omu maaso! (Is. 65:​21-23) Okufumiitiriza ku mikisa emingi gy’ofunye ng’oweereza Yakuwa kijja kukuyamba obutamalira birowoozo byo ku bintu bye waleka.

Mu kifo ky’okumalira ebirowoozo byo ku bintu bye waleka, weeyongere okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira Katonda gw’akuwadde (Laba akatundu 10)e


11. Kiki ky’oyigira ku mwannyinaffe Rosemary?

11 Mwannyinaffe Rosemary yabatizibwa ng’alina emyaka nga 50. Weetegereze ekyamuyamba obutamalira birowoozo bye ku bintu bye yali yaleka. Agamba nti: “Mu kusooka nnawulira nga nsubwa nnyo okukuza Ssekukkulu kubanga ekiseera ekyo kyansobozesanga okubeerako awamu n’ab’eŋŋanda zange. Nnanyumirwanga nnyo okubawa ebirabo era kyansanyusa okulaba abaana nga bazannyira okumpi n’akati ke batimba ku Ssekukkulu, era n’okulaba engeri gye baasanyukangamu nga basabuukulula ebirabo ebyabanga bibaweereddwa.” Kiki ekyayamba mwannyinaffe oyo? Agamba nti: “Nfunayo obudde obulala ne nsanyukirako wamu n’ab’eŋŋanda zange mu kiseera ekitali kya Ssekukkulu. Buli mwaka nfunayo olunaku ne mbeerako n’ab’eŋŋanda zange ne mbawa ebirabo era ne mbabuulira ebindeetera okubaagala ennyo.” Rosemary alina okusoomooza okulala kwe yafuna. Agamba nti: “Bwe nnayiga amazima, mikwano gyange egy’oku lusegere gyanneekutulako. Oluusi nnawuliranga ekiwuubaalo olw’okuba nnabanga nsubwa mikwano gyange egyo.”d Kiki ekyayamba mwannyinaffe Rosemary? Yakola enteekateeka n’atandika okubuulira ne baganda be abatali bamu. Agamba nti: “Okubuulira nabo kinnyambye okweyongera okubamanya ne tufuuka ba mukwano era mbaagala nnyo.” Kiki kye tuyigira ku mwannyinaffe oyo? Oyinza okuba olina ebintu bye wali okola ebyali bikunyumira nga tonnayiga mazima, naye nga kati obisubwa. Kyokka mu kifo ky’okumalira ebirowoozo ku bintu ebyo, funayo ebintu ebirala ebirungi by’osobola okukola. (Baf. 4:​8, 9) Ate era kijjukire nti bw’onoosalawo okuweereza Yakuwa, ajja kukuwa emikisa mingi nnyo okusinga ebyo bye weefiiriza.

ABALALA BWE BAVA KU YAKUWA

12. Kiki ekiyinza okubaawo mu kibiina, era kiyinza kukuleetera kuwulira otya?

12 Bwe wafuuka omuweereza wa Yakuwa, oteekwa okuba nga wasanyuka nnyo okwekutula ku nsi ya Sitaani, ne weeyunga ku bantu abayigiriza amazima era abafuba okukola ekituufu. (Is. 65:14) Kyokka oluusi wayinza okubaawo omuntu mu kibiina n’akola ekibi eky’amaanyi. Omuntu oyo ayinza n’okuggibwa mu kibiina. (1 Kol. 5:13) Weetegereze engeri mwannyinaffe Samar gye yakosebwamu ekintu ekifaananako bwe kityo bwe kyabaawo. Agamba nti: “Bwe nnali nnaakabatizibwa, waliwo omukadde mu kibiina eyakola ekibi eky’amaanyi, n’aggibwa mu kibiina. Kyantiisa nnyo kubanga nnali sikisuubira nti omukadde mu kibiina asobola okukola ekibi eky’amaanyi.” Kya lwatu, bulijjo tusaanidde okuba abakakafu nti bakkiriza bannaffe baagala Yakuwa era baagala okumunywererako. (1 Kol. 13:​4, 7) Wadde kiri kityo, olw’okuba tetutuukiridde, buli mwaka waliwo abakola ebibi eby’amaanyi ne baggibwa mu kibiina. Kiyinza okukuluma ennyo singa omu ku b’eŋŋanda zo, mukwano gwo, oba omu ku bantu b’obadde ossaamu ennyo ekitiibwa, asalawo okuva ku Yakuwa.

13. Tuyinza tutya okweteekateeka kati ne tuteesittala singa omu ku bantu be twagala ennyo ava ku Yakuwa?

13 Oyinza otya okweteekateeka kati, n’oteesittala singa omu ku bantu b’oyagala ennyo ava ku Yakuwa? Weeyongere okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa. (Yak. 4:8) Tokkiriza nkolagana yo ne Yakuwa kwesigama ku bwesigwa bwa muntu mulala. Ng’ekyokulabirako, wadde nga tusinziza wamu Yakuwa ng’amaka oba ng’ekibiina, buli omu ku ffe kinnoomu alina okuba n’enteekateeka eyiye ku bubwe ey’okusaba n’okusoma Bayibuli.—Zab. 1:2; 62:8.

14. Kiki kye tuyigira ku mutume Peetero? (Yokaana 6:​66-68)

14 Ate era waliwo kye tusobola okuyigira ku ngeri omutume Peetero gye yeeyisaamu abagoberezi ba Yesu bangi bwe baalekera awo okumugoberera. Peetero naye ayinza okuba nga teyategeera bulungi ebyo Yesu bye yali ayigiriza mu kiseera ekyo. Naye weetegereze ekyo kye yagamba mu Yokaana 6:​66-68. (Soma.) Mu kifo ky’okumalira ebirowoozo bye ku ebyo abalala bye baali bakola, Peetero yamalira ebirowoozo bye ku mazima ag’omuwendo ennyo Yesu ge yali amuyigirizza. Ekyo kyayamba Peetero obuteesittala. Mu ngeri y’emu, ebyo abalala bye bakola tebikyusa mazima ag’omuwendo ge tuyize okuyitira mu kibiina kya Yakuwa. Nywerera ku mazima ago! Samar, eyayogeddwako waggulu agamba nti, “omuntu omu okukola ekintu ekibi tekitegeeza nti abalala bonna mu kibiina babikola, oba nti ebyo ekibiina kya Yakuwa bye kituyigiriza bikyamu. Ate era ebintu ebibi abantu bye bakola tebitegeeza nti Yakuwa alina engeri embi.”

15. Kiki ky’oyigidde ku mwannyinaffe Emily?

15 Lowooza ku ekyo ekyatuuka ku mwannyinaffe Emily. Nga wayiseewo wiiki emu oluvannyuma lwa Emily okubatizibwa, maama we yabaleka era n’aggibwa mu kibiina. Emily agamba nti: “Nnali sikisuubira nti maama wange asobola okukola ekintu ekifaananako bwe kityo. Kino kye kintu ekikyasinze okuba ekibi ekyali kintuuseeko, era maama wange musubwa nnyo.” Kiki ekiyambye Emily? Agamba nti: “Siri nzekka. Taata wange anjagala nnyo era anfaako nnyo, era ne bakkiriza bannange mu kibiina bantwala ng’omu ku b’omu maka gaabwe. Buli omu ku bakkiriza bannaffe alina ebizibu. Eyo y’ensonga lwaki kikulu okwagala baganda baffe n’okubazzaamu amaanyi.” (1 Peet. 5:9) Tetusaanidde kusooka kufuna bizibu ne tulyoka tunyweza enkolagana gye tulina ne bakkiriza bannaffe. Weeyongere okunyweza enkolagana gy’olina ne bakkiriza banno mu kiseera kino. Bw’onoofuna ebizibu, bakkiriza banno bajja kukuyamba era bajja kukubudaabuda.

16. Kiki kye tusaanidde okujjukira? (Laba n’ekifaananyi.)

16 Ate era kijjukire nti Yakuwa akangavvula abo b’ayagala. (Beb. 12:6) Ayagala abo bonna abaggibwa mu kibiina beenenye era baddemu okumuweereza. (2 Peet. 3:9) N’olwekyo omu ku bantu b’oyagala ennyo bw’aba yaggibwa mu kibiina, beera mukakafu nti abakadde bajja kukola kyonna kye basobola okumuyamba okuddamu okuweereza Yakuwa.—2 Tim. 2:​24, 25.

Abakadde babiri bakyalidde omusajja eyaggibwa mu kibiina. Omukadde omu akutte Bayibuli embikkule ate omulala aliko by’amulaga mu brocuwa “Komawo eri Yakuwa.”

Omuntu gw’oyagala bw’aggibwa mu kibiina, kijjukire nti abakadde bakola kyonna kye basobola okumuyamba okukomawo eri Yakuwa (Laba akatundu 16)f


17. Tuli bakakafu ku ki?

17 Mu kitundu kino tulabye ebimu ku bintu ebiyinza okukusoomooza oluvannyuma lw’okubatizibwa. Ebimu ku byo biyinza okuba eby’amaanyi naye tosaanidde kutya. Waliwo ebintu bingi by’osobola okukola okubyeteekerateekera. Ate era teweerabiranga nti Yakuwa ajja kukuyamba okusigala ng’oli mwesigwa gy’ali. Abaddenga akuyamba era ayagala okukuyamba emirembe gyonna! (1 Peet. 5:10) Ajja kukuwanga amaanyi osobole okugumiikiriza ebintu byonna ebikusoomooza. Bwe weeyongera okukkiriza Yakuwa okukuyamba, ojja kusigala ng’olina enkolagana ey’oku lusegere naye, k’obe ng’oyolekagana na bizibu ki!—Zab. 119:165; Bar. 8:​38, 39.

BIKI BYE TUSOBOLA OKUKOLA OKWETEEKERATEEKERA EBINTU EBIYINZA OKUTUSOOMOOZA?

  • Mukkiriza munnaffe bw’akola ekintu ekitunyiiza

  • Bwe tuwulira nga tutandise okwegomba ebintu bye twaleka

  • Omuntu gwe twagala bw’aggibwa mu kibiina

OLUYIMBA 154 Okwagala Tekulemererwa

a Wadde ng’ekitundu kino kitegekeddwa okuyamba abo abaakabatizibwa, ebikirimu ffenna tujja kubiganyulwamu.

b Amannya gakyusiddwa.

c Obutegeevu buzingiramu okuba n’obusobozi bw’okutegeera ekyo abalala kye bayinza okuba nga tebalaba. Engeri eyo etusobozesa okumanya ensonga lwaki abantu boogera era bakola ebintu mu ngeri emu.

d Ffenna mu kibiina tusaanidde okuyamba abayizi ba Bayibuli n’abo abaakabatizibwa okuwulira nti baagalibwa. Laba akatundu 15 ne 16 mu kitundu “Ffenna mu Kibiina, ka Tuyambe Abayizi ba Bayibuli Okukulaakulana Babatizibwe” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maaki 2021.

e EBIFAANANYI: Mwannyinaffe bw’aba abuulira, alaba ekibinja ky’abakazi abazannya omuzannyo gwe yali anyumirwa ennyo. Oluvannyuma, mwannyinaffe abuulira omu ku bazannyi abo, oboolyawo gwe yazannyako naye.

f EKIFAANANYI: Abakadde babiri bakyalidde omusajja eyaggibwa mu kibiina era bamukubiriza okukomawo eri Yakuwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza