LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • wp25 Na. 1 lup. 9
  • Ensonga Lwaki Waliwo Entalo

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ensonga Lwaki Waliwo Entalo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2025
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • EKIBI KYE TWASIKIRA
  • OBUFUZI BW’ABANTU
  • SITAANI NE BADAYIMOONI
  • Engeri Entalo gye Zijja Okumalibwawo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2025
  • Katonda Yalina Kigendererwa Ki Okutonda Abantu?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Kibi ki Adamu ne Kaawa Kye Baakola?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Engeri Entalo Gye Zitukosaamu Ffenna
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2025
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2025
wp25 Na. 1 lup. 9

Ensonga Lwaki Waliwo Entalo

Bayibuli eraga ensonga lwaki waliwo entalo n’ensonga lwaki zeeyongera bweyongezi.

EKIBI KYE TWASIKIRA

Adamu ne Kaawa, abantu abaasooka, Katonda yabatonda mu kifaananyi kye. (Olubereberye 1:27) Ekyo kitegeeza nti bandibadde basobola okwoleka engeri ng’eza Katonda gamba ng’okwagala n’emirembe. (1 Yokaana 4:8; 1 Abakkolinso 14:33) Kyokka Adamu ne Kaawa baajeemera Katonda, ne bafuuka aboonoonyi. N’ekyavaamu, ffenna twasikira ekibi n’okufa. (Abaruumi 5:12) Ekibi kye twasikira kituleetera okulowooza ku bintu ebibi, era ekyo kiviirako abantu bangi okwenyigira mu bikolwa eby’obukambwe.—Olubereberye 6:5; Makko 7:​21, 22.

OBUFUZI BW’ABANTU

Katonda yatutonda nga tetusobola kufuga bantu bannaffe. Bayibuli egamba nti: “Tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.” (Yeremiya 10:23) N’olw’ensonga eyo, gavumenti z’abantu tezisobola kumalawo ntalo na bikolwa bya bukambwe.

SITAANI NE BADAYIMOONI

Bayibuli egamba nti: “Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.” (1 Yokaana 5:19) “Omubi” oyo ye Sitaani era mussi. (Yokaana 8:44) Sitaani ne badayimooni be baviirako abantu okuba abakambwe, n’okutandikawo entalo.—Okubikkulirwa 12:​9, 12.

Abantu tebasobola kumalawo bintu biviirako ntalo na bikolwa bya bukambwe, naye Katonda ye asobola.

Amadiini n’Entalo

Emirundi mingi amadiini gawagira entalo. Amadiini agawagira entalo ge gamu ku madiini ag’obulimba. Mu Bayibuli, amadiini ag’obulimba gayitibwa “Babulooni Ekinene.” (Okubikkulirwa 18:2) Babulooni Ekinene kivunaanibwa mu maaso ga Katonda olw’abo “bonna abattibwa ku nsi.” (Okubikkulirwa 18:24) Okumanya ebisingawo, soma ekitundu ekirina omutwe “What Is Babylon the Great?” ku jw.org.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza